1Awo Pasukuli eyali kabona mutabani wa Immeri, eyali omukulu mu yeekaalu ya Mukama, yawulira nga Yeremiya awa obubaka buno,
2nʼalagira Yeremiya akubibwe. Nʼasibibwa mu nvuba eyali mu mulyango ogwʼekyengulu ogwa Benyamini ku yeekaalu ya Mukama.
3Olunaku olwaddirira, nga Pasukuli amusumuludde mu nvuba, Yeremiya nʼamugamba nti, “Mukama takyakuyita Pasukuli, naye Magolumissabibu.
4Kubanga bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Laba, ndikufuula ekyʼentiisa, ekikangabwa, eri ggwe nʼeri mikwano gyo bonna; era balifa ekitala kyʼabalabe baabwe, nʼamaaso go galikiraba, era Yuda yonna ndigiwaayo mu mukono gwa kabaka wʼe Babulooni, alibatwala e Babulooni oba okubattisa ekitala.
5Era ndigabula obugagga bwʼekibuga kino bwonna obulimu, nʼebyʼomuwendo omungi era nʼebyʼobugagga byonna ebya bakabaka ba Yuda mu mukono gwʼabalabe baabwe. Balibutwala babwetikke ngʼomunyago mu Babulooni.
6Era ggwe Pasukuli, era nʼabo bonna abʼomu nnyumba yo balitwalibwa mu busibe, e Babulooni. Eyo gyʼolifiira era oziikibwe, ggwe ne mikwano gyo bonna bʼotegeezezza obunnabbi obwʼobulimba.’ ”
7Ayi Mukama, wannimba era nʼennimbibwa,wansinza amaanyi nʼompangula.Nvumibwa okuva ku makya okuzibya obudde,buli muntu ankudaalira.
8Buli lwe njogera,ndeekaana ne nnangirira akatabanguko nʼokuzikirira.Kale ekigambo kya Mukama kindeeterakuvumwa na kusekererwa buli lunaku.
9Naye bwe ŋŋamba nti,“Sijja kumwogerako oba okweyongera okwogera mu linnya lye,”ekigambo kye mu mutima gwange kiri ngʼomuliro ogwaka,ogukwekeddwa mu magumba gange.Nkooye okukizibiikirizaera ddala sisobola.
10Mpulira bangi nga beegeya nti, “Akabi kali enjuuyi zonna.Mumuloope.Leka naffe tumuloope.”Mikwano gyange bonnabanninda ngwe,nga bagamba nti, “Oboolyawo anaasobya,tumugwekotuwoolere eggwanga.”
11Naye Mukama ali nange ngʼomulwanyi owʼamaanyi owʼentiisa,kale abanjigganya kyebaliva bagwa ne bataddayo kuyimirira.Baakulemererwa era baswalire ddalanʼokuswala kwabwe tekulyerabirwa emirembe gyonna.
12Ayi Mukama Katonda owʼEggye oyo agezesa abatuukirivu,alaba ebiri munda mu mitima era nʼebirowoozo,kale leka ndabe bwʼobawoolererako eggwanga,kubanga ensonga zange nzitadde mu mikono gyo.