Yeremiya 21:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya kabona mutabani wa Maaseya okumugamba nti,

2 “Tubuulize kaakano ku Mukama kubanga Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni atulumbye. Oboolyawo Mukama anatukolera ekyamagero ngʼedda, Nebukadduneeza nʼatuleka.”

3Naye Yeremiya nʼabaddamu nti, “Mugambe Zeddekiya nti,

4‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okuboolekeza ebyokulwanyisa byammwe ebiri mu mikono gyammwe bye mukozesa okulwanyisa kabaka wʼe Babulooni nʼAbakaludaaya ababazinze ne beetooloola ebweru wa bbugwe wʼekibuga kyammwe. Nzija kubakuŋŋaanyiza munda mu kibuga kino.

5Nze kennyini nzija kubalwanyisa nʼomukono gwange ogwʼamaanyi, ogugoloddwa mu busungu, nʼekiruyi nʼobukambwe obungi.

6Era ndittisa kawumpuli omubi, abantu awamu nʼensolo, mu kibuga kino.

7Oluvannyuma lwʼekyo, nnaawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda, nʼabakungu be nʼabantu bonna mu kibuga kino abanaaba bawonye kawumpuli, ekitala nʼenjala ebya Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni nʼabalabe baabwe ababanoonya okubatta. Nebukadduneeza anaabatta nʼekitala, taabalage kisa nʼakatono wadde okubasaasira oba okubasonyiwa.’

8“Era abantu bagambe nti, ‘Bwʼati Mukama bwʼayogera nti: Laba mbateereddewo ekkubo eryʼobulamu era nʼekkubo eryʼokufa.

9Buli anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, oba enjala oba kawumpuli. Naye buli afuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazingizza, ajja kuba mulamu, era anaawonya obulamu bwe.

10Mmaliridde okuleetera ekibuga kino akabi so si mirembe, bwʼayogera Mukama. Kijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka wʼe Babulooni, era ajja kukizikiriza nʼomuliro.’

11“Nʼekirala gamba ennyumba ya Yuda eyʼobwakabaka nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama;

12Ggwe ennyumba ya Dawudi,

12kino Mukama kyʼagamba: Musale emisango mu bwenkanya, mununule ababa banyagiddwa ababanyigiriza, obusungu bwange buleme kuvaayo bubookye ngʼomuliro olwʼekibi kye mukoze, nga tewakyali nʼomu abuziyiza.

13Laba nkugguddeko olutalo, ggwe Yerusaalemi abeera waggulu wʼekiwonvu, ku lusozi olwagaagavu olwʼekyaziyazi, mmwe abagamba nti, “Ani ayinza okutulumba? Ani ayinza okuyingira mu nnyumba zaffe?”

13bwʼayogera Mukama,

14Nzija kubabonereza ngʼebikolwa byammwe bwe biri, era ndikoleeza omuliro mu kibira kyammwe, gwokye byonna ebikyetoolodde,’ ”

14bwʼayogera Mukama.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>