1Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Serengeta ogende mu lubiri lwa kabaka wa Yuda
2olangirire obubaka buno nti, Wulira ekigambo kya Katonda ggwe kabaka wa Yuda, ggwʼatuula ku ntebe ya Dawudi, mmwe abakungu nʼabantu bammwe abayita mu miryango gino.
3Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Musale emisango egyʼensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mu muggye mu mukono gwʼoyo amujooga. Temukola kibi oba ebyʼobukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gwʼabantu abataliiko musango mu kifo kino.
4Kubanga bwe muneegendereza ne mukuuma ebiragiro bino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi baliyita mu miryango gyʼolubiri luno nga batudde mu magaali gaabwe nʼabo abeebagadde embalaasi nga bawerekerwako nʼabakungu baabwe, nʼabantu baabwe.
5ⓞ ‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti Ekifo kino kijja kufuuka matongo,’ bwʼayogera Mukama.”
6Kubanga kino Mukama kyʼagamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda nti, “Newaakubadde ngʼoli nga Gireyaadi gye ndi,ngʼentikko yʼolusozi Lebanooni,ddala ddala nzija kukufuula ddungu,ngʼebibuga ebitaliimu bantu.
8“Abantu abava mu mawanga amangi baliyita ku kibuga kino nga beebuuzaganya bokka ne bokka nti, ‘Lwaki Mukama yakola ekintu ekifaanana bwe kiti ku kibuga kino ekikulu bwe kiti?’
9Era ekyʼokuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya Mukama Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’ ”
10Temukaabira kabaka afudde oba okumukungubagira,wabula mukaabire nnyo oyo omuwaŋŋanguse,kubanga taliddayo kulaba nsi ye nate.
11Kubanga kino Mukama kyʼagamba ku Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya nʼafuuka kabaka wa Yuda naye nʼatwalibwa. “Talidda.
12Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.”
13Zimusanze oyo azimba olubiri ku butali butuukirivu,ebisenge bye ebya waggulu ku butali bwenkanyaabantu bʼensi ye nʼabakozeseza bwereerenʼatabasasula mpeera yaabwe.
16Yalwanirira abaavu nʼabali mu bwetaavukale byonna ne bimugendera bulungi.Ekyo si kye kitegeeza okummanya?bwʼayogera Mukama.
17“Naye amaaso gammwe nʼemitima gyammwebiri ku magoba agʼobukuusa,ne ku kuyiwa omusaayi ogutaliiko musangone ku kunyigiriza ne ku kunyaga.”
18ⓟ Noolwekyo kino Mukama kyʼayogera ku Yekoyakimu omwana wa Yosiya kabaka wa Yuda nti, “Tebalimukungubagira;‘Kikafuuwe, mukama wange!’Kikafuuwe,obugagga bwe!
19Aliziikibwanga bwe baziika endogoyi,akululwe asuulibwe ebweru wʼenzigi za Yerusaalemi.”
19
20“Genda mu Lebanooni okaabe,leka eddoboozi lyo liwulirwe mu Basani.Kaabira ku Abalimu,kubanga bonna ababadde ku ludda lwo bazikiridde.
21Nayogera gyʼoli ngʼokyali mu biseera byo ebyʼobugagganaye nʼogamba nti, ‘Sijja kuwuliriza!’Bwʼoti bwʼobadde okuva mu buto bwo,togonderanga ku ddoboozi lyange.
22Empewo erikunguzza abalunzi bʼebisibo byo bonna,nʼabawagizi bo batwalibwe mu buwaŋŋanguse.Olwo okwatibwe ensonyioggweemu amaanyi olwʼebibi byo byonna.
23ⓠ Mmwe abali mu Lebanooni,[1]abesulira mu bizimbe ebyʼemivule,nga mulikaaba, ngʼobulumi bubajjidde!Okulumwa ngʼokwʼomukazi alumwa okuzaala.”
24“Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta eyʼobuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bwʼayogera Mukama.
25Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni era nʼeri Abakaludaaya.
26Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira.
27Temulidda mu nsi gye mwegomba okuddamu.
28Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa,ekimenyese, ekitaliiko ayagala?Lwaki ye nʼabaana be balikanyugibwa ebweru,basuulibwe mu nsi gye batamanyi?
30Bwʼati bwʼayogera Mukama nti,“Omusajja ono mumubale ngʼatazaalangakokubanga tewali ku baana be alikulaakulana,alituula ku ntebe ya Dawudioba aliddayo okufuga mu Yuda.”