1“Zibasanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga zʼekisibo kyange!” bwʼayogera Mukama.
2Noolwekyo, bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ebikwata ku basumba abalabirira abantu bange nti, “Kubanga musaasaanyizza abantu bange ne mubagoba ne mutabalabirira, nzija kubaleetako ebibonerezo olwʼebibi bye mukoze,” bwʼayogera Mukama.
3“Nze kennyini nzija kukuŋŋaanya abaasigalawo ku kisibo kyange okuva mu mawanga gonna gye nabagobera, mbakomyewo mu kisibo kyabwe, gye banaabalira ebibala beeyongere obungi.
4Ndibawa abasumba abanaabalabirira, era tebaliddayo kutya oba kuggwaamu maanyi, era tewaabe nʼomu abula,” bwʼayogera Mukama.
5
6
7“Noolwekyo ennaku zijja, abantu lwe batalyogera nate nti, ‘Ddala nga Mukama bwali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu Misiri,’ bwayogera Mukama,
8naye bagambe nti, ‘Ddala nga Mukama bwʼali omulamu, eyaggya abaana ba Isirayiri mu nsi eyʼomu bukiikakkono era ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Olwo balibeera mu nsi yaabwe ku bwabwe,” bwʼayogera Mukama.
9Ebikwata ku bannabbi:
10
11
12
13
14
15Noolwekyo, bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye ebikwata ku bannabbi nti,
16Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼeggye nti,
17
18
19
20
21
22
23
24
25“Mpulidde bannabbi aboogera ebyʼobulimba mu linnya lyange. Bagamba nti, ‘Naloose! Naloose!’
26Kino kinaakoma ddi mu mitima gyʼabo bannabbi bʼobulimba, abategeeza ebyʼobulimba ebiva ku mitima gyabwe?
27Balowooza nti Ebirooto bye balootolola bannaabwe bijja kuleetera abantu bange okwerabira erinnya lyange, nga bakitaabwe bwe beerabira erinnya lyange nga basinza Baali.
28Nnabbi alina ekirooto ayogere ekirooto kye, nʼoyo alina ekigambo kyange akyogere mu bwesigwa. Kubanga ebisusunku birina nkolagana ki nʼeŋŋaano?” bwʼayogera Mukama.
29“Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ngʼennyondo eyasaayasa olwazi?” bwʼayogera Mukama.
30“Noolwekyo, ndi mulabe wa bannabbi ababbiŋŋanako ebigambo ebiva gye ndi,” bwʼayogera Mukama.
31“Weewaawo,” bwʼayogera Mukama, “saagalira ddala bannabbi abayogerayogera nga bagamba nti, ‘Bwʼatyo Mukama bwʼagamba.’
32Ddala ddala ndi mulabe wʼabo abawa obunnabbi bwʼebirooto ebikyamu. Babyogera ne babuza abantu bange nʼobulimba bwabwe obutaliimu, ate nga saabatuma wadde okubateekawo. Tebalina kye bayamba bantu bano nʼakatono,” bwʼayogera Mukama.
33“Abantu bano, oba nnabbi oba kabona bwʼabuuza nti, ‘Bubaka ki Mukama bwʼatutumye?’ Bagambe nti, Bubaka ki? Nzija kubabuulira,” bwʼayogera Mukama.
34Nnabbi, oba kabona oba omuntu yenna bwʼagamba nti, “Buno bwe bubaka bwa Mukama,” Nzija kubonereza omusajja oyo nʼabʼomu maka ge.
35Kino buli omu kyʼanagamba mikwano gye oba abʼeŋŋanda ze. “Mukama, azeemu ki? Oba kiki Mukama kyʼayogedde?”
36Naye temuddayo kugamba nti, “Buno bwe bubaka bwa Mukama,” kubanga buli kigambo kya muntu kifuuka bubaka bwe era mukyusa ebigambo bya Katonda omulamu, Mukama owʼEggye, Katonda waffe.
37Kino kye munaabuuza nnabbi nti, “Kiki Mukama kyakuzzeemu?” Oba nti, “Mukama, agambye ki?”
38Naye era mujja kugamba nti, “Buno bwe bubaka Mukama bwatutumye,” wadde nga nabagamba nti, Temusaanye kwogera nti, “Buno bwe bubaka bwa Mukama,”
39kyenaava mbagobera ddala mu maaso gange ne mu kibuga ekyo kye nabawa, mmwe ne bakitammwe.
40Ndibaleetako ekivume ekitaliggwaawo, nʼensonyi ezʼolubeerera ebitagenda kwerabirwa.