1
2Ekibbo ekimu kyalimu ettiini nga nnungi nnyo ngʼeyo esooka okwengera, nʼekibbo ekirala kyalimu ettiini nga mbi nnyo, ezitayinza kuliika.
3Mukama nʼambuuza nti, “Olaba ki Yeremiya?” Ne muddamu nti, “Ndaba ettiini. Ennungi nga nnungi nnyo naye embi nga mbi nnyo ezitayinza kuliika.”
4Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti,
5“Bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ngʼettiini zino ennungi, ndaba nti abawaŋŋanguse bʼomu Yuda balungi, be natwala okuva mu kifo kino eri mu nsi eyʼAbakaludaaya.
6Amaaso gange gajja kubalabirira olwʼobulungi bwabwe, era nzija kubakomyawo mu nsi eno. Nzija kubazimba era nneme kubamenyaamenya: nzija kubasimba nneme kubakuula.
7Ndibawa omutima bammanye, nti nze Mukama. Balibeera bantu bange, nange ndibeera Katonda waabwe, kubanga balidda gye ndi nʼomutima gwabwe gwonna.
8“ ‘Naye ngʼettiini embi, embi ennyo ezitayinzika kuliika, bwe ntyo bwe nnaakola Zeddekiya kabaka wa Yuda, nʼabakungu be nʼabo abaasigalawo mu Yerusaalemi, oba abaasigalawo mu nsi eno oba abo ababeera mu Misiri,’ bwʼayogera Mukama.
9‘Ndibafuula kyennyinnyalwa era ekyʼomuzizo eri amawanga gʼensi, ekyʼokusekererwa era olugero obugero, ekintu ekyʼokusekererwa era ekyʼokukolimirwanga yonna gye nnaabagoberanga.
10Ndireeta ekitala, nʼekyeya, ne kawumpuli okubalumba okutuusa lwe balizikirira babule ku nsi gye nabawa ne bakitaabwe.’ ”