Yeremiya 25:1-38 LGCB2014 - Bible AI

1 Ekigambo ekikwata ku bantu bonna aba Yuda ne kijjira Yeremiya mu mwaka ogwokuna ogwʼobufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ogwali omwaka ogusooka ogwʼobufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza mu bwakabaka bwa Babulooni.

2Awo Yeremiya nnabbi nʼagamba abantu bonna aba Yuda nʼabantu bonna abaali mu Yerusaalemi nti,

3Okuva mu mwaka ogwʼekkumi nʼesatu ogwʼobufuzi bwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda, gyʼemyaka amakumi abiri mu esatu okutuusa leero, ekigambo kya Mukama kizze gye ndi era njogedde gye muli emirundi mingi, naye temufuddeeyo.

4Newaakubadde nga Mukama abaweerezza bannabbi be emirundi mingi, temuwulirizza wadde okufaayo.

5Babagamba nti, “Mukyuke kaakano, buli omu ku mmwe okuva mu bikolwa bye ebibi, mulyoke musigale mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bakitammwe emirembe gyonna.

6Temugoberera bakatonda balala, temubaweereza wadde okubasinza; temunsunguwaza olwʼekyo emikono gyammwe kye gyakola, nneme okubakolako obulabe.”

7“Naye temwampuliriza, mwansunguwaza nʼekyo kye mwakola nʼemikono gyammwe, era ne mwereetera akabi,” bwʼayogera Mukama Katonda.

8Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye nti, “Kubanga temuwulirizza bigambo byange,

9nzija kukoowoola abantu bonna abʼomu bukiikakkono nʼomuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno nʼabantu baamu era nʼensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu ekyʼentiisa era ekyʼokusekererwa, era zoonoonekere ddala.

10 Ndibagobako eddoboozi eryʼessanyu era nʼokujaguza, eddoboozi eryʼawasa omugole nʼeryʼomugole, eddoboozi lyʼolubengo nʼokwaka kwʼettaala.

11Ensi eno yonna ejja kufuuka matongo, nʼamawanga gano gajja kuweereza kabaka wʼe Babulooni emyaka nsanvu.

12“Naye emyaka ensanvu bwe giriggwako, ndibonereza kabaka wʼe Babulooni nʼeggwanga lye, ensi ya Babulooni olwʼekibi kyabwe, ngifuule matongo emirembe gyonna,” bwʼayogera Mukama.

13“Ndireeta ku nsi eno ebintu byonna bye njogeddeko, ebyo byonna ebiwandiikiddwa ku muzingo guno era ne Yeremiya byategeezezza amawanga gano gonna.

14Bo bennyini balifuulibwa baddu ba mawanga mangi era baddu ba bakabaka abʼekitiibwa; ndibasasula ngʼebikolwa byabwe bwe biri nʼemirimu gyʼemikono gyabwe bwe giri.”

15Bwʼati Mukama, Katonda wa Isirayiri bwe yaŋŋamba nti, “Twala ekikopo kino, okuva mu mukono gwange, ekijjudde wayini owʼobusungu bwange, okinywese amawanga gonna gye nnaakutuma okukibanywesa.

16Bwe banaakinywa, bajja kugwa eddalu batagale olwʼekitala kye nnaabasindikamu.”

17Awo ne ntwala ekikopo okuva mu Mukono gwa Mukama ne nkitwala eri amawanga gonna gye yantuma okukibanywesa;

18Yerusaalemi nʼebibuga bya Yuda, ne bakabaka baabyo nʼabakungu basaanewo era bafuuke ekintu ekyʼentiisa nʼokuzikirira, nʼokusekererwa nʼekikolimo nga bwe bali kaakano.

19Falaawo, ye kabaka wʼe Misiri, ne bakalabaalaba be, nʼabakungu be nʼabantu be bonna,

20nʼabagwira bonna abaaliyo; bakabaka ba Uzi bonna, ne bakabaka bʼAbafirisuuti bonna, abo abʼe Asukulooni, nʼe Gaza, nʼe Ekuloni, nʼabantu abaalekebwa e Asudodi,

21nʼe Edomu, nʼe Mowaabu nʼe Ammoni,

22bakabaka bonna abʼe Tuulo ne Sidoni, bakabaka abʼoku lubalama ngʼosomose ennyanja;

23Dedani, nʼe Tema, nʼe Buuzi nʼabo bonna abali mu bifo ebyʼewala,

24ne bakabaka bonna abʼe Buwalabu,

25ne bakabaka bonna abʼe Zimuli, nʼe Eramu nʼe Meedi;

26nʼabo bonna bakabaka abʼomu bukiikakkono, abeewala, nʼabʼokumpi, omu ku omu, obwakabaka bwonna obuli ku nsi. Oluvannyuma lwabo kabaka wʼe Sesaki naye balikinywa.

27“Era onoobagamba nti, ‘Bwʼatyo bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, Munywe mutamiire, museseme, mugwe muleme kuddayo kusituka olwʼekitala ekyo kye ŋŋenda okusindika mu mmwe.’

28Naye bwe bagaana okuggya ekikopo mu mukono gwo okukinywa, bagambe nti, ‘Kino Mukama Katonda owʼEggye kyʼagamba nti, Muteekwa okukinywa!

29Laba, ntandika okuzikiriza ekibuga ekiyitibwa Erinnya lyange, ddala munaagenda nga temubonerezeddwa? Mujja kubonerezebwa kubanga nkoowoola ekitala kikke ku abo bonna abali ku nsi, bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye.’

30“Kaakano bategeeze ebigambo bino byonna obagambe nti, ‘Mukama Katonda anaayogerera waggulu, era anaayimusa eddoboozi lye okuva mu kifo kye ekitukuvu awulugume nʼamaanyi mangi nnyo ngʼawakanya bonna abali mu nsi. Ajja kuleekaana ngʼabasogozi abasamba emizabbibu, ngʼaleekaanira abo abali ku nsi.

31Eddoboozi lye liriwulirwa nʼensi gyʼekoma. Kubanga Mukama alisalira amawanga emisango gyʼabavunaana, alisalira abantu bonna omusango, atte ababi nʼekitala,’ ”

31bwʼayogera Mukama.

32Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye nti, “Laba okuzikirira kugenda kusaasaana kuva nsi ku nsi; enkuba eyʼamaanyi ejja kuva ku nkomerero yʼensi.”

33Mu kiseera ekyo abo abattiddwa Mukama bajja kubeera buli wamu okuva ku nsonda emu eyʼensi okutuuka ku ndala. Tebajja kukungubagirwa wadde okukuŋŋaanyizibwa oba okuziikibwa, naye banaaba ngʼobusa obulekeddwa ku ttaka.

34Mukaabe mulaajane mmwe abasumba, mwevulunge mu ttaka, mmwe abakulu bʼebisibo. Kubanga obudde bwammwe obwʼokuttibwa butuuse mujja kugwa mubetentebwe ngʼebibya ebyʼebbumba.

35Abasumba tebaabeeko na buddukiro, nʼabakulu bʼebisibo tebaabeeko na wa kwekweka.

36Muwulire okukaaba kwʼabasumba, okwaziirana kwʼabanannyini bʼebisibo, kubanga Mukama alizikiriza amalundiro gaabwe.

37Amalundiro amalungi galifuuka matongo olwʼobusungu bwa Mukama obubuubuuka.

38 Ajja kuleka ekisulo kye ngʼempologoma bwʼeva wʼesula, nʼensi yaabwe ejja kusigala njereere olwʼekitala kyʼomulumbaganyi era nʼolwʼobusungu bwa Mukama obwʼentiisa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>