1
2“Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Yimirira mu luggya lwʼennyumba ya Mukama oyogere eri abantu bonna abʼebibuga bya Yuda abazze okusinza mu nnyumba ya Mukama. Bagambe byonna bye nkulagira; tobaako na kyʼolekayo.
3Oboolyawo banaawulira, buli muntu nʼakyuka okuva mu makubo ge amabi. Olwo nnejjuse nneme kubaleetako kikangabwa kyembadde ntegeka olwʼokwonoona kwabwe.
4Bagambe, bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Bwe mutampulirize ne mugoberera amateeka gange ge mbawadde,
5era bwe mutaawulirize bigambo bya baddu bange bannabbi, be mbatumidde emirundi emingi wadde nga temubafuddeeko,
6
7Bakabona ne bannabbi nʼabantu bonna ne bawulira Yeremiya ngʼayogera ebigambo bino mu nnyumba ya Mukama.
8Naye nga Yeremiya ya kamaliriza okubuulira abantu bonna ebintu byonna Mukama bye yali amulagidde okwogera, bakabona ne bannabbi, nʼabantu bonna ne bamukwata ne bagamba nti, “Oteekwa okufa!
9Lwaki oyogera ebyobunnabbi mu linnya lya Mukama nti, Ennyumba eno eneebeera nga Siiro, nʼekibuga kino kinaakubwa kisigale matongo?” Awo abantu bonna ne beetooloola Yeremiya mu nnyumba ya Mukama.
10Awo abakungu ba Yuda bwe baawulira ebigambo bino, ne bava mu lubiri ne bambuka mu nnyumba ya Mukama ne batuula mu bifo byabwe awayingirirwa ku Mulyango Omuggya ogwʼennyumba ya Mukama.
11Awo bakabona ne bannabbi ne bagamba abakungu nʼabantu bonna nti, “Omusajja ono asaana kusalirwa musango gwa kufa kubanga ayogedde ebyobunnabbi ebibi ku kibuga kino. Mukiwulidde nʼamatu gammwe gennyini.”
12Awo Yeremiya nʼagamba abakungu bonna nʼabantu bonna nti, “Mukama yantuma njogere ebyobunnabbi bwe bityo ku nnyumba eno nʼekibuga kino ebintu byonna bye muwulidde.
13Kaakano mukyuse amakubo gammwe nʼebikolwa byammwe mugondere Mukama Katonda wammwe. Olwo Mukama anaakyusa nʼataleeta bikangabwa byʼaboogeddeko.
14Nze, ndi mu mikono gyammwe; munkole kyonna kye mulowooza nga kye kirungi era kye kituufu.
15Mumanyire ddala nno nti bwe munzita, mujja kwereetako omusango gwʼokuyiwa omusaayi ogutalina musango, mmwe nʼekibuga kino nʼabo abakibeeramu, kubanga ekyʼamazima Mukama ye yantumye okwogera gye muli ebigambo bino byonna mubiwulire.”
16Awo abakungu nʼabantu bonna ne bagamba bakabona ne bannabbi nti, “Omusajja ono tasaana kusalirwa musango gwa kufa! Ayogedde naffe mu linnya lya Mukama Katonda waffe.”
17Abamu ku bakadde ne bavaayo ne bajja mu maaso ne boogera eri ekibiina kyonna ekyʼabantu nti,
18
19“Keezeekiya oba omuntu omulala yenna mu Yuda, yamutta? Keezeekiya teyatya Mukama nʼanoonya ekisa kye? Era Mukama teyakyusa nʼataleeta kuzikirira kwe yali agambye okubaleetako? Naye tunaatera okwereetera obulabe obwʼamaanyi!”
20Waaliwo omusajja omulala Uliya omwana wa Semayiya owʼe Kiriyasuyalimu, eyawa obunnabbi mu linnya lya Mukama. Yawa obunnabbi bwe bumu ngʼobwa Yeremiya obugugumbula ekibuga kino era nʼensi eno.
21Wabula kabaka Yekoyakimu nʼabakungu be bonna nʼabasajja be nʼabʼobuyinza, bwe baawulira ebigambo bye, kabaka nʼamunoonya okumutta, naye Uliya bwe yakiwulira nʼatya nʼaddukira e Misiri.
22Awo kabaka Yekoyakimu nʼatuma Erunasani mutabani wa Akubooli nʼabasajja abawerako,
23ne baggya Uliya e Misiri ne bamutwala eri kabaka Yekoyakimu, eyalagira attibwe nʼekitala omulambo gwe ne gusuulibwa mu kifo ekiziikibwamu ekya lukale.
24Akikamu mutabani wa Safani nʼawolereza Yeremiya nʼamuwagira nʼataweebwayo eri bantu kuttibwa.