Yeremiya 27:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1 Ku ntandikwa yʼobufuuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekigambo kino kyajjira Yeremiya okuva eri Mukama.

2Bwʼati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Weekolere ekikoligo okiteeke ku nsingo yo,

3oweereze ekigambo eri bakabaka ba Edomu, ne Mowaabu, ne Ammoni, ne Tuulo ne Sidoni, ngʼotuma ababaka abazze mu Yerusaalemi eri Zeddekiya kabaka wa Yuda.

4Tumira bakama baabwe obagambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Kino mukitegeeze bakama bammwe.

5Nʼamaanyi gange amangi nʼomukono ogugoloddwa natonda ensi nʼabantu baamu nʼensolo ezigiriko, era ngiwa omuntu yenna gwe njagala.

6Kaakano ŋŋenda kuwaayo amawanga gammwe eri omuddu wange Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni, nʼensolo ezʼomu nsiko nzija kuziteeka wansi we.

7Amawanga gonna galimuweereza ne mutabani we ne muzzukulu we okutuusa ekiseera ekyʼensi ye okusalirwa omusango lwe kirituuka; olwo amawanga mangi ne bakabaka bangi abʼamaanyi balimuwangula.” ’ ”

8“Naye singa eggwanga lyonna oba obwakabaka bwonna tebuliweereza Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni oba okuteeka ensingo wansi wʼekikoligo kyʼabwo, nzija kubonereza ensi eyo nʼekitala, nʼekyeya, ne kawumpuli, bwʼayogera Mukama, okutuusa lwe ndigizikiriza nʼomukono gwange.

9Noolwekyo bannabbi bammwe, nʼabalaguzi, nʼabavvuunuzi bʼebirooto, temubawuliriza wadde abalogo wadde abafumu ababagamba nti, ‘Temulibeera baddu ba kabaka wʼe Babulooni.’

10Baabawa bunnabbi bwa bulimba obunaabaleetera okutwalibwa ewala okuva mu mawanga gammwe. Ndibagobera wala era mulizikirira.

11Naye singa eggwanga lirikutamya ensingo yaalyo wansi wʼekikoligo kya kabaka wʼe Babulooni limuweereze, nzija kuleka eggwanga eryo lisigale mu nsi yaalyo, okugirima, nʼokugibeeramu, bwʼayogera Mukama.”

12Nategeeza obubaka bwe bumu eri Zeddekiya kabaka wa Yuda nga ŋŋamba nti, “Kutamya ensingo yo wansi wʼekikoligo kya kabaka wʼe Babulooni, beera omuddu we nʼabantu be, onoobeera mulamu.

13Lwaki ggwe nʼabantu bo mufa ekitala, nʼekyeya ne kawumpuli Mukama byʼagambye okutuuka ku nsi yonna eteefuuke muddu wa kabaka wʼe Babulooni?

14Towuliriza bigambo bya bannabbi abakugamba nti, ‘Tolibeera muddu wa kabaka wʼe Babulooni,’ kubanga bakutegeeza bya bulimba.

15‘Sibatumanga,’ bwʼayogera Mukama. ‘Bawa obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Noolwekyo, nzija kubagobera wala muzikirire, mmwe ne bannabbi ababategeeza obunnabbi.’ ”

16Olwo ne ŋŋamba bakabona nʼabantu bano bonna nti, “Kino Mukama kyʼagamba nti, Temuwuliriza bannabbi abagamba nti, ‘Amangu ddala ebintu byʼomu nnyumba ya Mukama bijja kukomezebwawo okuva mu Babulooni.’ Bababuulira bunnabbi bwa bulimba.

17Temubawuliriza. Muweereze kabaka wʼe Babulooni, mubeere balamu. Lwaki ekibuga kino kifuuka amatongo?

18Bwe baba bannabbi nga balina ekigambo kya Mukama, leka bakaabirire Mukama Katonda owʼEggye nti ebintu ebyʼomuwendo ebikyasigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu lubiri lwa kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi bireme kutwalibwa Babulooni.

19Kubanga bwʼati Mukama Katonda owʼEggye bwʼayogera ku mpagi, nʼEnnyanja, okuteekebwa ebintu, nʼebintu ebirala ebisigadde mu kibuga kino,

20kabaka Nebukadduneeza owʼe Babulooni byʼataatwala lwe yatwala Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda nʼabakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi.”

21Bwʼatyo bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri ku bikwata ku bibya ebyasigala mu nnyumba ya Mukama ne mu lubiri olwa kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi nti,

22“Biritwalibwa mu Babulooni eyo gye birisigala okutuusa ku lunaku lwe ndibikima, olwo ndibikomyawo mbizze mu kifo kino,” bwʼayogera Mukama.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>