Yeremiya 28:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1 Mu mwezi ogwokutaano ogwʼomwaka gwe gumu, gwe mwaka ogwokuna, obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda nga bwʼakatandika, nnabbi Kananiya omwana wa Azuri eyali abeera e Gibyoni nʼaŋŋambira mu nnyumba ya Mukama nga ba kabona nʼabantu bonna we bali nti,

2“Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nzija kumenya ekikoligo kya kabaka wʼe Babulooni.

3Emyaka ebiri nga teginnaggwaako, ndikomyawo ebintu byʼomu nnyumba ya Mukama mu kifo kino, Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni bye yaggya wano nʼabitwala e Babulooni.

4Era ndikomyawo wano Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda nʼabantu abalala bonna abaava mu Yuda abaatwalibwa e Babulooni,’ bwʼayogera Mukama, ‘kubanga ndimenya ekikoligo kya kabaka wʼe Babulooni.’ ”

5Awo nnabbi Yeremiya nʼaddamu mu bunnabbi bwa Kananiya nga ne bakabona nʼabantu bonna we bali bayimiridde mu nnyumba ya Mukama, nʼagamba nti,

6“Amiina! Bwʼatyo Mukama bwʼaba akola! Mukama atuukirize ebigambo byʼoyogedde ngʼakomyawo ebintu ebyʼomu nnyumba ya Mukama era nʼabawambe bonna abakomyewo mu kifo kino okuva mu Babulooni.

7Wabula, wuliriza kye ŋŋenda okwogera ngʼowuliriza nʼabantu bano bonna nga bawulira.

8Okuva edda nʼedda bannabbi abaatusooka, ggwe nange baategeezanga kubaawo kwa ntalo, na bikangabwa na kawumpuli okugwa ku mawanga nʼobwakabaka obwʼamaanyi.

9Naye nnabbi eyategeeza obunnabbi obwʼemirembe ajja kulabibwa nga ddala atumiddwa Mukama era ngʼobubaka bwʼategeeza butuukiridde.”

10Awo nnabbi Kananiya nʼalyoka akwata ekikoligo ekyali ku nsingo ya Yeremiya nʼakimenya,

11nʼalyoka ayogera eri abantu bonna nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Mu ngeri yʼemu bwʼeti, bwe ndimenya ekikoligo ekya Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni okuva ku mawanga gonna mu myaka ebiri.’ ” Naye ye nnabbi Yeremiya nʼavaawo ne yeetambulira.

12Bwe waayitawo ebbanga ttono nga nnabbi Kananiya amenye ekikoligo ku nsingo ya Yeremiya, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,

13“Genda ogambe Kananiya nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Omenye ekikoligo kya muti naye mu kifo kyakyo ojja kufunamu kikoligo kya kyuma.

14Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nditeeka ekikoligo ekyʼekyuma mu nsingo zʼamawanga gano gonna baweereze Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni era balimuweereza. Ndimuwa obuyinza nʼensolo azifuge.’ ”

15Awo nnabbi Yeremiya nʼagamba nnabbi Kananiya nti, “Wuliriza, Kananiya! Mukama tannakutuma naye ggwe owalirizza eggwanga lino okwesiga obulimba.

16Noolwekyo kino Mukama kyagamba nti, ‘Ndikumpi okukuggya ku nsi. Omwaka guno gwennyini ogenda kufa, kubanga oyigirizza abantu okujeemera Mukama.’ ”

17Mu mwezi ogwʼomusanvu ogwʼomwaka gwe gumu, Kananiya nʼafa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>