1Bino bye byali mu bbaluwa nnabbi Yeremiya gye yaweereza okuva mu Yerusaalemi eri abakadde abaali bakyasigaddewo mu bawaŋŋanguse nʼeri bakabona, ne bannabbi nʼabantu bonna Nebukadduneeza be yali atutte mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi.
2Kino kyaliwo nga kabaka Yekoyakini nʼabakungu be ne Namasole we nʼabakulembeze ba Yuda ne Yerusaalemi, nʼabafundi nʼabaweesi bonna baggyiddwa mu Yerusaalemi.
3Ebbaluwa yagiwa Erasa mutabani wa Safani ne Bemaliya mutabani wa Kirukiya, ne Zeddekiya kabaka wa Yuda be yatuma eri kabaka Nebukadduneeza mu Babulooni. Yali egamba bwʼeti nti,
4Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri, ngʼagamba abo bonna be natwala mu buwaŋŋanguse okuva mu Yerusaalemi okugenda mu Babulooni nti,
5“Mwezimbire amayumba mutuule omwo; mulime ennimiro mulye ebibala byamu.
6Muwase muzaale abaana aboobulenzi nʼaboobuwala; muwasize batabani bammwe abakazi, ne bawala bammwe mubafumbize, nabo bazaale abaana abalenzi nʼabawala. Mweyongere obungi eyo, temukendeera.
7Era munoonye emirembe nʼokukulaakulana kwʼekibuga gye mbatutte mu buwaŋŋanguse. Musabenga Mukama, ekibuga mukisabire kubanga bwe kikulaakulana nammwe mujja kukulaakulana.”
8Ddala kino Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri kyʼagamba nti, “Temukkiriza bannabbi nʼabalaguzi abali mu mmwe kubalimbalimba. Temussaayo mwoyo ku birooto byabwe bye babalootolola.
9Babategeeza obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Sibatumanga,” bwʼayogera Mukama.
10Ddala ddala bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Emyaka nsanvu nga giweddeko e Babulooni, ndijja gye muli ntuukirize ekisuubizo kyange ekyʼekisa mbakomyewo mu kifo kino.
11Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ezʼokubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ezʼokubawa essuubi era nʼobulamu obwʼomu maaso,” bwʼayogera Mukama.
12“Awo mulimpita ne mujja ne munsaba, nange ne mbawulira,” bwʼayogera Mukama.
13
14Mulinzuula era ndibakomyawo okubaggya mu buwaŋŋanguse. Ndibakuŋŋaanya mu mawanga gonna nʼebifo byonna, gye nabagobera, era ndibakomyawo mu kifo mwe nabaggya okubatwala mu buwaŋŋanguse,” bwʼayogera Mukama.
15Muyinza okugamba nti, “Mukama atuyimusirizza bannabbi mu Babulooni.”
16Naye kino Mukama kyʼagamba ku kabaka atuula ku ntebe ya Dawudi nʼabantu bonna abaasigala mu kibuga kino, nʼabantu abʼensi yammwe abataagenda nammwe mu buwaŋŋanguse.
17Bwʼati bwayogera Mukama Katonda owʼEggye nti, “Ndisindika ekitala, nʼenjala ne kawumpuli okubalumba era mbafuule ngʼemitiini emibi ennyo egitayinza kuliika olwʼobubi bwagyo.
18Ndibagoberera nʼekitala, nʼenjala ne kawumpuli ne mbafuula ekyenyinyalwa eri obwakabaka bwonna obwʼensi era ekikolimo nʼekikangabwa, nʼekyʼokusekererwa nʼokuvumwa eri amawanga gonna gye ndibagobera.
19Kubanga tebaawuliriza bigambo byange,” bwayogera Mukama, “ebigambo bye nabatumira emirundi emingi mu baweereza bange bannabbi. Era nammwe abawaŋŋanguse temuwulirizza,” bwʼayogera Mukama.
20Noolwekyo, muwulirize ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abali mu buwaŋŋanguse be nagoba mu Yerusaalemi okugenda mu Babulooni.
21Kino Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri, kyʼayogera ku Akabu mutabani wa Kolaya ne Zeddekiya mutabani wa Maaseya, abaawa obunnabbi mu linnya lyange nti, “Ndibawaayo eri Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni, abatte nga mulaba.
22Olwʼabasajja abo, abali mu buwaŋŋanguse bonna abaava mu Yuda abali mu Babulooni balikozesa ekikolimo kino nti, ‘Mukama akukole nga bwe yakola Zeddekiya ne Akabu, kabaka wʼe Babulooni be yayokya mu muliro.’
23Kubanga bakoze ebyʼekivve mu Isirayiri; bakoze obwenzi ne baka baliraanwa baabwe era ne boogera ebyʼobulimba mu linnya lyange, bye sibagambanga kwogera. Nkimanyi era ndi mujulirwa ku ekyo,” bwʼayogera Mukama.
24Semaaya Omunekeramu mugambe nti,
25“Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, Waweereza ebbaluwa mu mannya go eri abantu bonna mu Yerusaalemi, eri Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona ne bakabona bonna. Wagamba Zeffaniya nti,
26‘Mukama yakuteekawo okuba kabona mu kifo kya Yekoyaada okutwala obuvunaanyizibwa ku nnyumba ya Mukama; oteekwa okuteeka omulalu yenna eyefuula nga nnabbi mu nvuba ne mu masamba.
27Noolwekyo lwaki tokangavudde Yeremiya owʼe Yanasosi, eyefuula nnabbi wakati mu mmwe?
28Atuweerezza obubaka buno mu Babulooni ngʼagamba nti, Obuwaŋŋanguse bwammwe bujja kubeera bwa bbanga ddene. Noolwekyo mwezimbire amayumba mutereere mu nsi, mulime ennimiro mulye ebibala byamu.’ ”
29Wabula Zeffaniya kabona nasomera nnabbi Yeremiya ebbaluwa eno.
30Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,
31“Muweereze obubaka buno eri abawaŋŋanguse nti, ‘Kino Mukama kyʼagamba ku Semaaya Omunekeramu. Kubanga Semaaya yakuwa obunnabbi, wadde nga ssamutuma, era akutuusizza ku kwesiga ebyʼobulimba,
32kino Mukama kyʼagamba nti, Ddala ddala ndibonereza Semaaya Omunekeramu nʼabantu bʼomu nju ye. Tewaliba nʼomu alisigalawo ku bantu be, wadde aliraba ebirungi bye ndikolera abantu bange, kubanga ayigirizza abantu okunjeemera, bwʼayogera Mukama.’ ”