2Yimusa amaaso go olabe ku ntikko yʼobusozi.Waliwo ekifo we bateebakira naawe?Ku mabbali gʼekkubo we watulanganʼolinda abasajja ngʼoli nga Omuwalabu mu ddungu;nʼolyoka oyonoona ensinʼobwenzi bwo nʼekibi kyo.
3Noolwekyo enkuba kyevudde eziyizibwa,nʼenkuba eya ttoggo nʼetetonnya.Naye era otemya nga malaayatokwatibwa nsonyi.
4Tewakaŋŋamba nti Kitange ggwe mukwano gwangeokuva mu buto bwange,
12“ ‘Komawo ggwe Isirayiri,eyanvaako,’ bwʼayogera Mukama.‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bwʼayogera Mukama;‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.
13Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe,mwajeemera Mukama Katonda wammwe,mwasinza bakatonda abalala,wansi wa buli muti oguyimiridde,era ne mutaŋŋondera,’ ”
13bwʼayogera Mukama.
14“Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bwʼayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni.
15Era ndibawa abasumba abakola ngʼomutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera.
16Ennaku bwe zirituuka nga mwaze era nga muli bangi nnyo mu nsi,” bwʼayogera Mukama, “abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko yʼEndagaano. Baliba tebakyagirowooza nako, okugijjukira; oba okulumwa emitima olwʼobutaba nayo wadde okukola endala.
17Ebbanga lyonna Yerusaalemi kiriyitibwa Entebe ya Mukama eyʼObwakabaka, amawanga gonna mwe ganaakuŋŋaaniranga okumugulumiza Mukama mu Yerusaalemi era tebaliddayo kugoberera mitima gyabwe minyoomi.
18Mu nnaku ezo ennyumba ya Yuda eryegatta ku nnyumba ya Isirayiri, era bombi awamu baliva mu nsi eyʼomu bukiikakkono ne bajja mu nsi gye ndiwa bakitammwe okuba omugabo.”
19“Nze kennyini nalowooza nga nayagala okubayisanga nga batabani bange,era mbawe ensi eyeegombebwa,nga gwe mugabo ogusinga obulungi mu mawanga gonna.Nalowooza nti mulimpita ‘Kitammwe,’ne mutanvaako ne mwongera okungoberera.
20Naye ngʼomukazi atali mwesigwa eri bba bwʼabeera,bwe mutyo bwe mutabadde beesigwa gye ndi, mmwe ennyumba ya Isirayiri,”
20bwʼayogera Mukama.
21Okukaaba kwʼAbaana ba Isirayirikuwuliddwa ku ntikko zʼensozi ezitaliiko kantu,nga bakaaba nʼokwegayirira, kubanga baatambulira mu kukola ebibi,ne beerabira Mukama Katonda waabwe.