Yeremiya 30:1-24 LGCB2014 - Bible AI

1Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nti,

2“Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Wandiika ku muzingo ebigambo byonna bye njogedde naawe.

3Ennaku zijja, lwe ndikomyawo abantu bange Isirayiri ne Yuda okuva mu busibe, mbazzeeyo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe babeere omwo,’ bwʼayogera Mukama.”

4Bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebikwata ku Isirayiri ne Yuda nti,

5“Bwʼati bwʼayogera Mukama nti,

5Emiranga egyʼokutya giwulirwa, bulabe teri mirembe.

6Mubuuze mulabe. Omusajja alumwa okuzaala? Kale lwaki ndaba buli musajja owʼamaanyi ngʼatadde emikono gye ku lubuto ngʼomukazi alumwa okuzaala, buli muntu mu maaso yenna asiiwuuse ngʼagenda okufa?

7Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo! Tewali lulirufaanana. Kiriba kiseera kyʼakabi eri Yakobo, naye aliwona nʼakiyitamu.”

7

8“Olulituuka ku lunaku olwo, ndimenya ekikoligo okuva mu nsingo zaabwe era ne mbasaleko amasamba, abʼamawanga nga tebakyaddayo kubafuula baddu,” bwʼayogera Mukama owʼEggye.

9Wabula, bajja kuweerezanga Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe gwe ndibayimusiza.

9

10 “Noolwekyo totya, ggwe Yakobo omuweereza wange, toggwaamu maanyi ggwe Isirayiri,” “Ddala ddala ndibalokola okubaggya mu kifo ekyʼewala, nziggye ezzadde lyammwe okuva mu nsi eyʼobuwaŋŋanguse. Yakobo aliddamu okuba nʼemirembe nʼobutebenkevu, era tewali nʼomu alimutiisatiisa.

10bwʼayogera Mukama.

11Ndi wamu nammwe era ndibalokola, wadde nga ndizikiririza ddala amawanga gye mbagobedde, siribazikiririza ddala mmwe,” bwʼayogera Mukama. Ndibakangavvula nʼobwenkanya, siribaleka nga temubonerezebbwa nʼakatono.

12“Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Ekiwundu kyo tekiwonyezeka, Ebisago byo si byakuwona.

13Tewali nʼomu wa kukuwolereza, tewali ddagala lya kiwundu kyo, toowonyezebwe.

14Abakuyamba bonna bakwerabidde tebakufaako. Nkukubye ngʼomulabe bwe yandikoze ne nkubonereza ngʼowettima bwe yandikoze, kubanga omusango gwʼozzizza munene nnyo nʼebibi byo bingi ddala.

15Lwaki okaaba olwʼekiwundu kyo, obulumi bwo obutaliiko ddagala? Olwʼokwonoona kwo okunene nʼebibi byo ebingi ennyo nkuleeseeko ebintu bino.’ ”

15

16“Naye bonna abakumira nabo baliriibwa, abalabe bo bonna baligenda mu buwaŋŋanguse. Abo abaakunyaga balinyagibwa, abo abaakwelula balyelulwa.

17Naye ndikuzzaawo owone, ndiwonya ebiwundu byo,” “kubanga oyitibwa eyasuulibwa, Sayuuni atalina nʼomu amufaako.”

17bwʼayogera Mukama,

18Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Ndizzaawo ebyʼobugagga byʼeweema za Yakobo era mbeere nʼekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu. Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo, nʼolubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu.

19Mu bo mulivaamu ennyimba ezʼokwebaza era nʼeddoboozi eryʼokujaguza, ndibaaza, era tebaliba batono, ndibawa ekitiibwa, tebalinyoomebwa.

20Abaana baabwe baliba nga bwe baali mu nnaku ezʼedda, era nʼebitundu byabwe mwe baabeeranga bizimbibwe nga ndaba. Ndibonereza bonna ababanyigiriza.

21Omukulembeze waabwe aliba omu ku bo; omukulembeze waabwe aliyimuka okuva mu bo. Ndimuleeta wendi era musembeze kumpi nange, kubanga ani oyo alyewaayo okunyiikira okubeera okumpi nange?”

21bwʼayogera Mukama.

22“Noolwekyo munaabeeranga bantu bange, nange nʼabeeranga Katonda wammwe.”

22

23Laba, omuyaga gwa Mukama gulikuntira mu kiruyi, empewo eyʼamaanyi eyeetooloolera ku mitwe gyʼabakozi bʼebibi.

24Obusungu bwa Mukama obubuubuuka tebujja kukoma okutuusa ngʼatuukirizza ekigendererwa kyʼomutima gwe. Mu nnaku ezirijja, kino mulikitegeera.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>