Yeremiya 31:1-40 LGCB2014 - Bible AI

1“Mu kiseera ekijja, ndiba Katonda wʼebika byonna ebya Isirayiri, era balibeera bantu bange,” bwʼayogera Mukama.

2Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Abantu abawona ekitala baliraba ekisa mu ddungu. Ndijja nʼempa Isirayiri ekiwummulo.”

3Mukama yatulabikira edda ngʼagamba nti, “Nkwagadde nʼokwagala okutaliggwaawo, kyenvudde nkusembeza gye ndi nʼekisa ekijjudde okwagala.

4Ndikuzimba nate, era olizimbibwa, ggwe Omuwala Isirayiri. Era oliddamu okuyonjebwa okwate ebitaasa byo ofulume ozine nʼabo abasanyuka.

5Oliddamu okusimba emizeeyituuni ku lusozi Samaliya, abalimi baligisimba balye ebibala byakwo.

6Walibeerawo olunaku abakuumi lwe balikoowoola ku busozi bwa Efulayimu nti, ‘Mujje, tugende ku Sayuuni, eri Mukama Katonda waffe.’ ”

7Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Muyimbe nʼessanyu olwa Yakobo Muleekaanire waggulu olwʼensi esinga zonna.” Ettendo lyammwe liwulikike, era mugambe nti, “Ayi Mukama, lokola abantu bo, abaasigalawo ku Isirayiri.”

8Laba, ndibakomyawo okuva mu nsi eyʼobukiikakkono, ne mbakuŋŋaanya okuva ku nkomerero yʼensi. Mu bo mulibaamu abazibe bʼamaaso, nʼabalema, nʼabakyala abʼembuto, nʼabalumwa okuzaala, era abantu bangi balikomawo.

9Balikomawo nga bakaaba, balisaba nga mbakomyawo. Ndibakulembera ku mabbali gʼemigga, mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittalira kubanga nze Kitaawe wa Isirayiri, era Efulayimu ye mutabani wange omubereberye.

9

10“Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe amawanga, mukyogere mu nsi ezeewala. ‘Oyo eyasaasaanya Isirayiri alibakuŋŋaanya era alirabirira ekisibo kye ngʼomusumba wʼendiga.’

11Kubanga Mukama aligula Yakobo era abanunule okuva mu mukono gwʼoyo abasinga amaanyi.

12Balijja baleekaana olwʼessanyu ku nsozi za Sayuuni; balisanyukira okugabula kwa Mukama: emmere eyʼempeke, ne wayini omusu, nʼomuzigo, nʼabaana bʼendiga era nʼebisibo. Balibeera ngʼennimiro efukiririddwa obulungi, era tebalyongera kulaba nnaku.

13Abawala balizina beesiime, nʼabavubuka, nʼabakadde. Okukaaba kwabwe ndikufuula essanyu; ndibawa emirembe nʼessanyu okusinga ennaku.

14Ndikkusa bakabona ebintu ebingi, nʼabantu bange mbajjuze ebintu,”

14bwʼayogera Mukama.

15 Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Eddoboozi liwulirwa mu Laama, nga likungubaga nʼokukaaba okungi. Laakeeri akaabira abaana be era agaanye okusirisibwa, kubanga abaana be baweddewo.”

16Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Ziyiza eddoboozi lyo lireme okuwulikika ngʼokaaba nʼamaaso go galeme okujja amaziga, kubanga omulimu gwo gulisasulibwa,” bwʼayogera Mukama. Balikomawo okuva mu nsi yʼomulabe.

17Waliwo essuubi, Abaana bo baliddayo mu nsi yaabwe.

17bwʼayogera Mukama.

18“Ddala mpulidde Efulayimu ngʼakungubaga nti, ‘Wankangavvula ngʼennyana endalu era kaakano nkangavvuddwa. Nziza, nʼakomawo gyʼoli kubanga ggwe Mukama Katonda wange.

19Nga mmaze okubula, neenenya, nga nzizeemu amagezi agategeera ne neekuba mu kifuba. Nakwatibwa ensonyi era ne nswala, kubanga naliko ekivume kyʼobuvubuka bwange.’

20Efulayimu si mwana wange omwagalwa, omwana gwe nsanyukira? Wadde nga ntera okumunenya naye nkyamujjukira. Noolwekyo omutima gwange gumuyaayaanira; nnina ekisa kingi gyʼali,”

20bwʼayogera Mukama.

21“Muteeke ebipande ku nguudo; muteekeeko ebipande. Mwetegereze ekkubo eddene, ekkubo mwe muyita. Komawo ggwe Omuwala Isirayiri, komawo mu bibuga byo.

22Olituusa ddi okudda eno nʼeri, ggwe omuwala atali mwesigwa? Mukama alikola ekintu ekiggya ku nsi, omukazi aliwa omusajja obukuumi.”

23Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Bwe ndibakomyawo okubaggya mu busibe, abantu bʼomu nsi ye Yuda ne mu bibuga byamu bajja kuddamu okukozesa ebigambo bino nti, ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo ekitukuvu, ggwe olusozi olutukuvu.’

24Abantu balibeera wamu mu Yuda ne mu bibuga byakyo byonna, abalimi nʼabo abatambula nʼamagana gaabwe.

25Abalumwa ennyonta ndibanywesa, nzizeemu amaanyi abazirika.”

26Awo we nazuukukira ne ntunulatunula. Otulo twange twali tunnyumidde.

27“Ennaku zijja,” bwayogera Mukama, “lwe ndisimba ennyumba ya Isirayiri ne nnyumba ya Yuda nʼezzadde lyʼabantu nʼeryʼensolo.

28Nga bwe nabalabirira nga bakuulibwa era nga bayuzibwayuzibwa, nga babetentebwa, era nga bazikirizibwa ne beeleetako ekikangabwa, bwe ntyo bwe ndibalabirira nga bazimbibwa era nga basimbibwa,” bwʼayogera Mukama.

29“Mu nnaku ezo abantu banaaba tebakyagamba nti,

29‘Bakitaabwe balidde emizabbibu egikaawa[2], nʼamannyo gʼabaana ne ganyenyeera.’ ”

30Wabula buli muntu alifa olwʼobutali butuukirivu bwe ye, buli muntu alya ezabbibu erinyenyeeza amannyo, amannyo ge galinyenyeera.

31 Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Ekiseera kijja, lwe ndikola endagaano empya nʼennyumba ya Isirayiri era nʼennyumba ya Yuda.

32Teribeera ngʼendagaano eri gye nakola ne bajjajjaabwe bwe nabakwata ku mukono okubakulembera okubaggya mu nsi yʼe Misiri, kubanga baamenya endagaano yange nabo wadde nga nze nnali nga omwami waabwe,”

32bwʼayogera Mukama.

33“Eno yʼendagaano gye nnaakola nʼennyumba ya Isirayiri mu kiseera ekyo,” bwʼayogera Mukama. “Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe, ne ngawandiika ku mitima gyabwe. Ndibeera Katonda waabwe, nabo balibeera bantu bange.

34Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we, oba omusajja muganda we ngʼagamba nti, ‘Manya Mukama,’ Kubanga bonna balimmanya, okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,” “Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, nʼekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”

34bwʼayogera Mukama.

35Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Oyo ateekawo enjuba okwaka emisana, nʼalagira omwezi nʼemmunyeenye okwaka ekiro, asiikuula ennyanja amayengo gaayo ne gawuluguma; Mukama Katonda owʼEggye lye linnya lye.

36“Amateeka gano nga bwe gavudde mu maaso gange, nʼezzadde lya Isirayiri we linaakoma okubeera eggwanga olwʼebyo byonna bye bakoze,” bwʼayogera Mukama Katonda.

37Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, “Okuggyako ngʼeggulu lisobola okupimibwa nʼemisingi gyʼensi wansi okunoonyezebwa, olwo lwʼendigoba ezzadde lya Isirayiri olwʼebyo bye bakoze,” bwʼayogera Mukama.

38“Ennaku zijja,” bwʼayogera Mukama, “ekibuga lwe kinaazimbibwa okuva ku Munaala gwe Kananeri okutuuka ku Mulyango gwʼoku Nsonda.”

39Omuguwa ogupima gujja kupima okuva eyo okutuuka ku lusozi lwʼe Galebu nʼoluvannyuma gupime okuva eyo okutuuka e Gowa.

40Ekiwonvu kyonna emirambo nʼevvu gye bisuuliddwa, era nʼennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni ku bukiikakkono nʼokutuuka ku nsonda eyitibwa Omulyango gwʼEmbalaasi, kinaaba kitukuvu eri Katonda. Ekibuga tekigenda kuddayo kusimbulwa wadde okusaanyizibwawo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>