1
2Amaggye ga kabaka wʼe Babulooni gaali gazingizza Yerusaalemi, era ne Yeremiya nnabbi baali bamusibidde mu luggya lwʼomukuumi mu lubiri lwa kabaka wa Yuda.
3Zeddekiya kabaka wa Yuda yali amusibidde eyo ngʼagamba nti, “Lwaki otegeeza obunnabbi mu ngeri eyo? Ogamba nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama. Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri kabaka wʼe Babulooni, era agenda kukiwamba.
4Zeddekiya kabaka wa Yuda tajja kuwona mikono gyʼAbakaludaaya naye ddala wa kuweebwayo eri kabaka wʼe Babulooni era ajja kwogera naye, balabagane amaaso nʼamaaso.
5Alitwala Zeddekiya mu Babulooni, gyʼalisigala okutuusa lwe ndimujjira. Bwe munaalwanyisa Abakaludaaya, temujja kuwangula,’ bwʼayogera Mukama.”
6Yeremiya nʼagamba nti, “Ekigambo kya Mukama kyanzijira:
7Laba Kanameri mutabani wa Sallumu kojjaawo agenda kujja gyʼoli akugambe nti, ‘Gula ennimiro yange eri mu Anasosi kubanga ngʼowooluganda asinga okuba okumpi guba mukisa gwo era buvunaanyizibwa bwo okugigula.’ ”
8“Awo nga Mukama bwe yali agambye, omwana wa kojja wange Kanameri yajja mu luggya lwʼomukuumi gye nnali nʼaŋŋamba nti, ‘Gula ennimiro yange eri mu Anasosi mu kitundu kya Benyamini, kubanga okirinako obuyinza nʼobuvunaanyizibwa okukinunulayo nʼokyefunira, kyegulire.’ Olwo ne mmanya nti Kino kye kigambo kya Mukama.”
9“Ne ndyoka ngula ennimiro eyʼe Anasosi ku Kanameri omwana wa kojjange, ne mubalira ensimbi, ebitundu kkumi na musanvu ebya ffeeza.
10Ne nteeka omukono ku kiwandiiko kyʼendagaano okugulirwa ettaka ne nkissaako nʼakabonero, ne nfuna abajulirwa, ne mpima ffeeza ku minzaani.
11Ne ntwala ekiwandiiko ekimpa obwannannyini ekirimu enkola era nʼebisuubirwa okugobererwa, era ne kkopi eyʼolwatu.
12Ne mpa Baluki mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya ekiwandiiko kyʼobwannannyini, Kanameri omwana wa kojjange nga waali nʼabajulirwa nga weebali abaateeka emikono ku kiwandiiko ekyʼobwannannyini nʼAbayudaaya bonna abaali batudde mu luggya lwʼomukuumi.”
13“Ne nkuutirira Baluki mu maaso gaabwe nti,
14‘Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, Twala ebiwandiiko bino byombi, ekisibeko envumbo nʼekitali kisibeko obiteeke mu nsumbi eyʼebbumba bisobole okulwawo ebbanga gwanvu.
15Kubanga bwʼatyo bwʼayogera Mukama owʼEggye Katonda wa Isirayiri nti, Ennyumba, nʼebibanja nʼennimiro ezʼemizabbibu biriddamu okugulibwa mu nsi eno.’ ”
16“Nga mmaze okuwaayo ekiwandiiko kino eri Baluki mutabani wa Neriya, nasaba Mukama nti,
17‘Ayi Mukama Katonda, ggwe wakola eggulu nʼensi nʼamaanyi go amangi ennyo, nʼomukono gwo ogugoloddwa. Tewali kintu na kimu kikulema.
18Olaga okwagala kwo eri enkumi nʼenkumi ate oleeta ekibonerezo kyʼebibi bya bakitaabwe ku baana baabwe. Ayi Katonda owʼekitalo era owʼamaanyi, ayitibwa Mukama Katonda owʼEggye,
19ebigendererwa byo nga binene era nʼebikolwa byo nga bikulu. Amaaso go gatunuulidde amakubo gonna agʼabantu, osasula buli muntu ngʼenneeyisa ye bweri era ngʼebikolwa bye bwe biri.
20Wakola obubonero nʼebikolwa ebyamagero mu Misiri era weeyongedde okubikola leero, wonna mu Isirayiri ne mu bantu bonna era erinnya lyo lyeyongedde okwatiikirira.
21Waggya abantu bo Isirayiri mu Misiri nʼobubonero nʼebyʼamagero, nʼomukono gwo ogwʼamaanyi gwe wagolola nʼentiisa eyʼamaanyi.
22Wabawa ensi eno gye wali olayidde okuwa bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata nʼomubisi gwʼenjuki.
23Baagituukamu ne bagitwala, naye tebaakugondera wadde okugoberera amateeka go, byonna bye wabalagira tebaliiko wadde na kimu kye baakola. Kyewava obaleetako akabi kano konna.’
24Laba entuumo zʼomulabe zʼatuumye okuzinda ekibuga okukiwamba nʼekitala, nʼenjala ne kawumpuli, ekibuga kigenda kuweebwayo eri Abakaludaaya abakirumba. Ekyo kye wagamba kituukiridde nga kaakano bwʼolaba.
25Era wadde ngʼekibuga kigenda kuweebwayo eri Abakaludaaya, ggwe Ayi Mukama Katonda oŋŋambye nti, ‘Toola ffeeza weegulire ennimiro era wabeerewo nʼabajulirwa.’ ”
26Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,
27“Nze Mukama, Katonda wʼabantu bonna. Eriyo ekinnema?
28Noolwekyo, bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri Abakaludaaya ne Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni, abanaakiwamba.
29Abakaludaaya abanaalumba ekibuga kino bajja kukikumako omuliro, bakyokye kiggye, nʼamayumba gonna abantu mwe bankwasiza obusungu nga bootereza Baali obubaane waggulu ku mayumba era nʼokuwaayo ebiweebwayo ebyʼokunywa eri bakatonda abalala.’ ”
30“Abantu ba Isirayiri ne Yuda bye bakoze bibi byereere mu maaso gange okuva mu buvubuka bwabwe; era ddala abantu ba Isirayiri tebalina kirala kye bakoze wabula okunnyiiza nʼebyo emikono gyabwe gye gikoze, bwʼayogera Mukama.
31Okuva ku lunaku lwe kyazimbibwa ne leero, ekibuga kino kindeetedde obusungu bungi nʼekiruyi, noolwekyo nteekwa okukiggya mu maaso gange.
32Abantu ba Isirayiri ne Yuda bannyiizizza olwʼebibi byonna bye bakoze, bo ne bakabaka baabwe nʼabakungu baabwe, ne bakabona baabwe ne bannabbi, abasajja ba Yuda nʼabantu ba Yerusaalemi.
33Banvaako ne bankuba amabega mu kifo kyʼokuntunuulira; wadde nga nabayigiriza ne nkiddiŋŋana emirundi mingi naye tebaawuliriza wadde okufaayo eri okukangavvulwa.
34
35Baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, basaddaake batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro eri Moleki, newaakubadde nga sibalagiranga, wadde okukirowooza mu magezi gange, nti balikola ekintu ekibi ennyo bwe kityo kiviireko Yuda okwonoona.”
36Bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, “Ekibuga kino okyogerako nti, ‘Kijja kuweebwayo eri kabaka wʼe Babulooni lwa kitala, nʼenjala, ne kawumpuli.’
37Naye laba, ndibakuŋŋaanya mu mawanga gye mbagobedde nʼobusungu bwange nʼekiruyi ekyʼamaanyi; ndibakomyawo mu kifo kino, mubeere nʼemirembe.
38Era balibeera bantu bange, nange mbeere Katonda waabwe.
39Ndibawa omutima gumu nʼekkubo limu, bantyenga emirembe gyonna, olwʼobulungi bwabwe, nʼobulungi bwʼabaana abaliddawo.
40Ndikola nabo endagaano eteriggwaawo: siribaleka era sirirekeraawo kubakolera birungi, era ndibassaamu omwoyo oguntya, baleme kuddayo kunvaako.
41Ndisanyuka olwʼokubakolera ebirungi era awatali kubuusabuusa ndibasimba mu nsi eno nʼomutima gwange gwonna nʼemmeeme yange yonna.”
42“Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Nga bwe naleeta akabi kano konna ku bantu bano, era nze ndibawa okukulaakulana kwonna kwe mbasuubizza.
43Era nate ennimiro zirigulwa mu ggwanga lino lye mugamba nti, ‘Lifuuse matongo agatagambika, omutali bantu wadde ensolo kubanga kiweereddwayo eri Abakaludaaya.’
44Ennimiro zirigulibwa ffeeza, era nʼebiwandiiko ebyʼobwannannyini biteekebweko omukono, bisabikibwe era bifune nʼababijulira mu Benyamini, ne mu byalo ebyetoolodde Yerusaalemi, ne mu bibuga bya Yuda ne mu bibuga ebyetoolodde Yerusaalemi, ne mu byalo bya Yuda ne mu bibuga ebyʼomu nsi eyʼensozi, ne mu bibuga ebyʼomu nsenyi ne mu bibuga ebyʼomu bukiikaddyo, kubanga ndikomyawo okukulaakulana kwabwe, bwʼayogera Mukama.”