1Yeremiya bwe yali ngʼakyali mu kkomera mu luggya lwʼomukuumi, ekigambo kya Mukama ne kimujjira omulundi ogwokubiri nti,
2“Bwʼati bwʼayogera Mukama, oyo eyakola ensi, Mukama eyagikola era nʼagiteekawo, Mukama lye linnya lye:
3‘Mumpite nʼabayitaba ne mbalaga ebikulu ebitanoonyezeka bye mutamanyi.’
4Kubanga bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ku mayumba agali mu kibuga kino era ne ku mbiri zʼobwakabaka bwa Yuda ebyamenyebwamenyebwa okukozesebwa ngʼentuumo eziziyiza obulumbaganyi nʼekitala
5mu lutalo nʼAbakaludaaya. ‘Birijjula emirambo gyʼabasajja be nditta olwʼobusungu bwange nʼekiruyi. Ndikweka amaaso gange okuva ku kibuga kino olwʼobutali butuukirivu bwabwe bwonna.
6“ ‘Naye ndikiwa obulamu nʼokuwonyezebwa; ndiwonya abantu bange, mbaleetere okweyagalira mu mirembe emigazi era eminywevu.
7Ndikomyawo Yuda ne Isirayiri okubaggya mu buwambe era mbazimbe nga bwe baasooka okubeera.
8Ndibalongoosa okubaggyako ebibi byonna bye bannyonoona era mbasonyiwe nʼekibi ekyʼokunjeemera.
9Olwo ekibuga kino kirindetera okwongera okumanyika, nʼessanyu, nʼettendo era nʼekitiibwa eri amawanga gonna ku nsi agaliwulira ebintu byonna ebirungi bye mbakolera; era balyewuunya bakankane olwʼokukulaakulana nʼemirembe gye nkiwa.’
10“Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Mwogera ku kifo kino nti, “Matongo agaalekebwa awo, omutali bantu wadde ensolo.” Ate nga mu bibuga bya Yuda nʼenguudo za Yerusaalemi ezalekebwawo omutali bantu wadde ensolo, muliddamu okuwulirwa nate
11
12“Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye nti, ‘Mu kifo kino ekirekeddwa awo omutali bantu wadde ensolo, mu bibuga byakyo byonna nate muliddamu amalundiro agʼabasumba mwe banaawummulizanga ebisibo byabwe.
13Mu bibuga ebyʼensi eyʼobusozi, ebyʼeri wansi wʼensozi ezʼomu bugwanjuba era ne Negebu, mu kitundu kya Benyamini, mu byalo ebyetoolodde Yerusaalemi nʼebibuga ebyetoolodde Yuda mwonna ebisibo biriddamu okuyita wansi wʼomukono gwʼoyo abibala,’ bwʼayogera Mukama.
14“ ‘Ennaku zijja,’ bwʼayogera Mukama, ‘lwe ndituukiriza ekisuubizo ekyʼekisa kye nakolera ennyumba ya Isirayiri nʼennyumba ya Yuda.
15
16
17Kubanga bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Dawudi talirema kubeera na muntu kutuula ku ntebe eyʼobwakabaka bwʼennyumba ya Isirayiri,
18wadde bakabona, nʼAbaleevi, okulemwa okubeera nʼomusajja owʼokuyimirira mu maaso gange ebbanga lyonna okuwaayo ssaddaaka ezokebwa, okwokya ekiweebwayo ekyʼempeke era nʼokuwaayo ssaddaaka.”
19Ekigambo kya Mukama kyajjira Yeremiya nti,
20“Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Bwʼoba osobola okumenya endagaano yange nʼemisana era nʼendagaano yange nʼekiro, ne kiba nti emisana nʼekiro tebijja mu biseera byabyo ebyateekebwawo,
21olwo endagaano yange ne Dawudi omuddu wange, nʼendagaano yange nʼAbaleevi, ne bakabona, nʼabaweereza bange eyinza okumenyebwa, Dawudi aleme kuddayo kuba na muntu wa mu nju ye okufuga ku ntebe ye eyʼobwakabaka.
22Ndifuula abʼenju ya Dawudi omuddu wange nʼAbaleevi abaweereza mu maaso gange okwala ngʼemmunyeenye ezʼoku ggulu ezitabalika era abatabalika ngʼomusenyu gwʼokulubalama lwʼennyanja ogutapimika.’ ”
23Ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,
24Tonategeera nti abantu bano bagamba nti, “Mukama agaanye obwakabaka obubiri bwe yalonda? Kale banyooma abantu bange era tebakyababala ngʼeggwanga.
25Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Bwe mba nga sassaawo ndagaano yange nʼemisana nʼekiro nʼamateeka agʼenkalakkalira agʼeggulu nʼensi,
26olwo nzija kwegaana ezzadde lya Yakobo ne Dawudi omuddu wange era sirironda nʼomu ku batabani be okufuga ezzadde lya Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo. Kubanga ndizzaawo nate emikisa gyabwe, era ne mbakwatirwa ekisa.’ ”