Yeremiya 34:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni nʼamaggye ge gonna, nʼabantu bonna abʼensi ze yali afuga bwe baali balwanyisa Yerusaalemi nʼebibuga ebikyetoolodde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nga kigamba nti,

2“Bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Genda eri Zeddekiya kabaka wa Yuda omugambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera nti, Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri kabaka wʼe Babulooni, era agenda kukyokya.

3Tolisumattuka mukono gwe era oliwambibwa otwalibwe gyʼali. Oliraba kabaka wʼe Babulooni nʼamaaso go, olyogera naye nga mutunuuliraganye, era olitwalibwa e Babulooni.

4 “ ‘Wabula wulira ekisuubizo kya Mukama, ggwe Zeddekiya kabaka wa Yuda. Bwʼati bwʼayogera Mukama ku bikukwatako nti, Tolifa kitala;

5olifa mu mirembe. Ngʼabantu bwe bakuma ebyoto mu nnyimbe za bakitaawo, bakabaka abasooka, bwe batyo bwe balikuwa ekitiibwa nga bakujjukira nga bakukungubagira nga bagamba nti, “Woowe mukama waffe!” Nze kennyini mpa ekisuubizo kino, bwʼayogera Mukama.’ ”

6Awo Yeremiya nnabbi bino byonna nʼabibuulira Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu Yerusaalemi,

7nga amaggye ga kabaka wʼe Babulooni bwe galwanyisa Yerusaalemi nʼebibuga ebirala ebya Yuda, Lakisi ne Azeka, ebyali bikyanywereddewo. Bino bye bibuga byokka ebyaliko eminaala egyali gisigadde mu Yuda.

8Kino kye kigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama nga kabaka Zeddekiya amaze okukola endagaano nʼabantu bonna mu Yerusaalemi okulangirira nti abaddu baweereddwa eddembe.

9Buli muntu yenna yali ateekwa okuta omuddu we Omwebbulaniya, abasajja nʼabakazi; nga tewali nʼomu alina kukuumira Muyudaaya munne mu busibe.

10Abakungu bonna nʼabantu abaayingira mu ndagaano eno bakkiriziganya nti Baali bakusumulula abaddu baabwe abasajja nʼabakazi baleme kubakuumira mu buddu nate. Era ne babasumulula.

11Naye oluvannyuma ne bakyuka ne bazzaayo abaddu be baali bawadde eddembe.

12Ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,

13“Bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Nakola endagaano ne bajjajjammwe bwe nabaggya mu nsi yʼe Misiri, mu nsi eyʼobuddu. Nagamba nti,

14 ‘Buli mwaka ogwʼomusanvu buli omu ku mmwe ateekwa okuta Mwebbulaniya munne eyeetunda gyʼali. Bwakuweererezanga emyaka omukaaga, oteekwa okumuta agende.’ Naye bakitammwe tebampuliriza wadde okunfaako.

15Emabegako mmwe mwennyini mwenenya ne mukola ekisaanidde mu maaso gange. Buli omu ku mmwe yalangirira eddembe eri abantu bʼensi ye, era ne mukola nʼendagaano mu nnyumba yange eyitibwa Erinnya lyange.

16Naye kaakano mwekyusizza ne mwonoona erinnya lyange; buli omu ku mmwe yeddiza abaddu abasajja nʼabakazi be mwali mutadde bagende gye baali beeyagalidde. Mubawalirizza babeere abaddu bammwe nate.

17“Noolwekyo, bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Temuŋŋondedde; temutadde bantu ba nsi yammwe. Kale kaakano nangirira ‘eddembe’ gye muli, bwʼayogera Mukama, ‘eddembe’, okuttibwa nʼekitala, ne kawumpuli nʼenjala. Ndibafuula ekyenyinyalwa eri obwakabaka bwonna obwo ku nsi.

18Abasajja abamenye endagaano yange ne batatuukiriza bweyamo buli mu ndagaano gye baakola mu maaso gange, nzija kubakolako ngʼennyana gye basalamu ebitundu ebibiri ne bayita wakati wʼebitundu byayo.

19Abakulembeze bʼomu Yuda ne Yerusaalemi, nʼabakungu bʼembuga ya kabaka, ne bakabona nʼabantu bonna abʼomu nsi abaatambulira wakati wʼebitundu byʼennyana,

20ndibawaayo eri abalabe baabwe abanoonya obulamu bwabwe. Emirambo gyabwe gya kufuuka mmere eri ebinyonyi ebyʼomu bbanga era nʼeri ensolo ezʼomu nsiko.

21“Ndiwaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda nʼabakungu be bonna eri abalabe baabwe ababanoonya okubatta, nʼeri eggye lya kabaka wʼe Babulooni, eribadde lizzeeyo emabega.

22Ŋŋenda kuwa ekiragiro, bwʼayogera Mukama, era ndibakomyawo mu kibuga kino. Balikirwanyisa bakitwale, bakyokye. Era ndizikiriza ebibuga bya Yuda waleme kubaawo abibeeramu.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>