1Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya mu bufuzi bwa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, mutabani wa Yosiya nga kigamba nti,
2“Genda eri ekika ekyʼAbalekabu obayite bajje mu kimu ku bisenge mu nnyumba ya Mukama obawe wayini banywe.”
3Awo ne ntwala Yaazaniya mutabani wa Yeremiya, mutabani wa Kabazziniya ne baganda be ne batabani be bonna, ekika kyonna ekyʼAbalekabu.
4Ne mbayingiza mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya batabani ba Kanani mutabani wa Igudaliya omusajja wa Katonda. Kyali kiriraanye ekisenge kya bakungu, ekyali waggulu wʼekisenge kya Maaseya mutabani wa Sallumu omukuumi wʼoluggi.
5Ne nteeka ebibya ebijjudde wayini nʼebikopo ebimu mu maaso gʼabasajja abʼennyumba yʼAbalekabu ne mbagamba nti, “Munywe ku wayini.”
6Naye ne baddamu nti, “Tetujja kunywa wayini kubanga jjajjaffe Yonadabu mutabani wa Lekabu yatulagira nti, ‘Tewabanga nʼomu ku mmwe wadde abaana bammwe anywanga wayini.
7Era temuzimbanga ennyumba, wadde okusiganga ensigo wadde okusimba emizabbibu; temubanga na bintu bino byonna, naye mubeeranga mu weema zokka. Olwo munaawangaliranga mu nsi gye munaaberangamu.’
8Twagondera ekiragiro kya jjajjaffe Yonadabu mutabani wa Lekabu kye yatulagira. Ffe wadde bakazi baffe wadde batabani baffe wadde bawala baffe tetunywangako ku wayini,
9oba okuzimba ennyumba okusulamu oba okuba nʼennimiro ezʼemizabbibu, oba ebibanja oba ebirime.
10Tusula mu weema era tugondedde bulambalamba byonna jjajjaffe Yonadabu bye yatulagira.
11Naye Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni bwe yazinda ensi eno ne tugamba nti, ‘Tugende e Yerusaalemi tuwone eggye eryʼAbakaludaaya nʼeryʼAbasuuli,’ kyetuvudde tubeera mu Yerusaalemi.”
12Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,
13“Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, Genda ogambe abantu ba Yuda nʼabʼomu Yerusaalemi nti, ‘Temuyinza kubaako kye muyiga, ne mugondera ebigambo byange?
14Yonadabu mutabani wa Lekabu yalagira batabani be obutanywa wayini nʼekiragiro kino kyakumibwa. Okutuusa ne leero tebanywa wayini, kubanga baagondera etteeka lya jjajjaabwe. Naye njogedde nammwe emirundi mingi, naye temuŋŋondedde.
15Emirundi mingi, natuma abaddu bange bonna bannabbi gye muli.’ Babagamba nti, ‘Buli omu ku mmwe ateekwa okuva mu makubo ge amabi akyuse ebikolwa bye, muleme kugoberera bakatonda balala okubaweereza, mulyoke mubeere mu nsi gye nabawa ne bajjajjammwe.’ Naye temwanfaako wadde okumpuliriza.
16Abʼenda ya Yonadabu mutabani wa Lekabu baakuuma ekiragiro jjajjaabwe kye yabalagira, naye abantu bano tebaŋŋondedde.”
17“Noolwekyo, bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ŋŋenda kuleeta ku Yuda ne ku buli muntu yenna atuula mu Yerusaalemi buli kibonoobono kye naboogerako. Nayogera nabo, naye tebampuliriza; nabayita, naye tebanziramu.’ ”
18Awo Yeremiya nʼagamba ennyumba yʼAbalekabu nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Mugondedde ekiragiro kya jjajjaammwe Yonadabu ne mukwata byonna bye yabalagira ne mutuukiriza byonna bye yabagamba.’
19Noolwekyo, bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Yonadabu mutabani wa Lekabu talirema kuba na mwana we alimpeereza.’ ”