1
2“Twala omuzingo gwʼempapula oguwandiikeko ebigambo byonna bye njogedde naawe ebikwata ku Isirayiri, ne Yuda nʼamawanga gonna okuva mu biseera bye natandika okwogera naawe okuva mu bufuzi bwa Yosiya okutuusa kaakano.
3Oboolyawo abantu ba Yuda bwe banaawulira ku bikangabwa bye ntegeka okubateekako, buli omu ku bo anaakyuka okuleka amakubo ge amabi, ndyoke mbasonyiwe ebibi byabwe nʼobutali butuukirivu bwabwe.”
4Awo Yeremiya nʼayita Baluki mutabani wa Neriya, era nga Yeremiya ayogera ebigambo byonna Mukama bye yali ayogedde naye, Baluki nʼabiwandiika ku muzingo.
5Awo Yeremiya nʼagamba Baluki nti, “Nagaanibwa okugenda mu nnyumba ya Mukama.
6Kale laga mu nnyumba ya Mukama ku lunaku olwʼokusiiba osomere abantu ebigambo bya Mukama ebiri ku muzingo byʼowandiise nga njogera. Bisomere abantu ba Yuda bonna abava mu bibuga byabwe.
7Oboolyawo banaaleeta okwegayirira kwabwe eri Mukama, era buli omu anaava mu makubo ge amabi, kubanga obusungu nʼekiruyi Mukama byʼagambye okutuusa ku bantu bano binene nnyo.”
8Baluki mutabani wa Neriya nʼakola byonna nnabbi Yeremiya bye yamugamba okukola; nʼasomera, ebigambo bya Mukama okuva mu muzingo, mu yeekaalu ya Mukama.
9Mu mwezi ogwomwenda ogwʼomwaka ogwokutaano ogwʼobufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekiseera ekyʼokusiibira mu maaso ga Mukama kyalangirirwa eri abantu bonna mu Yerusaalemi era nʼabo abaali bavudde mu bibuga bya Yuda.
10Awo ngʼabantu bonna bawulira, Baluki nʼasoma ebigambo bya Yeremiya okuva mu muzingo, mu nnyumba ya Mukama ngʼali mu kisenge kya Gemaliya mutabani wa Sefani omuwandiisi, ekyali mu luggya olwʼekyengulu, mu mulyango omuggya ogwʼennyumba ya Mukama ngʼabantu bonna bawulira.
11Mikaaya mutabani wa Gemaliya mutabani wa Safani bwe yawulira ebigambo bya Mukama byonna ebyali mu muzingo,
12nʼagenda eri ennyumba yʼomuwandiisi mu lubiri lwa kabaka, abakungu bonna gye baali batudde: Erisaama omuwandiisi, ne Deraya mutabani wa Samaaya, ne Erunasani mutabani wa Akubooli, ne Gemaliya mutabani wa Safani, ne Zeddekiya mutabani wa Kananiya, nʼabakungu bonna abalala.
13Mikaaya ngʼababuulidde byonna bye yali awulidde Baluki asomera abantu okuva ku muzingo,
14abakungu bonna ne batuma Yekudi mutabani wa Nesaniya, mutabani wa Seremiya mutabani wa Kuusi eri Baluki amugambe nti, “Leeta omuzingo gwʼosomedde abantu, naawe ojje.” Awo Baluki mutabani wa Neriya nʼatwalira omuzingo mu mikono gye nʼagubaleetera.
15Ne bamugamba nti, “Tuula wansi, ogutusomere.” Awo Baluki nʼagubasomera.
16Bwe baawulira ebigambo ebyo byonna, buli omu nʼatunula ku munne ngʼatidde ne bagamba Baluki nti, “Tuteekwa okubuulira kabaka ebigambo bino byonna.”
17Awo ne babuuza Baluki nti, “Tubuulire, wazze otya okuwandiika bino byonna? Yeremiya ye yabikugambye?”
18Baluki nʼabaddamu nti, “Weewaawo ye yayogedde ebigambo bino byonna, nze ne mbiwandiika ne bwino ku muzingo.”
19Awo abakungu bonna ne bagamba Baluki nti, “Ggwe ne Yeremiya mugende mwekweke. Temukkiriza muntu yenna kumanya gye muli.”
20Bwe baamala okutereka omuzingo mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi, ne bagenda eri kabaka mu luggya ne bamutegeeza byonna.
21Kabaka nʼatuma Yekudi okuleeta omuzingo, Yekudi nʼaguleeta okuva mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi agusomere kabaka nʼabakungu bonna abaali bamuyimiridde ku lusegere.
22Gwali mwezi gwa mwenda ne kabaka yali atudde mu nnyumba etuulwamu mu budde obwʼobutiti, ngʼomuliro gwakira mu kibya kyagwo mu maaso ge.
23Buli Yekudi lwe yasomangako empapula ssatu oba nnya ezʼomuzingo, kabaka ngʼazisala nʼakambe kʼomuwandiisi nʼazisuula mu muliro okutuusa omuzingo gwonna lwe gwajjiira mu muliro.
24Kabaka nʼabantu bonna abaawulira ebigambo bino tebaatya, wadde okuyuza engoye zaabwe.
25Newaakubadde nga Erunasani, ne Deraaya ne Gemaliya beegayirira kabaka obutayokya muzingo, teyabawuliriza.
26Naye kabaka yalagira Yerameeri mutabani wa kabaka ne Seraya mutabani wa Azulyeri ne Seremiya mutabani wa Abudeeri okukwata Baluki omuwandiisi ne nnabbi Yeremiya, wabula Mukama ngʼabakwese.
27Kabaka ngʼamaze okwokya omuzingo ogwalimu ebigambo Baluki bye yali awandiise nga Yeremiya abyogera, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,
28“Twala omuzingo omulala oguwandiikeko ebigambo byonna ebyali ku muzingo ogwasooka, Yekoyakimu kabaka wa Yuda gwe yayokya.
29Gamba ne Yekoyakimu kabaka wa Yuda nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Wayokya omuzingo ogwo nʼogamba nti, “Lwaki wakiwandiikamu nti Kabaka wʼe Babulooni alijja azikiririze ddala ensi eno agimalemu abantu nʼensolo?”
30Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama eri Yekoyakimu kabaka wa Yuda nti, Tajja kubeera na muntu nʼomu kutuula ku ntebe ya Dawudi, nʼomulambo gwe gulisuulibwa ebweru gwanikibwe mu musana emisana ne mu butiti ekiro.
31Ndimubonereza nʼabaana be, ne bakalabaalaba be olwʼokwonoona kwabwe. Ndimuleetako ne bonna ababeera mu Yerusaalemi ne bonna ababeera mu Yuda buli kibonoobono kye naboogerako, kubanga tebawulirizza.’ ”
32Olwo Yeremiya nʼatwala omuzingo omulala nʼaguwa omuwandiisi Baluki mutabani wa Neriya; nga Yeremiya ayogera, Baluki yawandiikamu ebigambo byonna ebyali mu muzingo guli Yekoyakimu kabaka wa Yuda gwe yayokya mu muliro. Nʼebigambo bingi ebifaanana bwe bityo byayongerwamu.