1
2Wabula ye wadde abakungu be wadde abantu abʼomu nsi tebaafaayo ku bigambo Mukama bye yali ayogedde ngʼayita mu nnabbi Yeremiya.
3Wabula kabaka Zeddekiya nʼatuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, bamutegeeze nti, “Tusabire eri Mukama Katonda waffe.”
4Awo Yeremiya yali alina eddembe okujja nga bwʼayagala mu bantu, kubanga yali tannaba kuteekebwa mu kkomera.
5Eggye lya Falaawo lyali livudde e Misiri era Abakaludaaya abaali balumbye Yerusaalemi bwe baakiwulira, ne bava e Yerusaalemi.
6Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Yeremiya nga kigamba nti,
7“Bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okunnebuuzako nti, ‘Eggye lya Falaawo erizze okubayambako, lijja kuddayo mu nsi yaalyo e Misiri.
8Abakaludaaya bakomewo balumbe ekibuga kino; bajja kukiwamba bakyokye.’
9“Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Temwerimbarimba nga mulowooza nti, ‘Abakaludaaya ddala baakutuleka.’ Tebajja kubaleka.
10Wadde nga mwandiwangudde, eggye lyonna erya Babulooni eribalumbye, abatuusiddwako ebisago bokka nga be basigadde mu weema zaabwe, bandivuddeyo ne bookya ekibuga kino.”
11Awo eggye lyʼAbakaludaaya nga livudde mu Yerusaalemi olwʼeggye lya Falaawo,
12Yeremiya nʼava mu kibuga agende mu bitundu bya Benyamini afune omugabo gwe ogwʼebintu mu bantu eyo.
13Naye bwe yatuuka ku mulyango gwa Benyamini, Omukulu wʼabaserikale eyali ayitibwa Iriya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kananiya nʼamukwata nʼagamba nti, “Ogenda kwegatta ku Bakaludaaya!”
14Yeremiya nʼamuddamu nti, “Ompayiriza! Sigenda kusenga Bakaludaaya.” Naye Iriya nʼatamuwuliriza; nʼakwata Yeremiya nʼamutwala eri abakungu.
15Baanyiigira Yeremiya ne bamukuba ne bamusibira mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, gye baali bafudde ekkomera.
16Yeremiya yateekebwa mu kasenge akaali mu kinnya mwe yamala ebbanga eddene.
17Awo kabaka Zeddekiya nʼamutumya nʼamuleeta mu lubiri gye yamubuuliza mu kyama nti, “Olinayo ekigambo kyonna okuva eri Mukama?” Yeremiya nʼaddamu nti, “Weewaawo, ojja kuweebwayo eri kabaka wʼe Babulooni.”
18Awo Yeremiya nʼagamba Kabaka Zeddekiya nti, “Musango ki gwe nzizizza gyʼoli oba eri abakungu bo oba abantu bano; mulyoke munteeke mu kkomera?
19Bannabbi bo baluwa abakulagula nti, ‘Kabaka wʼe Babulooni tajja kukulumba ggwe wadde ensi eno?
20Naye kaakano mukama wange kabaka nsaba owulirize, nkwegayirira, tonzizaayo mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, kuba nandifiira eyo.’ ”
21Kabaka Zeddekiya nʼalyoka alagira Yeremiya okuteekebwa mu luggya lwʼabakuumi nʼaweebwanga omugaati buli lunaku okuva ewʼomufumbi waagyo mu Yerusaalemi, okutuusa emigaati lwe gyaggwa mu kibuga. Awo Yeremiya nʼasigala mu luggya lwʼabaserikale abakuumi.