1Awo Sefatiya mutabani wa Mattani ne Gedaliya mutabani wa Pasukuli ne Yukali mutabani wa Malukiya ne bawulira ebigambo Yeremiya bye yali agamba abantu bonna nti,
2“Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Buli muntu anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, enjala oba kawumpuli, naye buli afuluma nʼagenda eri Abakaludaaya ajja kuba mulamu.’
3Era bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Ekyamazima ekibuga kino kya kuweebwayo eri eggye lya kabaka wʼe Babulooni; anaakiwamba.’ ”
4Awo abakungu ne bagamba kabaka nti, “Omusajja ono asaana kuttibwa. Amalamu abaserikale abasigadde mu kibuga amaanyi, era nʼabantu bonna, olwʼebintu byʼabagamba. Omuntu ono tanoonya bulungi bwʼabantu naye kuzikirizibwa kwabwe.”
5Kabaka Zeddekiya nʼaddamu nti, “Ali mu mikono gyammwe, siyinza kubawakanya.”
6Awo ne batwala Yeremiya ne bamuteeka mu kinnya kya Malukiya mutabani wa kabaka ekyali mu luggya lwʼabakuumi. Yeremiya ne baamussaayo nʼemiguwa mu kinnya. Tekyalimu mazzi wabula ebitosi, era omwo Yeremiya mwe yabbika.
7Naye Ebedumeleki Omuwesiyopya omu ku balaawe bʼomu lubiri lwa kabaka bwe yawulira nga batadde Yeremiya mu kinnya, nga ne kabaka atudde ku mulyango gwa Benyamini,
8Ebedumeleki nʼava mu lubiri nʼagenda eri kabaka nʼamugamba nti,
9“Mukama wange kabaka, abantu bano bakoze bubi mu byonna bye bakoze nnabbi Yeremiya okumusuula mu kinnya, gyʼanafiira enjala nga tekyali mugaati gwonna mu kibuga.”
10Awo kabaka nʼalagira Ebedumeleki Omuwesiyopya nti, “Twala abasajja amakumi asatu okuva wano musitule nnabbi Yeremiya okuva mu kinnya nga tannafa.”
11Awo Ebedumeleki nʼatwala abasajja ne bagenda mu kisenge wansi wʼetterekero lyʼensimbi mu lubiri. Nakwata ebigoye ebimu ebikadde nʼengoye enziinaziina nʼabissa awamu nʼemiguwa eri Yeremiya mu kinnya.
12Ebedumeleki Omuwesiyopya nʼagamba Yeremiya nti, “Teeka ebigoye bino ebikadde wansi wʼenkwawa zo okunyweza emiguwa wansi wʼemikono gyo.” Yeremiya nʼakola bwʼatyo.
13Ne bamusikayo nʼemiguwa ne bamuggya mu kinnya. Yeremiya nʼasigala mu luggya lwʼabakuumi.
14Kabaka Zeddekiya nʼatumya nnabbi Yeremiya bamuleete ku mulyango ogwokusatu ogwa yeekaalu ya Mukama. Kabaka nʼagamba Yeremiya nti, “Nnina kyeŋŋenda okukubuuza. Tobaako kyʼonkweka.”
15Yeremiya nʼagamba Zeddekiya nti, “Bwe nnaakuddamu tonzite? Ne bwe nnaakuwa amagezi tojja kumpuliriza.”
16Naye kabaka Zeddekiya nʼalayira ekirayiro mu kyama eri Yeremiya nti, “Nga Katonda bwʼali omulamu, eyatuwa omukka gwe tussa, sijja kukutta wadde okukuwaayo eri abo abanoonya okukutta.”
17Awo Yeremiya nʼagamba Zeddekiya nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Singa weewaayo eri abakungu ba kabaka wʼe Babulooni, ojja kukuumibwa bulungi tootuukibweko kabi konna, nʼekibuga kino tekijja kwokebwa; ggwe nʼabʼomu maka go munaabeera balamu.
18Naye bwʼoteweeyo eri abakungu ba kabaka wʼe Babulooni, ekibuga kino kijja kuweebwayo eri Abakaludaaya bakyokye; nawe wennyini tojja kubawona.’ ”
19Kabaka Zeddekiya nʼagamba Yeremiya nti, “Ntya Abayudaaya abaddukidde mu Babulooni, kubanga Abakaludaaya bayinza okumpaayo gye bali ne bambonyaabonya.”
20Yeremiya nʼamuddamu nti, “Tebaakuweeyo. Ggwe gondera Mukama Katonda ngʼokola kye nkugamba. Olwo binaakugendera bulungi, nawe tojja kuttibwa.
21Naye bwonoogaana okwewaayo, kino Mukama kyandaze:
22Abakazi bonna abasigadde mu lubiri lwa kabaka wa Yuda bajja kuleetebwa eri abakungu ba kabaka wʼe Babulooni, bakugambe nti,
23“Bakazi bo nʼabaana bo bonna balireetebwa eri Abakaludaaya. Ggwe kennyini tojja kubasumattuka ojja kukwatibwa kabaka wʼe Babulooni; nʼekibuga kino kijja kwokebwa.”
24Awo Zeddekiya nʼagamba Yeremiya nti, “Tobuulirako muntu nʼomu ku bye twogedde, bwʼonookikola ojja kufa.
25Abakungu bwe banaawulira nti Wayogeddeko nange ne bajja ne bakubuuza nti, ‘Tubuulire kye wagambye kabaka ne kabaka kye yakuzeemu, totukweka kintu kyonna sikulwa nga tukutta,’
26bagambe nti, ‘Mbadde neegayirira kabaka aleme kunzizaayo eri mu nnyumba ya Yonasaani okufiira eyo.’ ”
27Abakungu bonna ne bajja eri Yeremiya okumubuuza, nʼabaddamu byonna nga kabaka bye yamulagira okwogera. Ne bataddayo kumubuuza kintu kyonna, kubanga tewaali nʼomu eyali awulidde bye yali ayogedde ne kabaka.
28