Yeremiya 39:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Mu mwaka ogwomwenda ogwʼobufuzi kwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogwʼekkumi, Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni, nʼalumba Yerusaalemi, nʼeggye lye lyonna, nʼakizingiza.

2Ku lunaku olwʼomwenda olwʼomwezi ogwokuna ogwʼomwaka ogwʼekkumi nʼogumu ogwʼobufuzi kwa Zeddekiya, ekisenge kyʼekibuga kyabotolwa.

3Awo Nerugalusalezeeri, ne Samugaluneebo, ne Salusekimu, ne Labusalisi, ne Nerugalusalezeeri, ne Labumagi, nʼabakungu abalala bonna aba kabaka wʼe Babulooni ne bajja ne batuula mu mulyango ogwa wakati ogwa Yerusaalemi.

4Awo Zeddekiya kabaka wa Yuda nʼabaserikale be bonna bwe babalaba ne bava mu kibuga kiro ne badduka; ne bayita mu nnimiro ya kabaka, nga bayita mu mulyango wakati wʼebisenge ebibiri, ne boolekera Alaba.

5Naye eggye lyʼAbakaludaaya ne libagoba ne lisanga Zeddekiya mu nsenyi ezʼe Yeriko, ne bamuwamba, ne bamuleeta eri kabaka Nebukadduneeza owʼe Babulooni e Libuna mu nsi yʼe Kamasi; nʼamusalira eyo omusango.

6Kabaka wʼe Babulooni nʼattira batabani ba Zeddekiya mu maaso ga kitaabwe e Libuna, era kabaka wʼe Babulooni nʼatta abakungu ba Yuda bonna.

7Nebukadduneeza nʼaggyamu Zeddekiya amaaso, nʼamusiba mu masamba nʼamutwala e Babulooni.

8Abakaludaaya ne bookya ennyumba ya kabaka nʼennyumba zʼabantu, ne bamenya nʼebisenge bya Yerusaalemi.

9Awo Nebuzaladaani omuduumizi wʼeggye nʼatwala abantu abaali basigaddewo mu kibuga, nʼabo abaali bamwegasseeko, nʼabo abaali basigaddewo mu bifo ebirala, e Babulooni.

10Nebuzaladaani omuduumizi wʼeggye, nʼaleka abamu ku bantu abaavu abaali batalina kantu, mu nsi ya Yuda; nʼabawa ebibanja nʼennimiro zʼemizabbibu.

11Awo Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni yali awadde Nebuzaladaani omuduumizi wʼeggye lya kabaka wʼe Babulooni, ebiragiro bino ebikwata ku Yeremiya ngʼamugamba nti,

12“Mmutwale omulabirire: tomubonyaabonya wabula mukolere byonna byʼayagala.”

13Awo Nebuzaladaani omuduumizi wʼeggye, ne Nebusazibaani omukungu owʼoku ntikko ne Nerugalusalezeeri, ne Labumagi, nʼabaami bonna abakulu aba kabaka wʼe Babulooni,

14ne batumya ne baggya Yeremiya mu luggya lwʼabaserikale. Ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, amuzzeeyo ewaabwe. Olwo nʼasigala nʼabantu be.

15Yeremiya bwe yali asibiddwa mu luggya lwʼabaserikale abakuumi, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti,

16“Genda ogambe Ebedumeleki Omuwesiyopya nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okutuukiriza ebigambo byange eri ekibuga kino nga nkozesa ebibonoobono, si kukulaakulana. Mu biseera ebyo birituukirizibwa nga mulaba nʼamaaso gammwe.

17Naye ndikuwonya ku lunaku olwo,’ bwʼayogera Mukama; ‘toliweebwayo eri abo bʼotya.

18Ndikuwonya; tolittibwa, olisigala ngʼoli mulamu, kubanga onneesiga, bwʼayogera Mukama.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>