2era singa olayira mu mazima, mu bwenkanyaera mu ngeri entuufu yennyini nti, ‘Ddala nga Mukama bwʼali omulamu,’olwo amawanga gonna mu ye mwe gajja okuweerwa omukisaera mu ye mwe ganeenyumiririzanga.”
3ⓓ Kubanga bwʼati bwʼayogera Mukama eri abantu ba Yuda era nʼeri abantu bʼomu Yerusaalemi nti, “Mulime ennimiro zammwe ezitali nnime,temusiga mu maggwa.
4Mukoowoole Mukama,mweweeyo mutukuze emitima gyammwemwe abantu ba Yuda ne Yerusaalemi,obusungu bwange buleme okubuubuuka ngʼomuliro, olwʼebikolwa byammwe ebibi,ne wataba ayinza kubuzikiza.”
5“Kirangirire mu Yudaera okitegeeze mu Yerusaalemi ogambe nti,‘Mufuuwe ekkondeere mu nsi yonna!Mulangirire nga mugamba nti, Mukuŋŋaane,tuddukire mu bibuga ebiriko ebigo!’
6Weereza obubaka eri Sayuuni nti,Mudduke temulwa,kubanga ndireeta okuzikiriza okuva mu bukiikakkono,okuzikiriza okwʼamaanyi.”
6
7Empologoma evudde mu kisaka kyayo,omuzikiriza wʼamawanga afulumye gyʼabeera, azze okumalawo ensi yo.Ebibuga byammwe bijja kuzikirizibwabibuleko abibeeramu.
15Eddoboozi lyawulirwa okuva mu Ddaani,nga lirangirira okuzikirizibwa okuva mu nsozi za Efulayimu.
16“Labula amawanga nti Ajja:kirangirirwe mu Yerusaalemi nti,‘Abalabe bajja okuva mu nsi eyʼewala nga bayimba ennyimba ezʼentalonga balumba ebibuga bya Yuda.