1Ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya, nga Nebuzaladaani omuduumizi wʼabambowa amusumuludde e Laama, bwe yamusanga ngʼasibiddwa mu masamba nʼabasibe abalala bonna abʼe Yerusaalemi ne Yuda abaali batwalibwa e Babulooni mu busibe.
2Omuduumizi wʼabaserikale yatwala Yeremiya nʼamugamba nti, “Mukama Katonda wo, ye yaleeta ekivume kino ku kifo kino.
3Kaakano Mukama akireese era akikoze nga bwe yasuubiza. Bino byonna byabaawo kubanga abantu bo baasobya eri Mukama ne batamugondera.
4Naye leero nkusumulula okuva mu njegere ezʼoku mikono gyo. Jjangu tugende ffembi e Babulooni obanga oyagala, nnaakulabirira; naye bwʼoba nga toyagala, tojja. Laba, ensi yonna eri mu maaso go, genda yonna gyʼoyagala.”
5Wabula Yeremiya nga tannaba kukyuka kugenda, Nebuzaladaani nʼayongerako nti, “Ddayo eri Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani, kabaka wʼe Babulooni gwʼafudde Gavana wʼebibuga bya Yuda, obeere naye mu bantu, oba genda yonna gyʼosiima okubeera.” Awo omuduumizi wʼabambowa nʼamuwa ebyokulya nʼekirabo nʼamuleka.
6Awo Yeremiya nʼagenda ewa Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa nʼabeera naye nʼabantu abaaliyo abaali balekeddwa mu nsi eyo.
7
8Awo Isimaeri mutabani wa Nesaniya, ne Yokanaani ne Yonasaani batabani ba Kaleya, ne Seraya mutabani wa Tanukumesi, ne batabani ba Efayi Omunetofa, ne Yezaniya omwana wʼomu Maakasi, ne bagenda nʼabasajja baabwe eri Gedaliya e Mizupa.
9Awo Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani nʼabalayirira bo nʼabasajja baabwe ngʼayogera nti, “Temutya kuweereza Bakaludaaya. Mubeere mu nsi, muweereze kabaka wʼe Babulooni munaaba bulungi.
10Nze kennyini nzija kusigala e Mizupa okubakiikirira eri Abakaludaaya abajja gye tuli, naye mmwe mukungule emizabbibu, nʼebibala ebyʼomu kyeya, mukuŋŋaanye nʼomuzigo mubiteeke mu materekero gammwe, mubeere mu bibuga bye mufuga.”
11Awo Abayudaaya bonna mu Mowaabu, ne Amoni, ne Edomu nʼensi endala zonna bwe baawulira nti, Kabaka wʼe Babulooni yali aleseeyo abantu mu Yuda era nga ataddewo Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani okuba Gavana waabwe,
12bonna ne bakomawo mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa, ne bava mu nsi zonna gye baali basaasaanidde. Ne bakungula ebirime mu bungi, emizabbibu nʼebibala ebyʼomu kyeya.
13Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya nʼabakulu bonna abʼebibinja bya magye abaali mu byalo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa.
14Ne bamugamba nti, “Tomanyi nga Baalisi kabaka wʼabaana ba Amoni atumye Isimaeri mutabani wa Nesaniya okukutta?” Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu teyakikkiriza.
15Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya nʼayogera ne Gedaliya e Mizupa kyama ngʼagamba nti, “Ka ŋŋende nkwegayiridde nzite Isimaeri mutabani wa Nesaniya, so tewaliba muntu alikimanya. Lwaki akutta, Abayudaaya bonna abakuŋŋaanidde gyʼoli basaasaane, ekitundu kya Yuda ekifisseewo nakyo kizikirire?”
16Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu nʼagamba Yokanaani mutabani wa Kaleya nti, “Tokola kintu bwe kityo! Kyʼoyogera ku Isimaeri si kituufu.”