1
2Isimaeri mutabani wa Nesaniya nʼabasajja ekkumi abaali naye ne bayimuka ne batta Gedaliya, mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, nʼekitala, gavana, kabaka wʼe Babulooni gwe yali ataddewo okufuga mu nsi.
3Isimaeri nʼatta nʼAbayudaaya bonna abaali ne Gedaliya e Mizupa, nʼabaserikale Abakaludaaya abaaliyo.
4Olunaku olwaddirira Gedaliya ngʼamaze okuttibwa, nga tewannabaawo akimanyiiko,
5abasajja kinaana abaali beemwedde ebirevu, nga bayuzizza engoye zaabwe era nga beesazeesaze, bajja okuva e Sekemu, ne Siiro ne Samaliya, nga baleese ekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke nʼobubaane ebyʼomu nnyumba ya Mukama.
6Isimaeri omwana wa Nesaniya nʼava e Mizupa okubasisinkana ngʼagenda bwʼakaaba. Bwe yabatuukako, nʼabagamba nti, “Mujje eri Gedaliya omwana wa Akikamu.”
7Bwe baatuuka mu kibuga, Isimaeri mutabani wa Nesaniya nʼabasajja be ne batta abamu ku basajja abo, ne babasuula mu kinnya.
8Naye kkumi ku bo ne bagamba Isimaeri nti, “Totutta! Tulina eŋŋaano ne sayiri, nʼomuzigo, nʼomubisi gwʼenjuki, tubikwese mu nnimiro.” Awo ne babaleka ne batabattira wamu na bali abalala.
9Ekinnya mwe baasuula emirambo gyʼabasajja bonna be battira awamu ne Gedaliya, kye kiri kabaka Asa kye yali asimye ngʼalwanyisa Baasa kabaka wa Isirayiri. Isimaeri mutabani wa Nesaniya yakijjuza abafu.
10Isimaeri nʼawamba abantu bonna abalala abaali e Mizupa, abawala ba kabaka nʼabalala bonna abaali basigaddeyo, Nebuzaladaani omuduumizi wʼeggye lya kabaka Nebukadduneeza be yali awadde Gedaliya mutabani wa Akikamu. Isimaeri mutabani wa Nesaniya nʼabatwala nga bawambe ne yeetegeka okubasomosa okubatwala eri Abamoni.
11Yokanaani mutabani wa Kaleya nʼabaduumizi bonna abaali naye bwe baawulira ebikolobero Isimaeri mutabani wa Nesaniya bye yali akoze,
12ne batwala abasajja baabwe bonna ne bagenda okulwanyisa Isimaeri mutabani wa Nesaniya. Ne bamutuukako okumpi nʼamazzi amangi e Gibyoni.
13Abantu bonna abaali ne Isimaeri bwe baalaba Yokanaani mutabani wa Kaleya nʼabaduumizi ba magye be yali nabo, ne basanyuka.
14Abantu bonna Isimaeri be yali awambye e Mizupa ne bakyuka ne bagenda eri Yokanaani mutabani wa Kaleya.
15Naye Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne basajja be munaana ne batoloka okuva ku Yokanaani ne bagenda mu ba Amoni.
16Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya nʼabaduumizi bʼeggye bonna abaali naye ne batwala abawambe okuva e Mizupa be baali baggye ku Isimaeri mutabani wa Nesaniya ngʼamaze okutta Gedaliya mutabani wa Akikamu: abaserikale, nʼabakazi, nʼabaana nʼabakungu bʼomu lubiri be yali aggye e Gibyoni.
17Ne beeyongerayo ne bayimirirako e Gerusukimamu okumpi ne Besirekemu, nga boolekedde e Misiri,
18badduke Abakaludaaya. Baali batidde Abakaludaaya kubanga Isimaeri mutabani wa Nesaniya yali asse Gedaliya mutabani wa Akikamu, oyo kabaka wʼe Babulooni gwe yali ataddewo okufuga ensi nga gavana.