Yeremiya 42:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo abaduumizi ba magye bonna, ngʼogasseeko Yokanaani mutabani wa Kaleya ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya, nʼabantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu baatuukirira

2nnabbi Yeremiya ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, wulira okusaba kwaffe osabe Mukama Katonda wo ku lwʼabantu bano bonna abafisseewo. Kale naawe nga bwʼolaba, abaali abangi kaakano tusigaddewo batono nnyo.

3Saba Mukama Katonda wo atubuulire gye tusaanye okulaga ne kye tusaanye okukola.”

4Nnabbi Yeremiya nʼabagamba nti, “Mbawulidde, ddala nzija kubasabira eri Mukama Katonda wammwe nga bwe munsabye; nzija kubabuulira byonna Mukama byʼanaŋŋamba, sirina kye nnaabakisa.”

5Awo ne bagamba Yeremiya nti, “Mukama abeere omujulirwa owʼamazima era omwesigwa gye tuli, bwe tutalikola kyonna Mukama Katonda wo kyʼanaakutuma okutugamba.

6Oba kyangu oba kikalubo tujja kugondera Mukama Katonda waffe, gye tukutuma kaakano, tulyoke tufune emirembe, kubanga tujja kugondera Mukama Katonda waffe.”

7Bwe waayitawo ennaku kkumi ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya.

8Nʼalyoka ayita Yokanaani omwana wa Kaleya nʼabaduumizi bʼeggye lya Yuda bonna abaali naye, nʼabantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu.

9Nʼabagamba nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri, gye mwantuma okubabuuliza nti,

10‘Bwe munaasigala mu nsi eno, nzija kubazimba era siibaleke kugwa. Nzija kubasimba so si kubasimbula, kubanga nnumiddwa olwʼekikangabwa kye mbatuusizzaako.

11Temutya kabaka wʼe Babulooni, kaakano gwe mutya. Temumutya, bwʼayogera Mukama, kubanga ndi nammwe era nzija kubalokola, mbanunule mu mukono gwa kabaka oyo.

12Nzija kubalaga ekisa alyoke abakwatirwe ekisa, abakomyewo mu nsi yammwe.’

13“Wabula bwe mugamba nti, ‘Tetuusigale mu nsi eno gye mbakomezzaamu,’ olwo munaaba temugondedde Mukama Katonda wammwe.

14Bwe mugamba nti, ‘Nedda, tujja kugenda tubeere e Misiri, gye tutaalabe ntalo wadde okuwulira ekkondeere nga livuga oba okubulwa omugaati ogwʼokulya,’

15kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaasigalawo mu Yuda. Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Bwe munaamalirira okugenda e Misiri era ne mugenda okubeererayo ddala,

16olwo ekitala kye mutya kijja kubasanga eyo, nʼenjala gye mutya ejja kubagoberera e Misiri era eyo gye mulifiira.

17Mumanyire ddala nti, Abo bonna abamaliridde okugenda e Misiri okusenga eyo balifa kitala, nʼenjala ne kawumpuli; tewaliba nʼomu alisigalawo wadde okuwona ekikangabwa kye ndibaleetako.’

18Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ngʼobusungu bwange nʼekiruyi bwe bifukiddwa ku abo abali mu Yerusaalemi, bwe kityo ekiruyi kyange bwe kinaafukibwa ku mmwe bwe munaagenda e Misiri. Munaabeera kya kukolimirwa, era kya ntiisa, era kya kusalirwa musango era kivume: temuliraba kifo kino nate.’

19“Mmwe abafisseewo ku Yuda, Mukama abagambye nti, ‘Temugenda Misiri.’ Mumanye kino nga mbalabula leero

20nti, Mwakola ekisobyo kinene bwe mwantuma eri Mukama Katonda wammwe ne mugamba nti, ‘Tusabire eri Mukama Katonda waffe: tubuulire byonna byʼagamba tujja kubikola.’

21Mbabuulidde leero, naye era temugondedde Mukama Katonda wammwe mu byonna bye yantuma okubagamba.

22Kale nno mutegeerere ddala kino nga mulittibwa na kitala, oba njala oba kawumpuli mu nsi gye mwagala okugenda okusengamu.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>