1Yeremiya bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo byonna Mukama Katonda waabwe bye yamutuma okubagamba,
2Azaliya mutabani wa Kosaaya ne Yokanaani mutabani wa Kaleya nʼabasajja bonna abʼamalala ne bagamba Yeremiya nti, “Olimba! Mukama Katonda wo takutumye kugamba nti, ‘Temugenda Misiri kusenga eyo.’
3Naye Baluki mutabani wa Neriya yʼakusendasenda otugabule mu mukono gwʼAbakaludaaya, batutte oba batutwale mu buwaŋŋanguse e Babulooni.”
4Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya nʼabaduumizi ba magye bonna nʼabantu bonna ne bajeemera ekiragiro kya Mukama ekyʼokusigala mu nsi ya Yuda.
5Yokanaani mutabani wa Kaleya nʼabaduumizi ba magye ga Yuda bonna ne bakulembera abantu ba Yuda abaali basigaddewo nga bakomyewo okuva mu mawanga gonna gye baali baddukidde okubeera mu nsi ya Yuda.
6Ne batwala nʼabasajja bonna, nʼabakazi nʼabaana nʼabawala ba kabaka, Nebuzaladaani omuduumizi wʼeggye lya kabaka wʼe Babulooni be yali alekedde Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, ne nnabbi Yeremiya ne Baluki mutabani wa Neriya.
7Awo ne bayingira e Misiri nga bajeemedde Mukama, ne bagenda okutuukira ddala e Tapanese.
8Bwe baba bali e Tapanese, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,
9“Twala amayinja amanene ogaziike mu bbumba mu lubalaza olwʼamatoffaali ku mulyango gwʼolubiri lwa Falaawo e Tapanese, ngʼAbayudaaya bonna balaba.
10Obagambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nditumya omuddu wange Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni, era nditeeka entebe ye eyʼobwakabaka ku mayinja gano ge nziise wano. Ku go kwalikuba eweema ye eyʼobwakabaka.
11Alijja nʼalumba Misiri, atte abo abʼokufa, awambe nʼabo abʼokuwambibwa, nʼabʼokuttibwa nʼekitala battibwe nʼekitala.
12Alikoleeza omuliro ku masabo ga bakatonda bʼe Misiri, nʼabatwala mu busibe nga alese amasabo gaabwe agookezza. Ngʼomulunzi wʼendiga bwe yeezingirira ekyambalo kye, bwʼatyo bwʼalyezingirira ensi yʼe Misiri nʼavaayo nga tewali kabi konna kamutuuseeko.
13Alimenyamenya empagi ezaawongebwa mu ssabo lyʼenjuba mu Misiri, nʼayokya nʼamasabo ga bakatonda bʼe Misiri.’ ”