1Ekigambo ne kijjira Yeremiya ekikwata ku Bayudaaya bonna abaali mu nsi yʼe Misiri e Migudooli nʼe Tapanese nʼe Noofu ne mu nsi eyʼe Pasuloosi nga kigamba nti,
2“Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mwalaba ekikangabwa ekinene kye naleeta ku Yerusaalemi ne ku bibuga byonna ebya Yuda. Leero matongo
3olwʼebibi bye baakola. Bankwasa obusungu olwʼokwotereza bakatonda abalala obubaane nʼokusinza, bo newaakubadde mmwe wadde bajjajjammwe be batamanyangako.
4Emirundi mingi natuma abaddu bange bannabbi, abaabagamba nti, ‘Temukola bintu bino ebyʼomuzizo bye nkyawa!’
5Naye tebaawulira wadde okufaayo; tebaalekayo mpisa zaabwe embi wadde okulekayo okwotereza bakatonda abalala obubaane.
6Noolwekyo, obusungu bwange obungi ennyo kyebwava bubabuubuukira; ne buzinda ebibuga bya Yuda nʼenguudo za Yerusaalemi era ne bifuuka amatongo, ne leero.
7“Kale kaakano bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, Lwaki mweretako akabi akanene bwe kati nga musala ku Yuda abasajja nʼabakazi, nʼabaana abato nʼabawere aba Yuda ne mutalekaawo muntu?
8Lwaki munsunguwaza olwʼebyo emikono gyammwe bye gikoze, nga mwotereza bakatonda abalala obubaane e Misiri, gye mwajja okubeera? Mujja kwezikiriza mufuuke ekyʼomuzizo nʼekyʼokukolimirwa mu mawanga gonna agʼomu nsi.
9Mwerabidde ebibi bakitammwe ne bakabaka ba Yuda ne bakazi bammwe bye baakola era nʼebibi bye mwakola mmwe ne bakazi bammwe mu nsi ya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi?
10Naye nʼokutuusa leero tebeetoowazizza wadde okutya, wadde okugondera amateeka gange nʼebiragiro bye nabateekerawo mmwe ne bajjajjammwe.
11“Noolwekyo, bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mmaliridde okubazikiriza mmwe ne Yuda yonna.
12Ndiggyawo abaasigalira mu Yuda abaamalirira okugenda e Misiri okusenga eyo. Bonna balizikiririra mu Misiri, balifa ekitala oba enjala. Okuva ku muto okutuuka ku mukulu asingayo balifa era balifuuka ekyenyinyalwa nʼekyʼokusekererwa era nʼokukolimirwa.
13Ndibonereza abo ababeera mu Misiri, bafe ekitala, nʼenjala ne kawumpuli, nga bwe nabonereza Yerusaalemi.
14Tewali nʼomu ku baasigalawo mu Yuda eyaddukira e Misiri, aliwona oba alisigalawo okudda mu nsi ya Yuda, gye beegomba okudda, tewali aliddayo okuggyako abatono ennyo.”
15Awo abasajja bonna abaali bamanyi nga bakazi baabwe baali bootereza bakatonda abalala obubaane, nʼabakazi abalala abaaliwo, olukuŋŋaana nga lunene nʼabantu bonna abaali babeera mu Misiri e Pasuloosi, ne baddamu Yeremiya nga boogera nti,
16“Tetujja kuwulira bubaka bwʼoyogedde naffe mu linnya lya Mukama!
17Tujja kukola byonna bye twagambye okukola. Tujja kwotereza kabaka omukazi owʼeggulu obubaane, tuweeyo nʼebiweebwayo ebyokunywa nga bwe twakolanga, ffe ne bakitaffe, ne bakabaka baffe nʼabakungu baffe mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo zʼe Yerusaalemi. Mu biseera ebyo twalina emmere nnyingi era nga tuli bulungi nga tetutuukibwako kabi.
18Naye okuva lwe twalekeraawo okwotereza kabaka omukazi owʼeggulu obubaane, nʼokumuwa ekiweebwayo ekyokunywa, tetubadde na kantu konna era tubadde tuzikirira nʼekitala nʼenjala.”
19Abakazi ne bongerako nti, “Bwe twayotereza kabaka omukazi owʼeggulu obubaane ne tumuwa nʼekiweebwayo ekyokunywa, abaami baffe tebaamanya nti twali tumukolera obugaati obuliko ekifaananyi kye ne tumuwa nʼekiweebwayo ekyokunywa?”
20Awo Yeremiya nʼagamba abantu bonna, abasajja nʼabakazi nʼabantu bonna abaali bamuzzeemu nti,
21“Obubaane bwammwe bwe mwayotereza mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, mmwe ne bakitammwe, ne bakabaka bammwe, nʼabakungu nʼabantu bonna mu nsi, ebyo Mukama si bye yajjukira nʼalowoozaako?
22Mukama nga takyayinza kugumiikiriza bikolwa byammwe bibi nʼebyʼemizizo bye mwakola, ensi yammwe kyeyava efuuka ekikolimo nʼekyenyinyalwa era eteriimu bantu, nga bweri leero.
23Kubanga mwotereza obubaane abalala era ne mukola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda ne mutamugondera wadde okugoberera amateeka ge oba ebiragiro bye oba bye yategeeza, emitawaana gibagidde nga kaakano bwe mulabye.”
24Awo Yeremiya nʼagamba abantu bonna, ngʼogasseeko abakazi nti, “Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda, abantu mwenna aba Yuda mu Misiri.
25Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, mmwe ne bakazi bammwe mulaze mu bikolwa byammwe ebyo bye mwasuubiza nti, ‘Tujja kukola nga bwe tweyama okwotereza kabaka omukazi owʼeggulu obubaane era nʼokumuwa ekiweebwayo ekyokunywa.’
26Naye muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe Abayudaaya mwenna abali mu Misiri. ‘Ndayira mu linnya lyange ekkulu, bwʼayogera Mukama nti, Tewali nʼomu ku abo abaava mu Yuda ababeera mu Misiri, aliddayo okuyita erinnya lyange wadde okulayira nti, Nga Mukama Katonda bwʼali omulamu.’
27Kubanga mbawaddeyo eri akabi, si lwa bulungi; Abayudaaya abali mu Misiri balimalibwawo nʼekitala nʼenjala okutuusa bonna lwe baliggwaawo.
28Abo abaliwona ekitala ne baddayo mu Yuda okuva e Misiri baliba batono nnyo. Olwo abalisigalawo bonna okuva mu Yuda abajja okubeera mu Misiri, balitegeera ekigambo ekirikola, ekyange oba ekyabwe.”
29“Kano ke kanaabeera akabonero gye muli nti, ‘Ndibabonerereza mu kifo kino,’ bwʼayogera Mukama, ‘Mulyoke mumanye nga okulabula kwange okwʼokubabonereza kujja kutuukirira.’
30