1
2“Bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri gyʼoli, ggwe Baluki nti,
3Wagamba nti, ‘Zinsanze. Mukama Katonda agasse ennaku ku bulumi bwange; mpweddemu endasi era zijjudde okusinda nʼobutawummula.’ ”
4Mukama yagamba nti, “Mugambe bwʼoti nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti Ndimenya bye nazimba, nkuule bye nasimba, mu ggwanga lyonna.
5Kale lwaki weenoonyeza ebintu ebirungi? Tobinoonya. Kubanga ndireeta akabi ku bantu bonna, bwʼayogera Mukama Katonda, naye buli gyʼolaga nnaakuyambanga osigale ngʼoli mulamu.’ ”