Yeremiya 46:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku mawanga:

2Ebikwata ku Misiri; Buno bwe bubaka obukwata ku ggye lya Falaawo Neko kabaka wʼe Misiri, eryawangulwa e Kalukemisi, Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni lye yakuba mu mwaka ogwokuna ogwʼobufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ku Mugga Fulaati.

3“Mutegeke engabo zammwe, ennene nʼentono mukumbe okugenda mu lutalo!

4Mutegeke embalaasi muzeebagale! Muyimirire mu bifo byammwe nʼesseppeewo zammwe! Muzigule amafumu, mwambale ebizibaawo ebyʼebyuma!

5Kiki kye ndaba? Batidde, badda ennyuma, abalwanyi baabwe bawanguddwa. Badduka mu bwangu awatali kutunula mabega, era waliwo okufa ku buli luuyi,”

5bwʼayogera Mukama Katonda.

6“Abawenyusi bʼembiro tebasobola kuwona nʼabʼamaanyi tebasobola kwewonya. Beesittala ne bagwa mu bukiikakkono obwʼOmugga Fulaati.”

6

7“Ani oyo ayimuka ngʼomugga Kiyira, ngʼemigga egyʼamazzi agabimba?

8Misiri eyimuka nga Kiyira, ngʼemigga egyʼamazzi agabimba. Agamba nti, ‘Ndisituka ne mbuutikira ensi yonna. Ndizikiriza ebibuga nʼabantu baabyo.’

9 Mulumbe, mmwe embalaasi! Muzidduse nʼamaanyi, mmwe abalwanyi bʼoku mbalaasi! Mukumbe mmwe abalwanyi, abasajja bʼe Kuusi ne Puuti[3] abeettika engabo, abasajja bʼe Luudi abakozesa obusaale.

10Naye olunaku olwo lwa Mukama, Mukama Katonda owʼEggye, olunaku olwʼokuwalanirako eggwanga, olwʼokusalira abalabe omusango. Ekitala kijja kulya nga kimaliddwa, okutuusa nga kyemazeeko ennyonta yʼomusaayi. Kubanga Mukama, Mukama Katonda owʼEggye, alibawaayo babeere ngʼekiweebwayo mu nsi eyʼobukiikakkono ku Mugga Fulaati.”

10

11“Genda e Gireyaadi ofune eddagala eryʼokusaaba, ggwe Omuwala Embeerera owa Misiri. Naye mwongerera bwereere obujjanjabi; temujja kuwonyezebwa.

12Amawanga gajja kuwulira obuswavu bwammwe; emiranga gyammwe gijja kujjuza ensi. Omulwanyi omu alitomera omulala bombi ne bagwa.”

13Buno bwe bubaka Mukama Katonda bwe yayogera eri nnabbi Yeremiya ku bikwata ku kujja kwa Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni okulumba Misiri:

14“Langirira kino mu Misiri, era okyogere e Migudooli; kirangirire e Tapanese ne Noofu nti, ‘Muyimirire mu bifo byammwe mwetegeke kubanga ekitala kirya abo ababeetoolodde.’

15Lwaki abalwanyi bo bagudde wansi? Tebasobola kuyimirira, kubanga Mukama Katonda ajja kubasindika wansi.

16Balyesittala emirundi egiwera; baligwiragana. Bagambe nti, ‘Yimuka, tuddeyo eri abantu baffe era nʼensi zaffe, tuve awali ekitala kyʼoyo atunyigiriza.’

17Eyo gye baliwowogganira nti, ‘Falaawo kabaka wʼe Misiri mulekaanyi bulekaanyi afiiriddwa omukisa gwe.’ ”

17

18“Nga bwe ndi omulamu,” bwʼayogera oyo Kabaka ayitibwa Mukama Katonda owʼEggye, “Waliwo alijja ali nga Taboli wakati mu nsozi, nga Kulumeeri ku nnyanja.

19Musibe engugu zammwe muwaŋŋanguke, mmwe abali mu Misiri kubanga Noofu kirifuuka matongo, ekiryaawo omutali bantu.”

19

20“Misiri nte nduusi nnungi nnyo, naye kawawa avudde mu bukiikakkono azze okumulumba.

21Nʼabajaasi be abapangise bagezze ngʼennyana. Nabo bajja kukyuka badduke, tebaasobole kuyimirirawo, kubanga olunaku olwʼekikangabwa lubajjira, ekiseera kyabwe ekyʼokubonerezebwa kisembedde.

22Misiri alikaaba ngʼomusota ogudduka, omulabe alimulumba mu maanyi, amujjire nʼembazzi, ngʼabatemi bʼemiti.

23Balitema ekibira kye,” “newaakubadde nga kikutte nnyo. Bangi nʼokusinga enzige, tebasobola kubalika.

23bwʼayogera Mukama Katonda,

24Muwala wa Misiri aliswazibwa, aweebweyo mu mukono gwʼabo abava mu bukiikakkono.”

25Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri, agamba nti, “Nnaatera okuleeta ekibonerezo ku Ammoni katonda wʼe Tebeesi, ne ku Falaawo, ne ku Misiri, ne ku bakatonda be, ne ku bakabaka be, ne ku abo abeesiga Falaawo.

26Ndibawaayo eri abo abaagala okubatta, eri Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni nʼabakungu be. Wabula oluvannyuma, Misiri eribeeramu abantu nga bwe yali edda,” bwʼayogera Mukama Katonda.

27“Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange; toggwaamu maanyi, ggwe Isirayiri. Ddala ddala ndikununula okuva mu kifo ekyʼewala, nʼezzadde lyo ndinunule okuva mu nsi eyʼobuwaŋŋanguse bwalyo. Yakobo aliddamu okufuna emirembe nʼatebenkera, era tewali alimutiisa.

28Totya, ggwe Yakobo omuddu wange, kubanga ndi naawe,” bwʼayogera Mukama. “Wadde nga nazikiririza ddala amawanga gonna gye nabasaasaanyiza, naye mmwe siribazikiririza ddala. Ndibabonereza naye mu bwenkanya; siribaleka nga temubonerezebbwa.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>