2Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, “Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono, galifuuka omugga ogwanjaala. Galyanjaala ku nsi ne mu bibuga byonna ebigirimu nʼababituulamu. Abantu balikaaba; bonna abali mu nsi baliwowoggana.
3Olwʼemisinde gyʼembalaasi ezidduka nʼokufuumuuka kwʼamagaali gʼomulabe era nʼokuwuuma kwa nnamuziga, bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe, emikono gyabwe gya kulebera.
4Kubanga olunaku lutuuse okuzikiriza Abafirisuuti bonna, nʼokusalako bonna abandisigaddewo abandiyambye Ttuulo ne Sidoni. Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti abaasigalawo ku mbalama zʼekizinga Kafutoli.
5Gaza alimwa omutwe gwe ngʼakungubaga. Asukulooni alisirisibwa. Ggwe eyasigala mu kiwonvu, olituusa ddi okwesalaasala?”