2Mowaabu taddeyo kutenderezebwa;mu Kesuboni abantu balitegeka okugwa kwe, nga boogera nti,‘Mujje, tumalewo ensi eyo.’Nammwe, mmwe Madumeni mulisirisibwa,nʼekitala kirikugoberera.
3Muwulirize emiranga egiva e Kolonayimu,okwonoonekerwa nʼokuzikirizibwa okunene.
4Mowaabu alimenyebwa;abawere ne bakaaba.
5Bakwata ekkubo erigenda e Lukisi,nga bwe bakungubagaku luguudo olugenda e Kolonayimu,emiranga egyʼokuzikirizibwa giwulirwa.
6Mudduke! Muwonye obulamu bwammwe;mubeere ngʼebisaka mu ddungu.
7Kubanga mwesiga ebikolwa byammwe nʼobugagga bwammwe,nammwe mulitwalibwa ngʼabaddu,ne Kemosi alitwalibwa mu buwaŋŋanguseawamu ne bakabona be nʼabakungu be.
11“Mowaabu abadde mirembe okuva mu buvubuka bwe,nga wayini gwe batasengezze,gwe bataggye mu kibya ekimu okumuyiwa mu kirala,tagenzeko mu buwaŋŋanguse.Kale awooma ngʼedda,nʼakawoowo ke tekakyukanga.
32Nkukaabira ggwe amaziga, nga Yazeri bwʼakaaba,ggwe omuzabbibu gwʼe Sibuna.Amatabi gammwe geegolola okutuuka ku nnyanja;gatuuka ku nnyanja yʼe Yazeri.Omuzikiriza agudde ku bibala byoebyengedde era nʼemizabbibu.
33Essanyu nʼokujaguza biggiddwa ku nnimirone ku bibanja bya Mowaabu.Nziyizza okukulukuta kwa wayini mu masogolero;tewali asogola ngʼaleekaana olwʼessanyu.Newaakubadde nga waliyo okuleekaana,okuleekaana okwo si kwa ssanyu.”
33
34“Amaloboozi gʼokukaaba kwabwe galinnyeokuva e Kesuboni okutuuka ku Ereyale, nʼokutuuka ku Yakazi.Okuva e Zowaali okutuuka e Kolanayimu nʼe Egulasuserisiya,kubanga nʼamazzi gʼe Nimulimu gakalidde.
35Ndiggyawoabo abawaayo ebiweebwayo mu bifo ebigulumivu e Mowaabu,ne bootereza nʼobubaane eri bakatonda baabwe,”
43Entiisa nʼobunnya nʼomutego bibalindiridde,mmwe abantu ba Mowaabu,”
43bwʼayogera Mukama Katonda.
44“Buli alidduka entiisaaligwa mu bunnya,nʼoyo aliba avudde mu bunnyaalikwatibwa omutego;kubanga ndireeta ku Mowaabuomwaka gwʼokubonaabona kwe,”
44bwʼayogera Mukama Katonda.
45“Mu kisiikirize kya Kesuboni,abadduka mwe bayimirira nga tebalina maanyi,kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni,ennimi zʼomuliro wakati mu Sikoni,era gwʼokezza ebyenyi bya Mowaabu,nʼobuwanga bwʼabo abaleekaana nga beewaanawaana.
46Zikusanze ggwe, Mowaabu.Abantu bʼe Kemosi bazikiridde,batabani bo batwaliddwa mu buwaŋŋangusene bawala bammwe mu busibe.”