Yeremiya 49:1-39 LGCB2014 - Bible AI

1 Ebikwata ku baana ba Amoni bye bino. Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, “Isirayiri terina baana balenzi? Terina basika? Lwaki Malukamu atutte Gaadi? Lwaki abantu be batutte ebibuga byʼe Gaadi?

2Naye ennaku zijja,” bwʼayogera Mukama Katonda, “lwe ndiraya eŋŋoma ezirangirira olutalo ku Labba ekyʼabawala ba Amoni. Kirifuuka ntuumu ya mafunfugu, nʼebyalo ebiriraanyeewo byokebwe omuliro. Isirayiri eryoke egobere ebweru abo abagigoba.”

3“Kaaba, ggwe Kesuboni, kubanga Ayi kizikiridde! Mukaabe mmwe abatuuze bʼomu Labba! Mwesibe ebibukutu mukungubage. Mudduke mudde eno nʼeri mu bisenge byʼekibuga, kubanga Malukamu alitwalibwa mu busibe, awamu ne bakabona nʼabakungu.

4Lwaki mwenyumiriza olwʼebiwonvu byammwe, ne mwenyumiriza olwʼebiwonvu ebigimu? Ggwe omuwala atali mwesigwa, weesiga obugagga bwo nʼogamba nti, ‘Ani alinnumba?’

5Ndikuleetako entiisa, okuva mu abo bonna abakwetoolodde,” “Buli omu ku mmwe aligobebwa, era tewali nʼomu alikuŋŋaanya abadduka.

5bwʼayogera Mukama, Mukama Katonda owʼEggye.

6“Naye oluvannyuma ndikomyawo nate omukisa gyʼabaana ba Amoni,”

6bwʼayogera Mukama Katonda.

7 Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye nti, “Tewakyali magezi mu Temani? Abeegendereza babuliddwa okutegeera? Amagezi gaabwe gaweddemu ensa?

8Mukyuke mudduke mwekweke mu mpuku eziri ewala mmwe abatuuze bʼe Dedani, kubanga ndireeta ekikangabwa ku Esawu, mu kiseera bwe ndimubonerereza.

9Abanozi bʼemizabbibu singa bazze gyʼoli, tebandikuleseeko mizabbibu mibale bubazi? Singa ababbi bazze ekiro, tebandibbye byonna bye beetaaga?

10Naye ndyambula Esawu mwerule; ndizuula ebifo bye mwe yeekweka, aleme kwekweka. Abaana be, nʼabʼeŋŋanda ze nʼabʼomuliraano baakuzikirira, era wa kuggwaawo.

11Bamulekwa mu mmwe mubaleke, ndibalabirira. Ne bannamwandu mu mmwe banneesige.”

12Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, “Obanga abo abatandinywedde ku kikompe bawaliriziddwa okukinywako, lwaki mmwe temubonerezebwa? Temuuleme kubonerezebwa, mulina okukinywa.

13Neerayirira,” bwʼayogera Mukama Katonda nti, “Bozula alifuuka matongo era ekibuga ekijjudde entiisa, ekinyoomebwa era ekikolimire, era ebibuga bye byonna biriba matongo emirembe gyonna.”

14Mpulidde obubaka okuva eri Mukama Katonda. Omubaka yatumibwa eri amawanga okugamba nti, “Mwekuŋŋaanye mukirumbe! Muyimuke mukole olutalo!”

15“Kaakano ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga, abanyoomebwa mu bantu.

16Entiisa gyʼoleeta nʼamalala gʼomutima gwo bikulimbye, mmwe ababeera mu bunnya bwʼamayinja, mmwe ababeera waggulu mu nsozi. Wadde nga muzimba ebisu byammwe okubeera waggulu nga ebyʼempungu, ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”

16bwʼayogera Mukama Katonda.

17“Edomu kirifuuka kyerolerwa, abo bonna abayitawo balyewuunya batye olwʼebiwundu bye byonna.

18Nga Sodomu ne Ggomola bwe byayonoonebwa, wamu nʼebibuga ebirala ebiriraanyeewo,” “tewaliba nʼomu abibeeramu; tewali musajja alikituulamu.

18bwʼayogera Mukama Katonda,

19“Ngʼempologoma eva mu bisaka byʼomu Yoludaani okugenda mu muddo omugimu, ndigoba Edomu mu nsi ye amangu nʼembiro. Ani oyo omulonde gwe nnaateekawo akole kino? Ani ali nga nze era ani ayinza okunsomooza? Era musumba wa ndiga ki ayinza okunjolekera?”

20Noolwekyo, muwulire Mukama Katonda kyategese okuleeta ku Edomu, kyategekedde abo abatuula mu Temani. Endiga ento mu bisibo za kuwalulwa, alyonoonera ddala ebisibo byazo ku lwabwe.

21Bwe baligwa ensi erikankana, emiranga gyabwe giriwulirwa mu Nnyanja Emyufu.

22Laba, alibuuka mu bire ngʼempungu nʼatumbiira, nʼalyoka akka ngʼayanjululiza ebiwaawaatiro bye ku Bozula. Ku lunaku olwo emitima gyʼabalwanyi ba Edomu giribeewanika ngʼogwʼomukazi alumwa okuzaala.

23 Ebikwata ku Damasiko: “Kamasi ne Alupaadi biweddemu amaanyi, kubanga biwulidde amawulire amabi. Bakeŋŋentereddwa, batabuddwa ngʼennyanja esiikuuse, tebasobola kutereera.

24Ddamasiko ayongobedde, akyuse adduke era okutya kumukutte; obubalagaze nʼobuyinike bimunyweezezza, obulumi nga obwʼomukazi alumwa okuzaala.

25Lwaki ekibuga ekimanyiddwa tebakidduse, ekibuga mwe nsanyukira?

26Ddala abavubuka baakyo baligwa mu nguudo, nʼabalwanyi baakyo bonna ku olwo baakusirisibwa,”

26bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye.

27“Ndiyokya bbugwe wa Ddamasiko omuliro; gwakumalawo nʼembiri za Benukadaadi.”

28Bino bye bikwata ku Kedali nʼobwakabaka bwa Kazoli, obwalumbibwa Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni. Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, “Golokoka, olumbe Kedali ozikirize abantu be bugwanjuba.

29Weema zaabwe nʼebisibo byabwe bya kutwalibwa; enju zaabwe ziryetikkibwa nʼebintu byabwe byonna nʼeŋŋamira zaabwe. Abasajja balibakanga nga bawowoggana nti, ‘Akabi kavudde ku buli ludda!’

29

30“Mudduke mwekukume mangu! Mubeere mu mpuku empanvu, mmwe abatuuze bʼomu Kazoli,” “Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni abasalidde olukwe; ategese okubalumba.

30bwʼayogera Mukama Katonda.

31“Golokoka olumbe eggwanga eriri mu ggandaalo, eriri mu kweyagala,” “eggwanga eritalina miryango gisibwa wadde ebyuma; abantu baalyo babeera awo bokka.

31bwʼayogera Mukama Katonda,

32Eŋŋamira zaabwe zaakunyagibwa, nʼamagana gaabwe amanene gatwalibwe. Ndibasaasaanya eri empewo, abo abali mu bifo ebyʼewala, mbaleeteko akabi okuva ku buli ludda,” bwʼayogera Mukama Katonda.

33“Kazoli alifuuka kifo kya bibe, ekifo ekyʼamatongo ekyʼemirembe nʼemirembe. Tewali alikibeeramu; tewali muntu alikituulamu.”

34Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Eramu, nga Zeddekiya kabaka wa Yuda kyajje alye obwakabaka.

35Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye nti, “Laba, ndimenya omutego gwa Eramu, amaanyi gaabwe mwe gasinga okwesigibwa.

36Era ndireeta ku Eramu empewo ennya, okuva mu bitundu ebina ebyʼeggulu; ndibasaasaanyiza eri empewo ezo ennya, era tewaliba nsi nʼemu abawaŋŋanguse ba Eramu gye bataliddukiramu.

37Ndimenyeramenyera Eramu mu maaso gʼabalabe be, mu maaso gaabo abamunoonya okumutta; ndibatuusaako ekikangabwa, nʼobusungu bwange obungi ennyo,” “Ndibawondera nʼekitala okutuusa lwe ndibamalirawo ddala.

37bwʼayogera Mukama Katonda.

38Nditeeka entebe yange eyʼobwakabaka mu Eramu era nzikirize kabaka we nʼabakungu be,”

38bwʼayogera Mukama Katonda.

39“Wabula ekiseera kijja, lwe ndiddiramu Eramu,”

39bwʼayogera Mukama Katonda.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>