Yeremiya 5:1-31 LGCB2014 - Bible AI

1Dduka ogende eno nʼeri mu nguudo za Yerusaalemi, tunulatunula olabe, noonya wonna we bakuŋŋaanira, bwʼonoosanga omuntu omu bwʼati omwesimbu owʼamazima, nnaasonyiwa ekibuga kino.

2Ne bwe boogera nti, “Nga Mukama bwali omulamu; baba balayirira bwereere.

3Ayi Mukama Katonda, amaaso go teganoonya mazima? Wabakuba naye ne batawulira bulumi wababetenta, naye ne bagaana okukangavvulwa. Beeyongedde kukakanyala, bagubye obwenyi okusinga nʼamayinja; era bagaanyi okwenenya.

4Ne njogera nti, ‘Bano baavu abasirusiru. Kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama, amateeka ga Katonda waabwe.’

5Kale ndigenda eri abakulembeze njogere nabo; Kubanga bamanyi ekkubo lya Mukama, amateeka ga Katonda waabwe. Naye nabo bwe batyo baali baamenya dda ekikoligo nga baakutula ebisiba.

6Noolwekyo empologoma eriva mu kibira nʼebalya, nʼomusege ogwʼomu ddungu gulibasaanyaawo. Engo erikuumira okumpi nʼebibuga byabwe, buli muntu abifuluma ayuzibweyuzibwe; Kubanga ebibi byabwe bingi, okudda ennyuma kunene.”

6

7“Mbasonyiwe ntya? Abaana bammwe banvuddeko, ne balayiririra bakatonda abatali bakatonda. Bwe nabaliisa ne bakkuta, badda mu kwenda, ne beekuŋŋaanya ku nnyumba zʼabenzi.

8Baali ngʼembalaasi ennume ezikkuse ezitaamye, buli muntu ngʼakaayanira muka munne.

9Lwaki sibabonereza olwʼebintu ebyo? bwʼayogera Mukama, Lwaki siwoolera ggwanga ku nsi efaanana bwʼetyo?”

10“Yita mu nnimiro zʼemizabbibu gyabwe ogyonooneyonoone, naye togimalirawo ddala. Giggyeeko amatabi gaagyo, kubanga si bantu ba Mukama.

11Kubanga ennyumba ya Isirayiri nʼennyumba ya Yuda zifuukidde ddala njeemu gye ndi,”

11bwʼayogera Mukama.

12Boogedde ebyʼobulimba ku Mukama ne bagamba nti, “Talina kyajja kukola, tewali kabi kanaatugwako, era tetujja kulaba wadde kitala oba kyeya.

13Bannabbi mpewo buwewo era ekigambo tekibaliimu; noolwekyo leka kye boogera kikolebwe ku bo.”

14Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda owʼEggye nti, “Kubanga abantu boogedde ebigambo bino, ndifuula ekigambo kyange mu kamwa kammwe okuba ngʼomuliro, nʼabantu bano okuba enku era omuliro gubookye,

15Laba, mbaleetera eggwanga eriva ewala, ggwe ennyumba ya Isirayiri,” bwʼayogera Mukama. Ensi eyaguma eyʼedda, abantu abʼolulimi lwe mutamanyi aboogera bye mutategeera

16Omufuko gwabwe ogwʼobusaale guli ngʼentaana eyasaamiridde, bonna balwanyi nnamige.

17Balirya amakungula gammwe nʼemmere yammwe; balirya batabani bammwe era ne bawala bammwe; balye emizabbibu nʼemitiini gyammwe, ebibuga byammwe ebiriko bbugwe bye mwesiga birizikirizibwa nʼebitala.

18Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Naye ne mu nnaku ezo sigenda kubazikiririza ddala kubamalawo.

19Era abantu bammwe bwe bagamba nti, ‘Lwaki Katonda waffe atukoze ebintu bino byonna?’ Onoobagamba nti, ‘Nga bwe mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala mu nsi yammwe, mujja kuweereza bakatonda abagwira mu nsi eteri yammwe.’

20Langirira kino mu nnyumba ya Yakobo, kirangirire mu Yuda.

21 Wulira kino, mmwe abantu abasirusiru abatalina kutegeera, abalina amaaso naye nga tebalaba, abalina amatu naye nga tebawulira.

22 Temuntya?” bwʼayogera Mukama; “temunkankanira? Nateeka omusenyu okuba ensalo yʼennyanja, olukomera olutaliggwaawo, lwetasobola kuvvuunuka; wadde ngʼamayengo galukubaakuba, tegasobola kuluwaguza, gayinza okuwuluguma, naye tegasobola kuluyitako.

23Naye abantu bano balina omutima omwewagguze era omujeemu. Bajeemye banvuddeko.

24Abateekuba mu kifuba kugamba nti, ‘Tutye Mukama Katonda waffe agaba enkuba, eya ddumbi nʼeya ttoggo, mu ntuuko zaayo; atugerekera ssabbiiti ezʼokukunguliramu.’ ”

25Obutali butuukirivu bwammwe bubibakwese ebibi byammwe bibaggyeeko ebirungi.

25

26“Kubanga abasajja abakozi bʼebibi basangibwa mu bantu bange; abagalamira ne balindirira ngʼabasajja abatezi bʼobunyonyi. Batega abantu omutego.

27Ngʼebisero ebijjudde ebinyonyi, enju zaabwe bwe zijjudde ebyʼenkwe. Noolwekyo bafuuse abʼamaanyi abagagga, ne bagejja era ne banyirira.

28Ekibi kyabwe tekiriiko kkomo, tebasala misango mu bwenkanya, abatawolereza bataliiko ba kitaabwe okubayamba basinge emisango, era abatafaayo ku ddembe lya bakateeyamba.

29Lwaki sibabonereza olwʼebintu ebyo?” bwʼayogera Mukama. “Nneme okwesasuza ku ggwanga eriri nga eryo?

30Ekigambo ekyʼekitalo era ekyʼekivve kigudde mu nsi:

31Bannabbi bawa obunnabbi obwʼobulimba, bakabona bafugisa buyinza bwabwe ate abantu bange bwe batyo bwe bakyagala. Naye ku nkomerero munaakola mutya?”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>