1 Kino kye kigambo Mukama Katonda kye yayogerera mu nnabbi Yeremiya ekikwata ku Babulooni nʼensi eyʼAbakaludaaya.
2 “Buulira mu mawanga era olangirire, yimusa bendera olangirire, tolekaayo kintu kyonna ogambe nti, ‘Babulooni eriwambibwa; Beri kiswale, ne Meroddaaki kijjule entiisa. Ebifaananyi bya bakatonda abakole nʼemikono bijja kuswala era bitye.’
3 Eggwanga okuva mu bukiikakkono lijja kukirumba lyonoone ensi yʼAbakaludaaya. Tewali muntu alisigalamu; abantu bonna balikiddukamu era nʼensolo zonna.”
3
4 “Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo,” bwʼayogera Mukama, “abantu ba Isirayiri awamu nʼabantu ba Yuda balikaaba amaziga nga banoonya Mukama Katonda waabwe.
5 Balibuuza ekkubo eridda e Sayuuni era bakyuse obwenyi bwabwe okukitunuulira, nga boogera nti, Mujje twesibe ku Mukama Katonda mu ndagaano eyʼemirembe gyonna etegenda kwerabirwa.”
5
6 “Abantu bange babadde ndiga ezibuze; abasumba baabwe babawabizza ne babatuusa ku kutaataaganira ku nsozi. Baava ku lusozi ne badda ku kasozi ne beerabira ekifo kyabwe ekyʼokuwummuliramu.
7 Buli eyabasanganga nga abatulugunya; abalabe baabwe ne bagamba nti, ‘Tetulina musango gwe tuzza, kubanga baajeemera Mukama Katonda, obuddukiro bwabwe obwa nnama ddala, ye Mukama, essuubi lya bakitaabwe.’ ”
7
8 ⓧ “Mudduke okuva e Babulooni; muleke ensi yʼAbakaludaaya, mubeere ngʼembuzi ezikulembera ekisibo.
9 Kubanga, laba, ndigolokosa ekibiina kyʼamawanga amanene okuva mu nsi eyʼobukiikakkono okulumba Babulooni. Baliyimirira mu nnyiriri zaabwe bakirumbe, bakiwambe nga basinzira mu bukiikakkono. Obusaale bwabwe buliba ngʼobwʼabalwanyi abakugu, abataddira awo ngalo nsa.
10 Noolwekyo ensi yʼAbakaludaaya erinyagibwa; abo bonna abaliginyaga balitwala byonna bye baagala,”
10 bwʼayogera Mukama Katonda.
11 “Kubanga musanyuka ne mujaguza, mmwe abaanyaga omugabo gwabwe, kubanga muligita ngʼente enduusi ewuula emmere eyʼempeke, ne muleekaana ngʼembalaasi ennume enkulu,
12 nnyammwe alikwatibwa ensonyi; oyo eyakuzaala aliswazibwa. Aliba ensi esemberayo ddala, ensiko, ensi enkalu, eddungu.
13 Olwʼobusungu bwa Mukama Katonda tajja kubeeramu bantu, naye alisigala matongo. Bonna abayita e Babulooni balyewuunya batye era bakisooze olwʼebiwundu bye byonna.”
13
14 “Musimbe ennyiriri okwetooloola Babulooni, mwenna abanaanuula omutego. Mumulase! Temulekaawo kasaale nʼakamu, kubanga yajeemera Mukama Katonda.
15 Mumukube olube ku buli ludda. Ajeemulukuse, eminaala gye gigwa, nʼebisenge bye bimenyeddwa. Kubanga kuno kwe kwesasuza kwa Mukama Katonda, mumwesasuzeeko; mumukole nga bwʼakoze abalala.
16 Asiga mumuggye mu Babulooni, nʼomukunguzi oyo akwata ekiwabyo mumuggye mu makungula. Olwʼekitala kyʼomujoozi, leka buli omu addukire mu nsi yʼewaabwe, buli muntu adde eri abantu be.”
16
17 “Isirayiri kisibo kya ndiga ezisaasaanye, empologoma kye zigobye. Eyasooka okumulya yali kabaka wa Bwasuli; eyasembayo okumenya amagumba ge yali Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni.”
18 Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Ndibonereza kabaka wʼe Babulooni nʼensi ye nga bwe nabonereza kabaka wʼe Bwasuli.
19 Naye ndikomyawo Isirayiri mu kisibo kye era aliriira ku Kalumeeri ne Basani; alikuttira ku busozi bwa Efulayimu, ne mu Gireyaadi.
20 Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,” bwʼayogera Mukama Katonda, “omusango ku Isirayiri gulinoonyezebwa, naye tegulibaawo, era nʼebibi bya Yuda birinoonyezebwa, naye tewaliba na kimu, kubanga ndisonyiwa abo bendeseewo.”
20
21 “Mulumbe ensi ye Merasayimu nʼabo abali mu Pekodi. Mubagoberere mubatte, mubazikiririze ddala,” “Mukole byonna bye mbalagidde.
21 bwʼayogera Mukama Katonda.
22 Oluyoogaano lwʼolutalo luwulirwa mu ggwanga, eddoboozi eryʼokuzikiriza okunene!
23 Ennyondo yʼensi yonna ngʼekubiddwa nʼemenyeka! Babulooni kifuuse matongo mu mawanga!
24 Nakutegera omutego, ggwe Babulooni, babagwiikiriza ne babakwata nga tebategedde, baakukwata ne bakuwamba kubanga wawakanya Mukama.
25 Mukama agguddewo etterekero lyʼebyokulwanyisa bye naggyamu ebyokulwanyisa ebyʼekiruyi kye, kubanga Mukama Katonda owʼEggye alina omulimu ogwʼokukola mu nsi yʼAbakaludaaya.
26 Mujje mumulumbe mmwe abava mu buli nsonda, mumenye ebyagi ebyʼemmere yʼempeke, mumukuŋŋaanye abe ngʼentuumo yʼemmere yʼempeke. Mumuzikiririze ddala; waleme kusigalawo nʼomu ku bo.
27 Mutte ennume zaabwe zonna, muzitwale zittibwe. Zibasanze kubanga olunaku lwabwe lutuuse, kye kiseera kyabwe ekyʼokubonerezebwa.
28 Muwulire ebyʼabadduka nʼabanoonyi bʼobubudamu okuva mu Babulooni nga balangirira mu Sayuuni engeri Mukama Katonda waffe gye yeesasuzza, gye yeesasuzza olwa yeekaalu ye.”
28
29 ⓨ “Koowoola abalasi bʼobusaale balumbe Babulooni, ne bonna abanaanuula omutego. Mumwetooloole yenna; tewaba nʼomu awona. Mumusasule olwʼebikolwa bye byonna; mumukole nga bwe yakola banne. Kubanga yanyooma Mukama, Omutukuvu wa Isirayiri.
30 Noolwekyo, abavubuka be baligwa mu nguudo; abaserikale be balisirisibwa ku lunaku olwo,”
30 bwʼayogera Mukama Katonda.
31 “Laba, ndi mulabe wo, ggwe owʼamalala,” bwʼayogera Mukama, Mukama Katonda owʼEggye, “Kubanga olunaku lwo lutuuse, ekiseera kyʼonʼobonerezebwamu.
32 Oyo owʼamalala alyesittala agwe era teri nʼomu alimuyamba kuyimuka; Ndikoleeza omuliro mu bibuga bye oguliyokya bonna abamwetoolodde.”
33 Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye nti, “Abantu ba Isirayiri banyigirizibwa awamu nʼabantu ba Yuda; Bonna ababawambye babanywezezza, bagaanye okubata.
34 Omununuzi waabwe wʼamaanyi, Mukama Katonda owʼEggye lye linnya lye. Alirwanirira ensonga zaabwe awatali kubuusabuusa, alyoke aleete emirembe mu nsi yaabwe; wabula alireeta okutabukatabuka mu bantu ba Babulooni.”
34
35 “Ekitala kyolekedde Abakaludaaya,” bwʼayogera Mukama, “nʼeri abo ababeera mu Babulooni, nʼabakungu baabwe nʼabasajja baabwe abajjudde amagezi!
36 Ekitala kyolekedde bannabbi baabwe abʼobulimba! Balifuuka balisiriwala, ekitala kyolekedde abalwanyi baabwe. Balijjula entiisa.
37 Ekitala kyolekedde embalaasi ze nʼamagaali nʼabagwira bonna abamubeeramu! Balifuuka banafu ngʼabakazi. Ekitala kyolekedde ebyʼobugagga bwe! Birinyagibwa!
38 Ekyeya kyolekedde amazzi gaamu! Galikalira. Kubanga ggwanga erisinza ebifaananyi, ebifaananyi ebirigwa eddalu olwʼentiisa.”
38
39 “Noolwekyo ensolo zʼomu nsiko ziribeera eyo nʼempisi, era eyo ekiwuugulu nakyo gye kiribeera. Ekibuga ekyo tekiriddamu kubeeramu bantu wadde kutuulwamu bantu emirembe gyonna.
40 Katonda nga bwe yazikiriza Sodomu ne Ggomola nʼebibuga ebiriraanyeewo,” “bwʼatyo bwʼalikikola ne mutaba muntu nʼomu alikibeeramu; tewaliba nʼomu alikisigalamu.”
40 bwʼayogera Mukama,
41 “Laba, eggye liva mu bukiikakkono; ensi eyʼamaanyi ne bakabaka bangi, bakuŋŋaana okuva ku nkomerero yʼensi.
42 Balina obusaale nʼamafumu, bakambwe si ba kisa. Beebagadde embalaasi zaabwe ne baba ngʼamayengo agawuluguma mu nnyanja; bali ngʼabasajja abalwanyi abajjira mu nnyiriri zʼentalo okukulumba, ggwe Muwala wa Babulooni.
43 Kabaka wʼe Babulooni afunye amawulire agabafaako, nʼemikono gye girebedde. Entiisa emugwiridde, ngʼomukazi alumwa okuzaala.
44 Ngʼempologoma eva mu kibira kya Yoludaani okugenda mu ddundiro eggimu, Babulooni ndimugoba mu nsi ye awatali kutemya kikowe. Ani oyo omulonde gwe nnaawa okukola kino? Ani ali nga nze, era ani ayinza okunsomooza? Era musumba ki ayinza okuyimirirawo okumpakanya?”
45 Noolwekyo, wulira Mukama kyʼategekedde Babulooni, kyʼategese okuleeta ku nsi yʼAbakaludaaya. Obwana bwʼebisibo byabwe bulitwalibwa, alizikiririza ddala ebisibo byabwe ngʼabalanga obujeemu bwabwe.
46 Olwʼoluyoogaano lwʼokuwambibwa kwa Babulooni, ensi erikankana; okukaaba kwe kuliwulirwa mu mawanga.
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.