27“Yimusa bendera mu ggwanga!Fuuwa omulere mu mawanga!Tegeka amawanga okumulwanyisa;koowoola obwakabaka buno bumulumbe:obwa Alalati ne Mini ne Asukenaazi.Londa omuduumizi amulumba,weereza embalaasi eziri ngʼekibinja kyʼenzige.
28Teekateeka amawanga okumulwanyisa;bakabaka Abameedi,bagavana baabwe era nʼabakungu baabwe bonna,nʼamawanga ge bafuga.
29Ensi ekankana ne yeenyola olwʼobulumi,kubanga ebigendererwa bya Mukama eri Babulooni tebikyuka,okuzikiriza ensi ya Babulooniwaleme kubaawo agibeeramu.
30Abalwanyi ba Babulooni balekedde awo okulwana;basigadde mu bigo byabwe.Baweddemu amaanyi;bafuuse nga bakazi.Ebifo bye mwʼabeera byokeddwa omuliro;emitayimbwa gyʼoku nzigi ze gimenyeddwa.
35Leka okubonaabona okututuuseeko kubeere ku Babulooni,”bwe boogera abatuula mu Sayuuni.“Leka omusaayi gubeere ku abo ababeera mu Babulooni,”bwayogera Yerusaalemi.
52“Naye ennaku zijja,” bwʼayogera Mukama,“lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda be, be yakola nʼemikono,era mu nsi ye yonna,abaliko ebisago balisinda.
53Newaakubadde nga Babulooni atuuka ku bireera ne yeenyweza nʼebigo bye ebyʼamaanyi,ndimusindikira abazikiriza,”
53bwʼayogera Mukama.
54“Eddoboozi lyʼokukaaba liva mu Babulooni,eddoboozi eryʼokuzikirira okuneneokuva mu nsi yʼAbakaludaaya.
56Omuzikiriza alirumba Babulooni;abalwanyi be baliwambibwa,nʼemitego gyabwe girimenyebwa.Kubanga Mukama Katonda asasula,alisasula mu bujjuvu.
57Nditamiiza abakungu be nʼabasajja be abajjudde amagezi,ne bagavana, abʼebitongole awamu nʼabalwanyi;balyebaka emirembe gyonna era tebalizuukuka,”bwʼayogera Kabaka ayitibwa Mukama Katonda owʼEggye.
58Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye nti, “Bbugwe wa Babulooni omunene alisendebwaera nʼemiryango gye emiwanvu gyokebwe;abantu beetawanyiza bwerere nga bafuba,okutawaana kwʼeggwanga kuliba nku za muliro.”
59Buno bwe bubaka Yeremiya bwe yawa omukungu Seraya mutabani wa Neriya, mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni ne Zeddekiya kabaka wa Yuda, nga Zeddekiya afuga mu mwaka gwe ogwokuna. Seraya ye yali omu ku bakungu abakulu.
60Yeremiya yali awandiise mu muzingo ebikangabwa byonna ebyali bigenda okutuuka ku Babulooni, byonna ebyali biwandiikiddwa ebyali bikwata ku Babulooni.
61Yagamba Seraya nti, “Bwʼotuuka mu Babulooni, laba ngʼosoma mu ddoboozi eryʼomwanguka ebigambo bino byonna.
62Olwo ogambe nti, ‘Ayi Mukama, ogambye nti olizikiriza ekifo kino, nti tewali nsolo oba muntu alikibeeramu; kibeere matongo emirembe gyonna.’
63Bwʼomalanga okusoma omuzingo guno gusibeeko ejjinja ogukanyuge mu mugga Fulaati.
64Olyoke ogambe nti, ‘Bwʼati Babulooni bwalisaanawo aleme kubbulukuka olwʼakabi ke ndimuleetako. Nʼabantu be balizikirira.’ ”