1Zeddekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu egyʼobukulu we yafuukira kabaka, nʼafugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. Nnyina yayitibwanga Kamutali muwala wa Yeremiya owʼe Libuna.
2Zeddekiya nʼakola ebyʼomuzizo mu maaso ga Mukama, nga Yekoyakimu bwe yali akoze.
3Abalabe ba Yerusaalemi ne Yuda ne babalumba kubanga Mukama yali abanyiigidde. Ku nkomerero nʼabagobamu mu nsi. Ebyo byonna ne bituuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, Mukama nʼokubagoba nʼabagoba mu maaso ge, ne Zeddekiya nʼajeemera kabaka wʼe Babulooni.
4
5Ekibuga ne bakizimbako ebifunvu okutuusa mu mwaka ogwʼekkumi nʼogumu ogwʼobufuzi bwa kabaka Zeddekiya.
6Ku lunaku olwʼomwenda olwʼomwezi ogwokuna enjala nʼeba nnyingi nnyo mu kibuga nga tewaali kyakulya.
7Bbugwe wʼekibuga yamenyebwa Abakaludaaya. Eggye lyonna erya Yerusaalemi ne lidduka okuva mu kibuga kiro nga bayita mu mulyango oguli wakati wʼebisenge ebibiri ebiri okumpi nʼennimiro lwa kabaka, newaakubadde ngʼAbakaludaaya baali beetoolodde ekibuga. Badduka ne bagenda mu Alaba.
8Eggye lyʼAbakaludaaya ne ligoba kabaka Zeddekiya ne bamukwatira mu nsenyi ezʼe Yeriko, Abaserikale be bonna ne bamuvaako ne basaasaana.
9Nʼakwatibwa.
10Awo kabaka wʼe Babulooni nʼatta batabani ba Zeddekiya nga kitaabwe alaba; nʼatta nʼabakungu bonna aba Yuda.
11Nʼalyoka aggyamu Zeddekiya amaaso nʼamusiba mu masamba agʼebikomo nʼamutwala e Babulooni, gye yamuteeka mu kkomera okutuusa lwe yafa.
12Ku lunaku olwʼekkumi olwʼomwezi ogwokutaano, mu mwaka ogwʼekkumi ogwʼobufuzi bwa Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni, Nebuzaladaani omuduumizi wʼeggye erikuuma kabaka, eyaweerezanga kabaka wʼe Babulooni, yajja e Yerusaalemi.
13Nebukadduneeza nʼayokya yeekaalu ya Mukama nʼolubiri lwa kabaka, nʼennyumba zonna eza Yerusaalemi. Buli kizimbe kyonna ekyʼomugaso nʼakyokya.
14Eggye lya Babulooni lyonna eryali liduumirwa omuduumizi wʼabakuumi bakabaka ne limenyera ddala ebisenge bya Yerusaalemi.
15Nebuzaladaani omuduumizi wʼabakuumi nʼatwala abamu ku baavu ennyo nʼabo abaasigala mu kibuga, awamu nʼabaweesi nʼabaali beewaddeyo, mu buwaŋŋanguse eri kabaka wʼe Babulooni.
16Naye Nebuzaladaani nʼasigazaayo abamu ku baavu ennyo mu ggwanga okulabiriranga emizabbibu nʼokulimanga.
17
18Ne batwala nʼentamu, nʼebisena, nʼebisalako ebisirinza, nʼebibya, nʼebijiiko, nʼebintu byonna ebyʼekikomo ebyakozesebwanga mu kuweereza mu Yeekaalu.
19Omuduumizi wʼabakuumi ba kabaka nʼatwala ebensani nʼebibya byʼobubaane, nʼebijiiko, nʼebikondo bye ttaala, nʼebibya, nʼentamu ebikozesebwa mu kiweebwayo ekyokunywa, byonna ebyali byakolebwa mu zaabu ne ffeeza.
20Ekikomo okuva ku mpagi ebbiri, nʼEnnyanja, nʼennume ekkumi nʼebbiri ezʼebikomo wansi waayo, nʼebikondo kabaka Sulemaani bye yali akoledde yeekaalu ya Mukama, byali bizito nnyo ebitapimika.
21Buli emu ku mpagi yali obuwanvu mita munaana ne desimoolo emu; nʼobwetoolovu mita ttaano ne desimoolo nnya; nʼomubiri gwayo gwali nga sentimita musanvu nga yamuwuluka.
22Yaliko nʼomutwe gwʼekikomo, nʼomutwe gumu ngʼobuwanvu bwayo nga mita bbiri ne desimoolo ssatu, omutwe nga guliko ebitimbe nʼamakomamawanga enjuuyi zonna, byonna nga bya bikomo; empagi eyookubiri nayo yaliko ebifaanana ebyo nʼamakomamawanga.
23Mu buli mbiriizi za buli mpagi kwaliko amakomamawanga kyenda mu mukaaga era gonna awamu okwetooloola empagi gaali amakomamawanga kikumi.
24Omuduumizi wa bakuumi nʼatwala Seraaya kabona asinga obukulu ne Sefaniya kabona owookubiri nʼabaggazi abasatu nga basibe.
25Abo abaali bakyali mu kibuga, nʼatwalako omukungu akulira eggye, nʼabawi bʼamagezi omusanvu. Nʼatwala nʼomuwandiisi eyali omukungu omukulu avunaanyizibwa okuwandiika abayingira mu magye ne basajja be nkaaga abaasangibwa mu kibuga.
26Nebuzaladaani omuduumizi nʼabatwala bonna nʼabaleeta eri kabaka wʼe Babulooni e Libuna.
27Kabaka nʼabattira eyo e Libuna, mu Kamasi.
28Buno bwe bungi bwʼabantu Nebukadduneeza be yatwala mu buwaŋŋanguse mu mwaka ogwʼomusanvu ogwʼobufuzi bwe:
29
30
31Awo mu mwaka ogwʼamakumi asatu mu omusanvu ogwʼokusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, mu mwaka Evirumerodaki lwe yafuuka kabaka wʼe Babulooni, nʼata Yekoyakini kabaka wa Yuda, nʼamuggya mu kkomera ku lunaku olwʼamakumi abiri mu etaano olwʼomwezi ogwʼekkumi nʼebiri.
32Nʼayogera naye nʼekisa nʼamuwa entebe eyʼekitiibwa eya waggulu okusinga eza bakabaka abalala abaali naye e Babulooni.
33Yekoyakini nʼakyusa okuva mu ngoye ezʼekkomera era obulamu bwe obusembayo nʼaliranga ku mmeeza ya kabaka.
34Era kabaka wʼe Babulooni yawanga Yekoyakini ensako eya buli lunaku, obulamu bwe bwonna okutuusa lwe yafa.