1 Mwekuŋŋaanye mudduke mmwe abantu ba Benyamini! Mmudduke muve mu Yerusaalemi. Fuuwa ekkondeere mu Tekowa, era yimusa ebbendera mu Besukakkeremu: kubanga akacwano kasinzidde mu bukiikakkono, okuzikirira okwʼentiisa.
2 Ndizikiriza omuwala wa Sayuuni, omulungi oyo omubalagavu.
3 Abasumba balimulumba nʼebisibo byabwe. Balimwetoolooza weema zaabwe zimwolekere enjuuyi zonna, buli omu yeezimbire wʼayagala.
4 “Mwetegeke mumulwanyise! Muyimuke, tumulumbe mu ttuntu! Naye, nedda, omusana gugenda guggwaayo, nʼebisiikirize byʼakawungeezi biwanvuye!
5 Tugende, tulumbe kiro tuzikirize amayumba ge.”
6 Bwʼati Mukama Katonda owʼEggye bwʼagamba nti, “Muteme emiti mukole entuumo muzingize Yerusaalemi. Ekibuga kino kiteekwa okubonerezebwa kyonna, kubanga kijjudde bujoozi bwerere.
7 Ngʼoluzzi bwe lukulukusa amazzi, bwe kityo bwe kikulukusa ebibi byakyo, entalo era nʼokuzikirira biwulirwa munda waakyo. Obulwadde nʼebiwundu bye ndaba buli bbanga.
8 Nkulabula, ggwe Yerusaalemi, emmeeme yange ereme okwawukana naawe, si kulwa ngʼofuuka amatongo.”
9 Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye nti, “Balisusumbulira ddala nʼabo abatono abaliba basigaddewo mu Isirayiri. Ddamu oyise omukono mu matabi ngʼomunozi we zabbibu bwʼakola.”
10 Ndyogera eri ani gwe ndirabula? Ani alimpuliriza? Amatu gaabwe gagaddwa ne batasobola kuwulira. Ekigambo kya Mukama kiri nga kyakusesa gye bali, tebakisanyukira nʼakamu.
11 Kyenva nzijula ekiruyi sikyasobola kukizibiikiriza.
11 “Kiyiwe ku baana abali mu luguudo, ne ku bavubuka abakuŋŋaanye; abaami awamu nʼabakazi nʼabakadde abo abawezezza emyaka emingi baliwambibwa.
12 ⓖ Enju zaabwe ziritwalibwa abalala, nʼennimiro zaabwe awamu ne bakazi baabwe; kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi,”
12 bwʼayogera Mukama.
13 “Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu, buli omu alulunkanira kufuna. Nnabbi ne kabona bonna boogera ebyʼobulimba.
14 ⓗ Ekiwundu kyʼabantu bange bakijjanjaba ngʼekitali kyʼamaanyi. Boogera nti, ‘Mirembe, mirembe.’ So nga tewali mirembe.
15 Bakwatibwa ensonyi olwʼebikolwa byabwe ebyʼemizizo? Nedda. Tebakwatibwa nsonyi nʼakatono. Noolwekyo baligwira wamu nʼabo abaligwa; balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,”
16 Kino Mukama kyʼagamba nti, “Yimirira mu masaŋŋanzira otunule. Buuza amakubo agʼedda, buuza ekkubo eddungi gye liri, era otambulire omwo, emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo. Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’
17 Nabateerawo abakuumi babategeeze nti, Muwulirize eddoboozi lyʼekkondeere, naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kuwuliriza’.
18 Kale muwulire, mmwe amawanga era mulabe mmwe abʼekkuŋŋaaniro ekyo ekiribatuukako.
19 Wuliriza, ggwe ensi: laba, ndeeta akabi ku bantu bano, byʼebibala byʼenkwe zaabwe, kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange nʼetteeka lyange baligaanye.
20 Omugavu oguva e Seeba bampa gwaki? Oba zino emmuli ezakaloosa eziva mu nsi eyʼewala? Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa sijja kubikkiriza, nʼessaddaaka zammwe tezinsanyusa.”
21 Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Laba nditeeka enkonge mu maaso gʼabantu bano; bakitaabwe ne batabani baabwe bonna bazesittaleko. Muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.”
22 Bwʼati bwʼayogera Mukama, nti “Laba, eggye lijja eriva mu nsi eyʼomu bukiikakkono, eggwanga eryʼamaanyi liyimusibwa okuva ku nkomerero zʼensi.
23 Bakutte omutego nʼeffumu, abakambwe abatalina kusaasira. Bawulikika ngʼennyanja ewuuma, nga beebagadde embalaasi zaabwe: bajja ngʼabalwanyi mu byambalo byʼolutalo okulumba ggwe Muwala wa Sayuuni!”
23
24 Tuwulidde ettutumu lyabwe; era emikono gyaffe giweddemu amaanyi okulumwa okunene kutukutte nʼokulumwa ngʼokwʼomukazi alumwa okuzaala.
25 Togeza kugenda mu nnimiro newaakubadde okutambulira mu kkubo; kubanga omulabe abunye wonna wonna nʼentiisa ejjudde mu bantu.
26 Kale nno mmwe abantu, mwambale ebibukutu era mwevulunge mu vvu; mukungubage ngʼabakaabira omwana owoobulenzi omu yekka. Kubanga oyo agenda okuzikiriza ajja kutugwako mavumbavumba.
26
27 “Nkufudde ekigezesa abantu bange nʼekyuma, osobole okulaba nʼokugezesa amakubo gaabwe.
28 Bonna bakyewaggula abakakanyavu abagenda bawaayiriza, bikomo era kyuma, bonna boonoonefu.
29 Emivubo bagifukuta nʼamaanyi, omuliro gumalawo essasi, naye balongoosereza bwereere kubanga ababi tebaggyibwamu.
30 Baliyitibwa masengere ga ffeeza, kubanga Mukama abalese.”
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.