Yeremiya 7:1-34 LGCB2014 - Bible AI

1Kino kye kigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama.

2Yimirira ku mulyango gwʼennyumba ya Mukama otegeeze abantu obubaka buno.

2Muwuliriza ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abantu ba Yuda abayita mu miryango gino okusinza Mukama.

3Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Mulongoose amakubo gammwe nʼebikolwa byammwe, nange ndibalekera ekifo kino ne mubeeramu.

4Teweesiga bigambo bino ebibuzaabuza ne mwogera nti, ‘Eno ye yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama!’

5‘Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe nʼebikolwa byammwe; era bwe munaalaganga obwenkanya eri omuntu ne munne,

6ne mulekayo okunyigiriza omugwira, ne mulekwa, ne nnamwandu, ne mulekayo nʼokutta abataliiko musango mu kifo ekyo, era ne mutasinza bakatonda abalala okwereetera emisango mmwe bennyini,

7kale ndibatuuza mu kifo ekyo mu nsi gye nawa bajjajjammwe ebeere yammwe emirembe nʼemirembe.

8Kale laba, mwesiga ebigambo ebitaliimu, ebitagasa.

9“Munabba ne mutta, ne mukola obwenzi ne mulayira ebyʼobulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga;

10ne mulyoka mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno, eyitibwa Erinnya lyange, ne mugamba nti, ‘Tuli bulungi, tuli bulungi,’ ne mulyoka mukola ebyʼemizizo byonna?

11 Mulowooza nti ennyumba eno eyitibwa ennyumba yange, mpuku yʼabanyazi? Laba, nze kennyini nkirabye,” bwʼayogera Mukama.

12 “Mugende kaakano mu kifo kyange ekyali e Siiro ekifo gye nasooka okuteeka essinzizo lyʼerinnya lyange, mulabe kye nakikola olwʼekibi kyʼabantu bange Isirayiri.

13Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Bwe mwali mukola ebintu bino byonna, nayogera nammwe emirundi mingi naye ne mutampulira; nabakoowoola ne mutampitaba.

14Noolwekyo, ekyo kye nakola e Siiro nzija kukikola kaakano ku nnyumba eyitibwa Erinnya lyange, era gye mwesiga, era nʼebifo bye nabawa mmwe ne bakitammwe.

15Ndibagoba ne mu maaso gange, nga bwe nagoba baganda bammwe bonna, ezzadde lya Efulayimu lyonna.

16“Noolwekyo tosabira bantu abo wadde okubegayiririra newaakubadde okubasabira oba okubawolereza, kubanga siikuwulire.

17Tolaba bye bakola mu bibuga bya Yuda era ne mu nguudo za Yerusaalemi?

18 Abaana balonda enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, olwo abakazi ne bakanda eŋŋaano ne bakolera kabaka wʼeggulu omukazi emigaati. Bafuka ekiweebwayo ekyokunywa eri bakatonda abalala okunkwasa obusungu.

19Naye nze gwe balumya?” bwʼayogera Mukama. “Tebeerumya bokka, ne beeswazaswaza?”

20Noolwekyo bwʼatyo bwʼayogera Mukama nti, “Laba obusungu bwange nʼekiruyi kyange bijja kufukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo, ku miti egyʼomu ttale era ne ku bibala ebyʼomu ttaka; bujja kubuubuuka era tebujja kukoma.”

21“Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mugatte ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, ennyama mugyeriire.

22Kubanga ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri saayogera eri bakitammwe wadde okubalagira ebikwata ku biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka.

23Naye etteeka lino lye nabawa ligamba nti, ‘Muŋŋondere, nange nnaabeera Katonda wammwe, nammwe munaabeera bantu bange. Mutambulire mu makubo gonna ge mbalagira, mulyoke mubeere bulungi.’

24Naye tebampulira wadde okunzisaako omwoyo, wabula bagoberera okuteesa kwʼemitima gyabwe egijjudde ebibi. Badda emabega so tebaalaga mu maaso.

25Okuva mu biseera bajjajjammwe bye baaviiramu e Misiri okutuusa kaakano, mbadde mpeereza abaddu bange bannabbi emirundi nʼemirundi.

26Naye tebampuliriza wadde okunzisaako omwoyo, bakakanyaza ensingo zaabwe era ne bakola ebibi ne basinga ne bajjajjaabwe.”

27“Kale ojja kubagamba bino byonna naye tebajja kukuwuliriza, bwʼonoobayita tebajja kukwanukula.

28Noolwekyo bagambe nti, ‘Lino lyʼeggwanga eritagondera Mukama Katonda waalyo oba okufaayo ku kugololwa. Amazima gabulawo, tegali ku mimwa gyabwe.

29Salako enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala ddala okaabire ku ntikko zʼensozi, kubanga Mukama alese abantu be era nʼasuula abʼomu mulembe guno mwʼasunguwalidde ennyo.’ ”

30“Abantu ba Yuda bakoze ekintu ekyʼekivve mu maaso gange, bwʼayogera Mukama. Batadde bakatonda abalala mu nnyumba yange eyitibwa erinnya lyange ne bagyonoona.

31 Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Tofesi mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ne bassaddaakiramu batabani baabwe be bazaala nʼabawala, kye saalowoozaako wadde okukibalagira.

32Laba, ennaku zijja,” bwʼatyo bwʼayogera Mukama, bwe kitariyitibwa Kiwonvu kya Tofesi oba ekya Kinnomu ne kiyitibwa Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziikamu Tofesi okutuusa we wataliba bbanga lya kuziikamu.

33Era emirambo gyʼabantu bano gifuuke emmere yʼebinyonyi ebyʼomu bbanga era nʼensolo ezʼomu nsiko, era waleme kubaawo muntu wakuzigoba;

34 olwo nga nkomezza amaloboozi agʼokusanyuka nʼokujaguza, nʼeddoboozi lyʼomusajja awasa nʼeryʼomugole we mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, olwo ensi ngʼefuuse matongo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>