1 “Mu kiseera ekyo, bwʼayogera Mukama, amagumba ga bakabaka ba Yuda, nʼamagumba gʼabalangira, nʼamagumba ga bakabona, nʼamagumba ga bannabbi, nʼamagumba gʼabatuuze bʼomu Yerusaalemi galiggyibwa mu ntaana zaago.
2 Kale galyanikibwa mu musana, eri omwezi nʼemmunyeenye ezʼomu ggulu, ze baayagala era ne baaweereza era ze baagoberera ne beebuuzaako ne basinza. Tebalikuŋŋaanyizibwa wadde okuziikibwa naye balibeera ngʼebisasiro wansi ku ttaka.
3 Nʼabantu bʼensi eno ennyonoonyi bwʼetyo abalisigalawo, be ndiba nsasaanyizza mu mawanga, balyegomba okufa okusinga okuba abalamu,” bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye.
4 “Bategeeze nti, Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Omuntu bwʼagwa, tayimuka? Oba omuntu bwʼava mu kkubo ettuufu, takyusa nʼadda?
5 Kale lwaki abantu bange bano banvaako ne bagendera ddala?
6 Nawuliriza nʼobwegendereza naye tebayogera mazima; tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze nʼokwebuuza nti, ‘Kiki kino kyenkoze?’ Buli muntu akwata kkubo lye ngʼembalaasi efubutuka ngʼetwalibwa mu lutalo.
7 Ebinyonyi ebibuukira mu bbanga bimanyi ebiseera mwe bitambulira; ne kaamukuukulu nʼakataayi ne ssekanyolya bimanyi ebiseera mwe bikomerawo, naye abantu bange tebamanyi biragiro bya Mukama.”
7
8 Muyinza mutya okwogera nti, “Tuli bagezi nnyo, nʼamateeka ga Mukama tugalina, ate nga ekkalaamu yʼabawandiisi eyʼobulimba yeebikyusizza.
9 Abagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwa era balitwalibwa. Bagaanyi ekigambo kya Mukama, magezi ki ge balina?
10 ⓝ Noolwekyo bakazi baabwe ndibagabira abasajja abalala nʼennimiro zaabwe zitwalibwe abantu abalala. Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu, nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.
11 ⓞ Ebiwundu byʼabantu bange babijjanjaba nga tebafaayo, babikomya kungulu nga boogera nti, Mirembe, Mirembe, ate nga teri mirembe.
12 Baakwatibwa ensonyi bwe baakola ebivve? Nedda tebakwatibwa nsonyi wadde, so tebamanyi wadde okulimbalimba. Noolwekyo baligwira mu bagudde, balikka lwe balibonerezebwa,”
12 bwʼayogera Mukama.
13 “Ndimalirawo ddala amakungula gaabwe,” Tewaliba zabbibu, na mutiini, nʼebikoola byabwe biriwotoka. Bye mbawadde biribaggyibwako.
13 bwʼayogera Mukama.
14 Kiki ekitutuuzizza wano obutuuza? Mukuŋŋaane. Tuddukire mu bibuga ebiriko bbugwe tuzikiririre eyo. Mukama Katonda atuwaddeyo tuzikirire era atuwadde amazzi agalimu obutwa tuganywe, kubanga twonoonye mu maaso ge.
15 Twasuubira mirembe naye tewali bulungi bwajja; twasuubira ekiseera ekyʼokuwonyezebwa naye waaliwo ntiisa.
16 Okukaaba kwʼembalaasi zʼomulabe kuwulirwa mu Ddaani; ensi yonna yakankana olwʼokukaaba kwʼembalaasi. Bajja okuzikiriza ensi ne byonna ebigirimu, ekibuga ne bonna abakibeeramu.
16
17 “Laba, ndikusindikira emisota egyʼobusagwa, amasalambwa gʼotasobola kufuga, emisota egyo girikuluma,”
17 bwayogera Mukama.
18 Nnina ennaku etewonyezeka, omutima gwange gwennyise.
19 Wuliriza okukaaba kwʼabantu bange okuva mu nsi eyʼewala. “Mukama taliimu mu Sayuuni? Kabaka we takyalimu?” “Lwaki bansunguwaza nʼebifaananyi byabwe, bakatonda abalala abatagasa?”
20 “Amakungula gayise, nʼekyeya kiyise, tetulokolebbwa.”
21 Nnumiziddwa olwʼokulumizibwa kwa muwala wange. Nkaaba ne nzijula ennaku.
22 Teri ddagala mu Gireyaadi? Teriiyo musawo? Lwaki ekiwundu kyʼabantu bange tekiwonyezebwa?
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.