Yeremiya 9:1-26 LGCB2014 - Bible AI

1Woowe, singa omutwe gwange gubadde mugga nʼamaaso gange luzzi lwa maziga, nnandikaabye emisana nʼekiro olwʼabantu bange be batta!

2Woowe singa mbadde nʼekisulo kyʼabatambuze mu ddungu, nnandivudde ku bantu bange ne mbaleka kubanga bonna benzi, bibiina byʼabasajja abʼenkwe.

3“Bategeka olulimi lwabwe ngʼomutego ogunasula obulimba; bakulaakulanye mu ggwanga naye nga tebayimiridde ku mazima, kubanga bakola ekibi kino ate ne bongera ekirala; era tebammanyi,”

3bwʼayogera Mukama.

4“Mwegendereze mikwano gyammwe era temwesiganga baganda bammwe: kubanga buli wa luganda mulimba na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.

5Buli muntu alimba muliraanwa we era tewali nʼomu ayogera mazima. Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.

6Mubeera wakati mu bulimba; mu bulimba bwabwe bagaana okummanya,”

6bwʼayogera Mukama Katonda.

7Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye nti, “Laba, ndibalongoosa ne mbagezesa, kiki ate kye nnaakolera abantu bange kubanga boonoonye?

8Olulimi lwabwe kasaale akatta, lwogera bya bulimba, buli muntu ayogeza mirembe nʼakamwa ke, naye mu mutima gwe ategeka kumutega.

9Nneme okubabonereza olwʼebintu bino?” bwʼayogera Mukama. “Seesasuze ku ggwanga eriri nga lino?”

9

10“Ndikaaba ne nkungubagira ensozi era ne nkungubagira amalundiro agʼomu ddungu. Galekeddwa awo era tegayitwamu, nʼokukaaba kwʼente tekuwulirwa. Ebinyonyi ebyʼomu bbanga tebikyawulirwa nʼensolo ezʼomu nsiko zidduse.

11Ndifuula Yerusaalemi entuumu yʼebifunfugu, ekisulo kyʼebibe. Era ndyonoona ebibuga bya Yuda waleme kubaawo muntu yenna abeeramu.”

12Mugezigezi ki anaayinza okutegeera kino? Ani oyo Mukama gwʼabuulidde alyoke akinnyonnyole? Lwaki ensi eyonoonese ngʼeddungu ne wataba agiyitamu?

13Mukama nʼagamba nti, “Kubanga balese amateeka gange, ge nabateekerawo. Tebaŋŋondedde wadde okugoberera amateeka gange.

14Naye, bagoberedde obukakanyavu bwʼemitima gyabwe ne basinza ebifaananyi bya Babaali nga bajjajjaabwe bwe baabayigiriza.”

15Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Laba ndiriisa abantu bano emmere ekaawa ne mbanyweesa nʼamazzi agʼobutwa.

16Ndibasaasaanya mu mawanga bakitaabwe ge bataamanya; era ndibasindiikiriza nʼekitala, okutuusa nga mbazikirizza.”

17Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye nti, “Mulowooze kaakano, muyite abakazi abakungubazi, bajje; era mutumye abasingayo obumanyirivu.

18Leka bajje mangu batukaabireko okutuusa amaaso gaffe lwe ganaakulukuta amaziga, nʼobukoowekoowe bwaffe ne butiiriika amazzi.

19Kubanga amaloboozi agʼokukungubaga gawuliddwa mu Sayuuni; ‘Nga tunyagiddwa! Nga tuswadde nnyo! Tuteekwa okuva mu nsi yaffe kubanga amayumba gaffe gazikiriziddwa.’ ”

19

20Kaakano mmwe abakazi, muwulirize ekigambo kya Katonda, era mutege okutu kwammwe kuwulire ekigambo kyʼakamwa ke. Muyigirize bawala bammwe okukaaba, era buli muntu ayigirize munne okukungubaga.

21Kubanga okufa kutuyingiridde mu madirisa, kuyingidde mu mbiri zaffe, okugoba abaana okubaggya ku nguudo, nʼabavubuka okubaggya mu bifo ebisanyukirwamu.

22“Yogera,” bwʼatyo bwʼayogera Mukama nti, “‘Emirambo gyʼabasajja abafudde gijja kugwa ngʼobusa ku ttale ngʼebinywa byʼeŋŋaano ensale bwe bigwa emabega wʼomukunguzi nga tebiriiko alonda.’”

23Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Omusajja omugezi aleme kwenyumiririza mu magezi ge, oba omusajja owʼamaanyi okwenyumiririza mu maanyi ge oba omugagga mu bugagga bwe.

24 Naye leka oyo eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu kino: nti antegeera era ammanyi, nti nze Mukama akola ebyekisa nʼebyʼensonga nʼebyʼobutuukirivu mu nsi, kubanga mu byo mwe nsanyukira,”

24bwʼayogera Mukama.

25“Ennaku zijja,” bwʼayogera Mukama, “lwe ndibonereza abo bonna abakomole obukomozi mu mubiri:

26Misiri, ne Yuda, ne Edomu, nʼabaana ba Amoni, ne Mowaabu, era nʼabo bonna ababeera mu ddungu mu bifo ebyʼewala. Kubanga amawanga gano gonna ddala si makomole, ate era nʼennyumba ya Isirayiri yonna si nkomole mu mutima.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>