Yobu 1:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1 Waaliwo omusajja mu nsi ya Uzzi[1] erinnya lye Yobu; yali muntu ataliiko kya kunenyezebwa, nga wa mazima, eyeewalanga ekibi, era ngʼatya Katonda.

2Yalina abaana aboobulenzi musanvu nʼaboobuwala basatu.

3 Mu byobugagga ebingi ennyo bye yalina; mwe mwali endiga kasanvu, eŋŋamira enkumi ssatu, emigogo gyʼente ezirima ebikumi bitaano, endogoyi enkazi ebikumi bitaano, nʼabaddu bangi nnyo nnyini; yali mwatiikirivu okusinga abantu abalala bonna mu nsi zʼebuvanjuba.

4Batabani be baakwatanga embaga zʼamazaalibwa gaabwe buli omu mu mpalo ngʼennaku zaabwe bwe zaali ziddiriŋŋananga mu maka ga buli omu; era baayitanga bannyinaabwe bonsatule okubajagulizaangako.

5 Ennaku zʼembaga bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga nʼabatukuza;[2] yakeeranga mu makya nʼabaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa ngʼomuwendo gwabwe bwe gwali ngʼalowooza nti, “Oboolyawo ngʼabaana bange bayonoonye ne bavvoola Katonda mu mitima gyabwe.” Kino yakikolanga bulijjo.

6 Olunaku lumu, bamalayika ne bajja mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye nʼajjiramu.

7Mukama nʼabuuza Setaani nti, “Ova wa?”

7Setaani nʼaddamu Mukama nti, “Nva kutalaaga nsi yonna okulaba ebintu nga bwe biri.”

8Mukama Katonda nʼabuuza Setaani nti, “Weetegerezza omuddu wange Yobu, atalina amufaanana, anzisaamu ekitiibwa, ataliiko kyakunenyezebwa era eyeewala buli ngeri yonna eyinza okukozesa omuntu ebibi?”

9 Setaani nʼaddamu Mukama Katonda nti, “Ekitiibwa akussaamu kya bwereere?

10Tomukozeeko lukomera ye nʼennyumba ye, nʼebyʼobugagga byʼalina? Buli kyʼakola okiwadde omukisa; nʼebyʼobugagga bye byeyongedde nnyo obungi!

11 Kale geza okwate ku byʼalina obimuggyeko olabe nga taakwegaane nga nʼensi yonna eraba!”

12Mukama Katonda nʼagamba Setaani nti, “Byonna byʼalina biri mu mikono gyo, naye togeza nʼokwata ku bulamu bwe.” Oluvannyuma lwʼebyo Setaani nʼava mu maaso ga Mukama.

13Awo olunaku lumu, batabani ba Yobu ne bawala be bwe baali banywa omwenge era nga baliira ebyassava mu maka ga mukulu waabwe,

14omubaka nʼajja eri Yobu nʼamugamba nti, “Ente zibadde zirima nga nʼendogoyi ziri kumpi nazo,

15 Abaseba[3] ne bazigwako ne bazitwala era nʼabaddu bonna ne babatta nze nsigaddewo nzekka okujja okukutegeeza bino.”

16Oyo aba akyayogera ebyo, laba, omubaka omulala nʼatuuka naye nʼamugamba nti, “Omuliro gubuubuuse nga guva mu ggulu ne gusaanyaawo endiga zonna nʼabasumba baazo, nze nsigaddewo nzekka okukutegeeza bino.”

17Nʼoyo aba akyayogera, nʼomubaka omulala nʼatuuka, nʼagamba nti, “Abakaludaaya[4] bazze nga beetegese mu bibinja bisatu, ne bagwa ku ŋŋamira ne bazitwala era ne batta nʼabaddu ababadde bazirabirira, era nze nzekka nze nsigaddewo okujja okukumanyisa bino.”

18Aba akyayogera, laba, nʼomulala nʼajja nʼamugamba nti, “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya mukulu waabwe,

19 laba, omuyaga ogwʼamaanyi guvudde mu ddungu ne gugoyaagoya ennyumba yonna mwe babadde era bonna bafiiriddemu nze mponyeewo nzekka okujja okukubikira.”

20Yobu olwawulira bino byonna, nʼagolokoka nʼayuza ebyambalo bye nʼamwa omutwe gwe, nʼavuunama nʼasinza:

21 nʼagamba nti,

21“Nazaalibwa sirina kantu era bwe ntyo bwe ndiddayo. Mukama ye yawa era Mukama yʼaggyeewo, erinnya lya Mukama Katonda lyebazibwe.”

22Mu bino byonna Yobu teyayonoona kubanga teyeemulugunyiza Katonda.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>