15Bwe mba nga nsingibbwa omusango,zinsanze nze!Newaakubadde nga sirina musango, sisobola kuyimusa mutwe gwange,kubanga nzijjudde obuswavu era mu kunyigirizibwa kwange, mwe nsaanikiddwa.
16Bwe mba ngʼasituka, nʼonjigga ngʼempologoma,era nʼonnumba nʼamaanyi go amangi ennyo.
17Oleeta abajulizi abajja okunnumiriza,era obusungu bwo ne bweyongera gye ndi;amayengo ne gajja okunnumba olutata.
17
18“Kale lwaki wanziggya mu lubuto lwa mmange?Wandindese nga tewannabaawo liiso lyonna lindabyeko.
19Singa satondebwa,oba singa natwalibwa butereevu okuva mu lubuto ne nzikibwa.