Yobu 11:1-20 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Zofali Omunaamasi nʼayogera nti,

2“Ebigambo ebyo byonna bisigale nga tebiddiddwamu? Omwogezi ono anaabalibwa ngʼataliiko musango?

3Okwogera kwo okutaliimu kunaatusirisa? Oduule bwʼotyo wabulewo akunenya?

4Ogamba Katonda nti, ‘Ebirowoozo byange tebirina nsobi, era ndi mutukuvu mu maaso go.’

5Naye, singa Katonda ayogera, singa abikkula akamwa ke nʼakuddamu,

6nʼakubikkulira ebyama byʼamagezi; kubanga amagezi amatuufu ddala galiko enjuuyi bbiri. Manya kino: Katonda nʼokwerabira yeerabira ebimu ku bibi byo.”

6

7“Osobola okupima ebyama bya Katonda? Oyinza okunoonyereza ku Ayinzabyonna nʼomumalayo?

8Bigulumivu okusinga eggulu, kiki kyʼosobola okukola? Bikka okusinga obuziba bwʼemagombe, kiki kyʼosobola okumanya?

9Obuwanvu bwabyo businga ensi era bugazi okusinga ennyanja.”

9

10“Singa ajja nʼakusibira mu kkomera era nʼatuuza olukiiko, ani ayinza okumuwakanya?

11Mazima ddala amanya abantu abalimba. Bwʼalaba ebibi, tabifaako?

12Naye omuntu omusirusiru, talifuna magezi, ngʼomwana gwʼendogoyi ogwʼomu nsi bwe gutayinza kuzaalibwa nga gusobola okufugibwa.”

12

13“Naye bwʼowaayo omutima gwo gyʼali, nʼogolola emikono gyo gyʼali,

14singa oggyawo ekibi ekiri mu mukono gwo, nʼotokkiriza kibi kubeera mu weema yo,

15olwo onoositula omutwe nʼobwenyi bwo nga tokwatibwa nsonyi, era oyimirire ngʼoli munywevu awatali kutya.

16Mazima ddala ojja kwerabira emitawaana gyo, olijjukira bujjukizi ngʼamazzi agaayita edda.

17Obulamu bujja kwaka okusinga omusana ogwʼomu ttuntu, nʼekizikiza kijja kufuuka ngʼobudde obwʼoku nkya.

18Olibeera munywevu, kubanga olibeera nʼessuubi; olitunuulira ebikwetooloodde nʼowummulira mu mirembe.

19Oligalamira nga tewali nʼomu akutiisa, era bangi abalikunoonyaako omukisa.

20Naye amaaso gʼabakozi bʼebibi galiremererwa, era tebalisobola kuwona, essuubi lyabwe libeere ngʼomukka ogwʼenkomerero.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>