Yobu 12:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yobu nʼamuddamu nti,

2“Awatali kubuusabuusa muli bantu. Bwe mulifa nʼamagezi gammwe ne gafa.

3Naye nange nnina amagezi ntegeera, temunsinga. Ani atabimanyi ebyo byonna?

4Nfuuse ekisekererwa eri mikwano gyange. Nze eyakoowolanga Katonda nʼanziramu, ne nsekererwa obusekererwa, ate nga ndimutukuvu ataliiko musango!

5Abantu abali mu ddembe lyabwe batera okusekerera abali mu mitawaana, ngʼebizibu bwe biba ku abo ababa batuuse awazibu.

6Weema zʼabanyazi tezibaako mutawaana, era abo abanyiiza Katonda babeera mu ddembe abo abeetikka katonda waabwe mu mikono gyabwe.

7Naye buuza ensolo zijja kukuyigiriza, oba ebinyonyi ebyʼomu bbanga binaakubuulira.

8Oba yogera nʼettaka linaakusomesa oba ebyennyanja ebyʼomu nnyanja binaakunnyonnyola.

9Biki ku bino ebitamanyi nti, omukono gwa Mukama gwe gukoze ebyo?

10Buli bulamu bwa kitonde buli mu mukono gwe, na buli mukka ogussibwa abantu bonna.

11Okutu tekugezesa bigambo ngʼolulimi bwe lukomba ku mmere?

12Amagezi tegasangibwa mu bakaddiye? Okuwangaala tekuleeta kutegeera?

13Katonda yʼalina amagezi nʼamaanyi; yʼateesa ebigambo era yʼalina okutegeera.

14Kyʼamenya teri ayinza kuddamu kukizimba; kyʼasiba mu kkomera tekiyinza kuteebwa.

15Bwʼaziyiza amazzi, ekyeeya kijja, bwʼagata gazikiriza ensi.

16Ye, ye nannyini maanyi nʼobuwanguzi, abalimba nʼabalimbibwa bonna babe.

17Aggyawo abawi bʼamagezi nga tebalina kantu, abalamuzi nʼabafuula abasirusiru.

18Bakabaka abaggyako enjegere ze beesiba ebiwato byabwe, nʼabasibamu obukete.[7]

19Bakabona abatwala nga tebalina kantu, nʼasuula abasajja abaanywera.

20Aziba emimwa egyʼabawi bʼamagezi abeesigwa, era nʼaggyawo okwolesebwa kwʼabakadde.

21Ayiwa ekivume ku bakungu, era nʼaggya ebyokulwanyisa ku bʼamaanyi.

22Abikkula ebintu ebyʼebuziba ebyʼekizikiza, nʼaleeta nʼebisiikirize ebyʼamaanyi mu kitangaala.

23Afuula amawanga okuba agʼamaanyi, era nʼagazikiriza; agaziya amawanga nʼagasaasaanya.

24Abakulembeze baamawanga abaggyako okukola ebisaanidde; nʼabasindika nga bagwirana mu ddungu eritaliimu kkubo.

25Bawammantira mu kizikiza awatali kitangaala; abaleetera okutagala ngʼabatamiivu.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>