Yobu 13:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1“Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna, nʼokutu kwange ne kuwulira ne mbitegeera.

2Kye mumanyi nange kye mmanyi; siri wa wansi ku mmwe.

3Naye neegomba okwogera nʼoyo Ayinzabyonna, era nʼokuleeta ensonga zange mu maaso ga Katonda.

4Naye mmwe mumpayiriza; muli basawo abatagasa mmwe mwenna!

5Kale singa musirika! Olwo lwe mwandibadde nʼamagezi.

6Muwulire kaakano endowooza yange, muwulirize okwegayirira kwʼemimwa gyange.

7Katonda munaamwogerera nga mwogera ebitali bya butuukirivu? Munaamwogerera ebyʼobulimba?

8Munaamulaga ngʼataliiko luuyi, munaamuwoleza ensonga ze.

9Singa akukebera, anaakusanga oli bulungi? Oyinza okumulimba nga bwʼoyinza okulimba abantu?

10Tayinza butakunenya, singa osaliriza mu bubba.

11Ekitiibwa kye ekisukiridde tekyandikutiisizza? Entiisa ye teyandikuguddeko?

12Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu, nʼokwewolereza kwammwe kwa bbumba.

13Musirike nze njogere; kyonna ekinantukako kale kintuukeko.

14Lwaki neeteeka mu mitawaana, obulamu bwange ne mbutwalira mu mikono gyange?

15Ne bwʼanzita, mu ye mwe nnina essuubi, ddala ddala nditwala ensonga zange mu maaso ge.

16Ddala kino kinaavaamu okusumululwa kwange, kubanga teri muntu atatya Katonda ayinza kwetantala kujja mu maaso ge!

17Muwulirize ebigambo byange nʼobwegendereza; amatu gammwe gawulire bye ŋŋamba.

18Kaakano nga bwe ntegese empoza yange, mmanyi nti nzija kwejeerera.

19Waliwo ayinza okuleeta emisango gye nvunaanibwa? Bwe kiba bwe kityo, nzija kusirika nfe.

20Ebintu ebyo ebibiri byokka byʼoba ompa, Ayi Katonda, awo sijja kukwekweka.

21Nzigyako omukono gwo, olekere awo okuntiisatiisa nʼokunkangakanga.

22Kale nno ompite nzija kukuddamu, oba leka njogere ggwe onziremu.

23Nsobi meka era bibi bimeka bye nkoze? Ndaga ekibi kyange era nʼomusango gwange.

24Lwaki okweka amaaso go, nʼonfuula omulabe wo?

25Onoobonyaabonya ekikoola ekifuuyiddwa omuyaga? Onooyigga ebisasiro ebikaze?

26Kubanga ompadiikako ebintu ebiruma, nʼondeetera okuddamu okwetikka ebibi byange ebyʼomu buvubuka.

27Oteeka ebigere byange mu nvuba, era okuuma butiribiri amakubo gange mwe mpita ngʼoteeka obubonero ku bisinziiro byʼebigere byange.

28Bwʼatyo omuntu bwʼaggwaawo ngʼekintu ekivundu, ngʼolugoye oluliiriddwa ennyenje.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>