1Omuntu azaalibwa omukazi, abeera ku nsi akaseera katono era abeera mu kutegana.
2Amulisa ngʼekimuli nʼawotoka; abulawo mangu ngʼekisiikirize, tabeerera.
3Otunuulira omuntu afaanana bwʼatyo? Olimuleeta gyʼoli asalirwe omusango?
4Ani ayinza okuggya ekirongoofu mu kitali kirongoofu? Tewali nʼomu!
5Ennaku zʼomuntu zaagererwa, wagera obungi bwʼemyezi gye era nʼoteekawo ekkomo lyʼatasobola kusukka.
6Kale tomufaako muleke yekka, okutuusa lwʼalimala okutuukiriza emirimu gye ngʼomupakasi.
6
7Wakiri waliwo essuubi ngʼomuti guloka; Bwe gutemebwa, guloka nate, era ekikolo kyagwo ekiggya tekifa.
8Emirandira gyagwo gyandikaddiyidde mu ttaka era nʼekikonge ne kifiira mu ttaka,
9naye olwʼemirandira okutambula ne ginoonya amazzi kimulisa ne kireeta amatabi ngʼekisimbe.
10Naye omuntu afa era nʼagalamizibwa, assa ogwʼenkomerero nʼakoma.
11Ngʼamazzi bwe gaggwa mu nnyanja oba omugga bwe gukalira ne guggwaawo,
12bwʼatyo omuntu bwʼagalamira, era nʼatasituka okutuusa eggulu bwe linaggwaawo, abantu tebajja kuzuukuka oba kuggyibwa mu tulo twabwe.
13“Singa kale onkweka emagombe era nʼonziika okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo! Singa ongerera ekiseera nʼonzijukira!
14Omuntu bwʼafa, addamu nʼabeera omulamu? Ennaku zange zonna ezʼokuweereza nnaalindanga okuwona kwange kujje.
15Olimpita nange ndikuyitaba; olyegomba ekitonde emikono gyo kye gyatonda.
16Ddala ku olwo bwʼolibala ebigere byange, naye tolyekaliriza bibi byange.
17Ebisobyo byange biriba bisibiddwa mu kisawo; olibikka ku kibi kyange.
18Naye ngʼolusozi bwe luseebengerera ne luggwaawo, era ngʼejjinja bwe liva mu kifo kyalyo,
19ngʼamazzi bwe gaggwereeza amayinja era ngʼokwanjaala kwago bwe kutwala ettaka lyʼoku nsi; bwʼatyo bwʼazikiriza essuubi lyʼomuntu.
20Omumalamu amaanyi omuwangula lumu nʼaggweerawo ddala; okyusa enfaanana ye nʼomugoba.
21Abaana be bwe bafuna ekitiibwa, takimanya, bwe bagwa, takiraba.
22Obulamu bwʼomubiri gwe bwokka bwʼawulira ne yeekungubagira yekka.”