Yobu 15:1-35 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Erifaazi Omutamani nʼaddamu nʼayogera nti,

2“Omuntu owʼamagezi yandizzeemu nʼamagezi agataliimu, oba nʼajjuza olubuto lwe embuyaga ezʼebuvanjuba?

3Yandiwakanye nʼebigambo ebitaliiko kye bigasa, oba okwogera ebigambo ebitalina kye bikola?

4Naye onyooma Katonda nʼoziyiza okwewaayo eri Katonda.

5Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko, era olonzeewo okukozesa olulimi lwʼabalimba.

6Akamwa ko kennyini ke kakusalira omusango si nze, emimwa gyo gyennyini gye gikulumiriza.

7Gwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa? Oba ggwe wazaalibwa ensozi nga tezinnabaawo?

8Ofaayo okuwuliriza okuteesa kwa Katonda? Olowooza gwe mugezi wekka?

9Kiki kyʼomanyi kye tutamanyi? Kubikkulirwa ki kwʼolina ffe kwe tutalina?

10Abʼenvi abakaddiye bali ku ludda lwaffe, abasajja abakulu nʼokusinga kitaawo.

11Katonda byʼakugambye ebikuzzaamu amaanyi bitono nnyo tebikumala, ebigambo ebikubuuliddwa mu bukkakkamu?

12Lwaki omutima gwo gukubuzizza, amaaso go ne gatemereza

13nʼolyoka ofuka obusungu bwo eri Katonda, nʼofukumula ebigambo bwe bityo okuva mu kamwa ko?

14 Omuntu ye ani, alyoke abeere omutukuvu, oba oyo azaalibwa omukazi nti ayinza okuba omutuukirivu?

15Katonda bwʼaba tassa bwesige mu batukuvu be, nʼeggulu ne liba nga si ttukuvu mu maaso ge,

16oba oleeta otya omuntu obuntu, omugwagwa era omuvundu, anywa obutali butuukirivu nga amazzi!

17Mpuliriza nnaakunnyonnyola, leka nkubuulire kye ndabye:

18abasajja abʼamagezi kye bagambye nga tebalina kye bakwese ku kye baafuna okuva eri bakadde baabwe

19abo bokka abaweebwa ensi nga tewali mugwira agiyitamu.

20Omuntu omukozi wʼebibi, aba mu kubonaabona ennaku ze zonna, nʼanyigirizibwa emyaka gyonna egyamutegekerwa.

21Amaloboozi agatiisa gajjuza amatu ge; byonna bwe biba ngʼebiteredde, abanyazi ne bamulumba.

22Atya okuva mu kizikiza adde, ekitala kiba kimulinze okumusala.

23Adda eno nʼeri ngʼanoonya kyʼanaalya, amanyi ngʼolunaku olwʼekizikiza lumutuukiridde.

24Okweraliikirira nʼobubalagaze bimubuutikira, bimujjula nga kabaka eyetegekedde olutalo.

25Kubanga anyeenyerezza Katonda ekikonde, ne yeegereegeranya ku oyo Ayinzabyonna,

26nʼagenda nʼekyejo amulumbe, nʼengabo ennene enzito.

27Wadde nga yenna yagejja amaaso ngʼajjudde amasavu mu mbiriizi,

28wakubeera mu bibuga ebyʼamatongo, ne mu bifulukwa, ennyumba ezigwa okufuuka ebifunfugu.

29Taddeyo kugaggawala, nʼobugagga bwe tebulirwawo, nʼebintu byʼalina tebirifuna mirandira mu ttaka.

30Taliwona kizikiza, olulimi lwʼomuliro lunaakazanga amatabi ge, era omukka gwʼomu kamwa gulimugobera wala.

31Alemenga okwerimba nga yeesiga ebitaliimu, kubanga talina kyʼajja kuganyulwa.

32Wa kusasulwa byonna ngʼobudde tebunnatuuka, nʼamatabi ge tegalikula.

33Aliba ngʼomuzabbibu ogugiddwako emizabbibu egitannaba kwengera, ngʼomuzeyituuni ogukunkumula ebikoola byagwo.

34Kubanga ekibiina kyʼabatatya Katonda kinaabeeranga kigumba, era omuliro gunaayokyanga weema ezinaabangamu enguzi.

35Baba embuto ezʼekibi ne bazaala obutali butuukirivu, embuto zaabwe zizaala obulimba.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>