Yobu 16:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Yobu nʼaddamu nti,

2“Mpulidde ebintu bingi ebiri nga bino; mwenna muli mikwano gyange egitagasa.

3Ebigambo byammwe bingi, tebiikome? Kiki ekibaluma ne mutalekeraawo kuwakana?

4Nange nandyogedde nga mmwe, singa mmwe mubadde mu kifo kyange; nandyogedde ebigambo ebisengeke obulungi ebibanyiga, ne mbanyeenyeza nʼomutwe[8] gwange.

5Naye akamwa kange kandibazizzaamu amaanyi; ebigambo ebyʼessuubi okuva mu kamwa kange byandibaleetedde eddembe.

6Ate bwe njogera, obulumi bwange tebuwona, bwe nsirika era busigalawo.

7Mazima ddala, Ayi Katonda, ommazeemu amaanyi; osaanyiririzzaawo ddala ennyumba yange yonna.

8Onsibye nʼonyweza ekinnumiririza ddala, obukovvu bwange bwe bukulaga bwe ndi, kirabika ne ku maaso.

9Katonda annumba nʼobusungu bwe nʼanjuzaayuza, annumira emba; omulabe wange antunuulira nkaliriza nʼamaaso ge agafumita.

10Abantu bayasamya emimwa gyabwe ne bansekerera; bankuŋŋaanirako ne bankuba empi ku matama.

11Katonda ampaddeyo eri omukozi wʼebibi, era nʼansuula mu mikono gyʼababi.

12Nnali bulungi, nʼanjuzaamu wakati; yankwata ku nsingo nʼammenyamu. Anfudde ssabbaawa,

13abakubi bʼobusaale banneetoolodde. Awatali kusaasira, afumita ensigo zange, omususa gwange ne guyiika ku ttaka.

14Annumba, emirundi nʼemirundi, nʼanfubutukirako ngʼomulwanyi omuzira.

15Neetungidde ebikutiya ebyʼokukungubagiramu, ne nkweka obwenyi bwange mu nfuufu.

16Nzenna mmyuse amaaso olwʼokukaaba, ekisiikirize ekikwafu ennyo kyetoolodde amaaso gange,

17newaakubadde ngʼemikono gyange tegirina bibi bye gikoze, nʼokusaba kwange nga kutukuvu.

18Ggwe ensi, tobikka ku musaayi gwange; nneme okusirisibwa!

19 Era kaakano omujulirwa wange ali mu ggulu; omuwolereza wange ali waggulu nnyo ddala.

20Mikwano gyange bansekerera, amaaso gange nga gakulukusa amaziga eri Katonda.

21Ku lwʼomuntu, yeegayirira eri Katonda ngʼomuntu bwe yeegayiririra mukwano gwe.

22Emyaka mitono eginaayitawo nga sinnakwata lugendo olwʼobutadda.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>