Yobu 17:1-16 LGCB2014 - Bible AI

1Omutima gwange gwennyise, ennaku zange zisalibbwaako, entaana enninze.

2Ddala abansekerera bannetoolodde; amaaso gange gabeekengera.

3“Ompe, Ayi Katonda akakalu kʼonsaba, Ani omulala ayinza okunneeyimirira?

4Ozibye emitima gyabwe obutategeera; noolwekyo toobakkirize kuwangula.

5Omusajja avumirira mikwano gye olwʼempeera alireetera amaaso gʼabaana be okuziba.

5

6“Katonda anfudde ekisekererwa eri buli omu, anfudde buli omu gwʼafujjira amalusu mu maaso.

7Amaaso gange gayimbadde olwʼokunakuwala; omubiri gwange gwonna kaakano guli nga kisiikirize.

8Abantu abʼamazima beesisiwala olwa kino; atalina musango agolokokedde ku oyo atatya Katonda.

9Naye era abatuukirivu banaakwatanga amakubo gaabwe, nʼabo abʼemikono emirongoofu baneeyongeranga amaanyi.

10Naye mukomeewo mwenna kaakano, mujje, naye siraba muntu mugezi mu mmwe!

11Ennaku zange ziyise entegeka zange zoonoonese, era bwe kityo nʼokwegomba kwʼomutima gwange.

12Abantu bano ekiro bakifuula emisana; mu kizikiza mwennyini mwe bagambira nti, Ekitangaala kinaatera okujja.

13Amagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi, bwe njala obuliri bwange mu kizikiza,

14ne ŋŋamba amagombe nti, ‘Ggwe kitange,’ era nʼeri envunyu nti, ‘Ggwe mmange,’ oba nti, ‘Ggwe mwannyinaze,’

15kale essuubi lyange liba ludda wa? Ani ayinza okuliraba?

16Nalyo lirigenda eri enzigi zʼemagombe Oba tuligenda ffenna mu nfuufu?”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>