Yobu 18:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Birudaadi Omusukusi nʼayanukula nʼagamba nti,

2“Mulikomya ddi okufuulafuula ebigambo? Muddeemu amagezi, tulyoke twogere.

3Lwaki tutwalibwa ngʼente era ne tulowoozebwa okuba abasirusiru mu maaso gammwe?

4Ggwe eyeyuzayuza olwʼobusungu, abantu ensi bagiveeko ku lulwo, oba enjazi zive mu bifo byazo?

5Ddala etabaaza yʼomukozi wʼebibi ezikidde, era nʼomuliro gwʼekyoto kye tegukyayaka.

6Ekitangaala kivudde mu weema ye; nʼettaala eri ku mabbali ge nayo ezikidde.

7Amaanyi gamuwedde, ebigere bye tebikyali byʼamaanyi, era enkwe ze, ze zimusuula.

8Ekyʼamazima ebigere bye byamusuula mu kitimba era nʼatangatanga mu butimba.

9Omutego gumukwata ekisinziiro; akamasu ne kamunyweeza.

10Omuguwa gumukwekerwa mu ttaka; akatego kamulindirira mu kkubo lye.

11Entiisa emukanga enjuuyi zonna era nʼemugoba kigere ku kigere.

12Emitawaana gimwesunga; Ekikangabwa kirindiridde okugwa kwe.

13Kirya ebitundu byʼolususu lwe; omubereberye wa walumbe amulyako emikono nʼebigere.

14Aggyibwa mu bukuumi bwa weema ye era nʼatwalibwa eri kabaka wʼebikangabwa.

15Omuliro gumalirawo ddala byonna ebyʼomu weema ye; Ekibiriiti kyakira mu kifo mwʼabeera.

16Emirandira gye gikala wansi, nʼamatabi ge gakala waggulu.

17Ekijjukizo kye kibula ku nsi; talina linnya mu nsi.

18Agobebwa okuva mu kitangaala, agenda mu kizikiza nʼaggyibwa mu nsi.

19 Talina mwana wadde omuzzukulu mu bantu be, newaakubadde ekifo mwabeera.

20Abantu abʼebugwanjuba beewuunya ebyamutuukako; nʼabʼebuvanjuba ne bakwatibwa ekikangabwa.

21Ddala bwʼetyo bwʼebeera ennyumba yʼomukozi wʼebibi; bwe gaba bwe gatyo amaka gʼoyo atamanyi Katonda.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>